Caroline Mutoka adduukiridde abaana abawala n’ebintu ebikozesebwa nga bali mu nsonga.

Caroline Mutoka enzaalwa ya Kenya, amanyiddwa ennyo mu kwogera ebigambo ebizzaamu abantu essuubi, ng’ayita mu kitongole kya Nnabagereka Development Foundation, atonedde abaana abawala sanitary pads abali mu masomero ag’enjawulo zibayambeko mu biseera byabwe eby’ensonga.

Mutoka alaze obwennyamivu olw’omwana omuwala okutuuka mu nnaku z’ensonga nga talina tawulo zakukozesa. Agamba nti kino kyekyamuwaliriza okutoola ku katono kaafuna addize ku baana abawala era yeyamye okukikola buli mwaka.

Minisita w’ensonga za woofiisi ya Nnabagereka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, asabye parliament ya Uganda ekole ekisoboka okulaba nga sanitary pads zirekerawo okujjibwako omusolo kubanga zikola ku nsonga za byabulamu bw’omwana omuwala.

Omukolo gubadde mu cabinet room olwaleero.

Agasseeko nti kyandibadde kirungi Sanitary pads zigabibwe mu masomero ku bwerere okuyambako abaana abawala basome.

Leave a Reply