FUFA etongozza omupiira omutongole ‘Zakayo’
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) olunaku lw’eggulo kyatongozza omupiira ogunasambibwa mu mpaka zonna ez’omupiira eziri wansi waakyo ngomupiira guno gwatuumiddwa Zakayo okujjukira ezike erigambibwa okuba nga lyeryali lisinga obukulu mu Uganda eryali limanyiddwa nga Zakayo eryafa mu 2018. #itallstartswithaball
Empaka za Mulimamayuuni cup zakomekerezeddwa
Empaka za Mulimamayuuni Cup ezategekebwa Omubaka akiikirira Mukono County North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abdallah mu kaweefube w’okukulaakulanya ebitone kyakomekerezeddwa nga buli ttiimu eyetabyeemu yaweereddwa omujoozi n’emipiira, ttiimu eyawangudde yetwalidde ente. Mu ngeri yemu era Omubaka Ono yaduukiridde abavubuka abavuga booda booda nga bakola ebibiina byabwe mwebatereka ssente, yabawadde piki piki piki empya. […]
SC Villa 1-0 Gadafi
Mu StartTimes Uganda Premier League emipiira egisamviddwa Maroons FC 1-1 Vipers SC, Fred Amuka yateebeddw Maroons ate Milton Kaliisa natebeera Vipers, SC Villa 1-0 Gadafi. Ggoolo ya Villa eteebeddwa Ivan Boogere.
Harry Maguire akirizza okwetonda kwa MP w’e Ghana
Omubaka wa Palamenti ow’Eggwanga lya Ghanan Isaac Adongo eyavaayo nageraageranya Minisita ku muzibizi wa Manchester United Harry Maguire eyali asamba obubi omwaka oguwedde yavuddeyo namwetondera era namuwaana olw’ensamba ennungi gyayolesa kati. Maguire akirizza okwetonda kwe nategeeza nti amwesunga okumulabako ku Old Trafford.
Kitalo! Darius Mugoya afudde
Kitalo! Omumyuuka w’omukulembeze w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Darius Mugoya afudde enkya yaleero. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Mengo.
Ssimbwa ye mumyuuka w’omutendesi wa Uganda Cranes omuggya
Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya Put Paul Joseph alonze Sam Ssimbwa ngomumyuuka we. Ekitongole ekitwala omupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya FUFA kikiriziganyizza naye era Ssimbwa atandikiddewo emirimu gye. Abanamuyambako abalala bakulangirirwa oluvannyuma.
FUFA eyanjudde omutendesi wa Uganda Cranes omuggya
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes Paul Joseph Put ayanjuddwa olunaku olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ekitwala omupiira mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) ku FUFA House. Ono ayaniriziddwa avunaanyizibwa ku by’amawulire mu FUFA Ahmed Hussein.
Omusambi wa New Castle akaligiddwa emyezi 10 nga tasamba mupiira lwakusiba kapapula
Omuzannyi wa ttiimu ya Newcastle munnansi wa Italy, Sandro Tonali akaligiddwa emyezi 10 nga teyeetaba mu muzannyo gwa mupiira oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusiba akapapula. Tonali yakwatibwa wiiki ewedde bweyali agenze okwegatta ku ggwanga lye nga bagenda okuzannya emipiira gy’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Bulaaya omwaka oguggya.
Katikkiro avumiridde e Kyaddondo okuzira omupiira ne Buddo
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ekya ttiimu y’Essaza lya Kyaddondo okuzira omupiira gweyabadde erina okuzannya ne Buddu ku mutendera gwa ‘Quarter Finals’ mu mpaka z’Amasaza ga Buganda. Owomumbuga asinzidde wano n’agamba nti buno bwabadde busiwuufu bwa mpisa bwennyini ara naasaba abakulira Kyaddondo okukangavvula ttiimu yaabwe kubanga bulijjo empisa zezifuga omuzannyo gw’omupiira.