Uganda eyagala kutegeka ne Kenya wamu ne Tanzania AFCON 2027

Ssaabasajja aguddewo empaka z’Ebika bya Buganda 2023

Emizira n’enduulu bibuutikidde ekisaawe kya Muteesa II e Wankulukuku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwasiimye nalabikako eri Obuganda okuggulawo empaka z’omupiira gw’Ebika bya Buganda eza #bika2023.

Empaka z’Ebika bya Buganda zitandika lwaleero

Olunaku olwaleero empaka z’Ebika lwesitandika era nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda okugiggulawo mu Mutessa II Stadium e Wankulukuku. Ekika kye Nkima be Ngabi e Nsamba byebiggulawo mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka. Katikkiro Charles Peter Mayiga yatuuse dda mu Kisaawe. #BikaCup2023 #KabakaWange

Uganda Cranes yakukyaliza Algeria mu Ggwanga lya Cameroon

Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekitegeeza ng’omupiira Uganda Cranes mwebadde erina okukyaaliza Algeria bwebasazeewo okugukyaliza mu Ggwanga lya Cameroon olwokuba nti ekisaawe kya Mandela National Stadium tekinaggwa kudaabirizibwa. Kinajjukirwa nti Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’emisazannyo Hon. Peter Ogwang MP yavvaayo nagumya Bannayuganda nti omupiira ttiimu […]

Morley Byekwaso alekulidde ku kyobutendesi bwa KCCA FC

Omutendesi Morley Byekwaso olunaku olwaleero alekulidde ku kifo ky’omutendesi wa KCCA FC ono asiibulidde Kavumba leaves Kavumba oluvannyuma lwa Soltilo Bright Stars FC okubakuba ggoolo 1 ku 0 nebawandula mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup. Abawagizi bawuliddwako nga bamuweerekereza ebigambo nti “Togenda wekka, ne banno bagende.” Byekwaso agamba nti abazannyi babadde tebakyamuwulira.

Gor Mahia ekansizza Bannayuganda

#SimbaSportsUpdates Kiraabu Gor Mahia FC yakansizza abasambi okuva mu Yuganda okuli; Partrick Kaddu okuva mu Kitara F.C Hoima ne Shafiq Kagimu okuva mu URA Football Club. Bano bombi basambye olunaku lw’eggulo Kaddu nabateebera ggoolo 3 mu kitundu ekyokubiri Gor Mahia bweyabadde esamba ne Vihiga United.

FUFA ekoze enkyuukakyuuka ku ttiimu z’eggwanga

Omukulembeze w’ekibiina ekifuga omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Moses Magogo avuddeyo nalangirira enkyuukakyuuka ezikoleddwa ku ttiimu z’eggwanga ezomupiira; “Ebifo byonna ku Ttiimu z’eggwanga 10 bisigadde bikalu okuleka ku ttiimu ya Uganda Cranes. Okwekeneenya kwakulobwa ku bali mu bifo ku ttiimu ya Uganda Cranes nga bamaze okusamba empaka zokusunsulamu […]

Ogwa Uganda Cranes ne Algeria gwakusambirwa mu Namboole – Minisita Ogwang

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’ebyemizannyo, Peter Ogwang MP avuddeyo nagumya Bannayuganda nti omupiira ttiimu y’Eggwanga eya Uganda Cranes gwegenda okuddamu okusamba ne Algeria nga 12-June ejja kugusambira mu kisaawe ky’eggwanga ekya Mandela National Stadium – Namboole. Kinajjukirwa nti ekibiina ekitwala omupiira munsi yonna ekya FIFA kyagaana ekisaawe kye Namboole okuddamu okusambirwamu omupiira oguli ku […]

Morocco etiisizzatiisizza obutetaba mu mpaka za CHAN

#SimbaSportsUpdates; Ttiimu y’Eggwanga lya Morocco ewaliriziddwa okuva mu mpaka za CHAN ezoomwaka guno nga zino zakuyindira mu Ggwanga lya Algeria ng’entabwe evudde ku mbiranye amawanga gano gombiriri gyegalina. Kigambibwa Eggwanga lya Algeria lyagaanye Eggwanga lya Morocco okukozesa ennyonyi eyobwannanyini ebuuka obutereevu okuva ewaabwe. Okusalawo kwa Morocco kwalangiriddwa ngebula olunaku lumu lwokka empaka za CHAN okutandika […]

Ronaldo ayanjuddwa eri abawagizi ba Al Nassr

#SimbaSportsUpdates: Cristiano Ronaldo ayanjuddwa mu butongole eri abawagizi ba kiraabu ya Al Nassr FC . Omupiira gwataddeko omukono aguwadde omuwagizi wa Ttiimu eno omuto abadde mu bawagizi ku kisaawe.