Morocco 1 – 0 Portugal

Sipiika yomu ku balabye omupiira gw’abakyala e Njeru

Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Among yegasse ku Pulezidenti wa Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Moses Magogo ku mupiira gwa liigi y’abakyala wakati wa Kampala Queens ne Olila High School ku FUFA Technical Centre, Njeru (Jinja).

Lufula 2 – 0 Kiseka Market

#SimbaSportsUpdates; Team Chairman MK Project Micheal Nuwagira wamu ne Suzan Tushabe Ssentebe wakatale ka Owino babaddewo nga abajulizi ttiimu ya Lufula bweyabadde ekuba ttiimu y’akatale ka Kiseka ggoolo 2 ku 0. Guno gwegumu ku mipiira gyekikopo ekimanyiddwa nga City Markets Tournament nga kyetabiddwamu obutale mu Kibuga Kampala 18 nekigendererwa ekyokutumbula ebitone.Omuwanguzi bakwewangulira ekikopo wamu ne […]

Bulemeezi 1-0 Kyaggwe

#SimbaSportsUpdates; Omubaka wa Nakaseke Central Munnakibiina kya National Unity Platform NUP Hon. Allan Mayanja Sebunya avuddeyo nayozayoza essaza ly’e Bulemeezi oluvannyuma lwokuwangula essaza ly’e Kyaggwe ggoolo 1 ku 0. Bulemeezi yakukyaaza Busiro ku Sunday nga 17/07/2022 nga mu Kisaawe e Kasana.

Ryan Giggs asuddewo omulimu gwokutendeka Wales

#SimbaSportsUpdates; Eyaliko emunyeenye ya Manchester United, Ryan Giggs asuddewo omulimu gwobutendesi bwa Wales embagirawo. Giggs 48, yakoma okutendeka Wales mu November 2020 oluvannyuma lwokukwatibwa ku byekuusa kubusambattuko mu maka. Oluvannyuma yavuunanibwa emisango okwali okulumya eyaliko muganzi we emisango gyeyegaana. Okuwulira emisango egimuvunaanibwa kutandika mu August.

Omupiira wakati ba General n’Ababaka ba Palamenti gugenda mu maaso

Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt. Hon. Thomas Tayebwa ye mugenyi omukulu ku mupiira wakati w’Ababaka ba Palamenti nga bambalagana ne ba General okuva mu ggye lya UPDF ku Philip Omondi Stadium e Lugogo mukukuza amazaalibwa g’omutabani w’omukulembeze w’eggwanga Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.

St. Adrew Kaggwa 2-0 Buddu SS

#SimbaSportsUpdates; Ba Ddiifiri nga bawerekerwa abasirikale ba @Uganda Police okuva ku kisaawe oluvannyuma lw’omupiira mu mpaka za USSSA schools’ football championship wakati wa St Andrew Kaggwa 2-0 Buddo SS mu kibuga Arua okuggwa. St Andrew yakwambalagana ne SMASK ekubye Kibuli SS 3-1.

Mike Mutebi ne Mayanja bagobeddwa e Rwanda

#SimbaSportsUpdates; Abadde omutendesi wa Kkiraabu ya Rwanda eya AS Kigali FC Mike Mutebi wamu n’omumyuuka we Jackson Mayanja babakutte ku nkoona oluvannyuma lw’emyezi 3 gyokka mu mitambo gya ttiimu eno. Ku mipiira 13 basobodde kuwangulako emipiira 3 gyokka. Bano ekibagobezza mutindo gwabwe kubeera gwawansi.

Katikkiro bamwanjulidde ekikopo Buddu kyeyawangula

Ttiimu y’e Buddu nga ekulembeddwamu Pookino Owekitiibwa Jude Muleke, banjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga ekikopo kyebawangula mu mpaka z’Amasaza ezomwaka oguwedde. Omukolo gubadde mu Butikkiro olwaleero. Katikkiro akkaatirizza ensonga yempisa nti ya nkizo mu kutumbula ebyemizannyo.

Abasambi ba SC Villa bagudde ku kabenje

Ttiimu ya SC Villa egudde ku kabenje e Migyera. Bano babadde bagenda mu Kibuga Gulu okusamba ne Super Eagles mu Pece Stadium mu Kikopo kya #StanbicUgandaCup ku Sunday.