Spice Diana lwaki wekubya ebifaananyi ngoyamba? – Bad Black

Teri luyimba lwa Philly Lutaaya lusinga lwange – Eddy Kenzo

Eddy Kenzo mu lukiiko lwa Bannamawulire lweyatuuzizza yavuddeyo nategeeza nga teri luyimba lwa Philly Bongole Lutaaya n’olumu lusinga lulwe! Kenzo agamba nti yatuuka dda taddangamu luyimba lwe kubaako werumutwala. Ono agamba yaddamu oluyimba lwa Philly okuba nga alwongerayo! “Awamiddu wami lesidu”

Ekivvulu kya Chameleone kisaziddwamu

#WOLOKOSO; Ekivvulu kya Jose Chameleone ekya Ggwanga Mujje kisaziddwamu okutuusa nga 24 FEBRUARY 2023. Chameleone ategeezezza nti bagenda kwetegeka bulungi nnyo nti era kijja kuba kika nga 24. Asabye abawagizi be okukuuma obulungi tiketi zaabwe zebabadde baguze okutuuka nga 24. Kino kidiridde enkuba etonnye ettuntu lyaleero okusuula siteegi eyabadde ezimbiddwa mu Cricket Oval e Lugogo.

Eddy Kenzo oli mubi nnyo toyagaliza – Big Eye

Big Eye StarBoss avuddyo nalumba Eddy Kenzo; “Amazima agakaawa! Kyanaku nnyo nti mulirwana wange teyasobodde kuwangula Grammy Award naye nze ndowooza osanga oba yandibadde Big Eye, Azawi, Daddy Andre, Apass, Fik Fameica, Spice Diana, Sheebah, Lydia Jazmine, Rema nabalala. Osanga award nnyingi zandibadde wano mu Yuganda. Naye Omuniga ono yesigaliza abantu nengeri gyetuyinza okutuukayo kati […]

Jose Chameleone akyalidde Katikkiro mu Bulange

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abayimbi, Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone, ne mutoowe Douglas Sseguya, amanyiddwa nga Weasel, abamukyaliddeko mu Bulange. Abasiimye olw’okukozesa ekitone okumala ebbanga eppanvu ne beeyimirizaawo. Akikkaatirizza nti ekitone bwe kikozesebwa obulungi ne kissibwamu ekitiibwa ng’emirimu emirala, kireeta enkulaakulana n’okugasa abantu abalala bangi, ate ne gavumenti efuna omusolo. Chameleon asabye Katikkiro […]

Abitex omukazi gwasuubizza capital azirise

Waliwo omukyala azirikidde ku bigere byomutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka Abitex Promotions e Jinja ku City Hall olwaleero. Omukyala okutuuka okuzirika kidiridde Abitex okumusuubiza okumuyamba okumuwa entandikwa akole bizineesi wamu n’okumufunira awookubeera.

Omuwala agambibwa okukulemberamu abakuba Pretty Nicole bamusindise Luzira

Omulamuzi w’Eddaala erisooka owa Kkooti y’e Kira Nyadoi Esther asindise Kafuko Queen ku alimanda mukkomera e Luzira okutuusa nga 30 January lwanakomezebwawo asomerwe emisango egimuvunanibwa. Omulamuzi ono ategeezeza nga bwatalina buyinza kuwulira misango gimuvunaanibwa. Munamateeka wa Pretty Nicole, Nahabwe Grecious naye alina byategeezezza Bannamawulire oluvanyuma lwa Kkooti.

Pretty Nicole nsonyiwa – Kafuta

Omuwala Kafuta Queen agambibwa okukulemberamu okukuba Pretty Nicole ngatuuka ku Kkooti ya’Omulamuzi wa Kkooti y’e Kira mu Wakiso okumusonera emisango egyamuguddwako. Munamateeka wa Nicole, Nahabwe Gracious agamba nti Nicole ali mu mbeera nungi oluvannyuma lwokufuna obujanjabi.

Omuwala eyalabikidde mu katambi ngakubwa aguddewo omusango ku Poliisi e Kawempe

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza ng’omuwala eyalabikidde mu katambi ngakubwa banne olwomuvubuka bweyazuuliddwa era nebaggulawo omusango ku Poliisi e Kawempe. Wabula nti omusango guno gwadizibwa mu bitundu bya Kira Municipality mu zimu ku nnyumba ezipangisibwa. Luke agamba nti omuwala ono yasuze ku Poliisi e Kawempe […]

Abitex aguddwako emisango 9

#Wolokoso; Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka Abitex Promotions, omulamuzi wa Kkooti y’e Makindye Iga Adiru yamusomedde emisango 9 egyamuguddwako Uganda Police Force okuli okulagajjalira obulamu bw’abantu namuteeka mu matigga ekyaviirako abantu 10 okufa emirala. Oludda oluwaabi lugamba nti Abitex yaggalawo emiryango egiyingira ekifo nalekawo omulyango omutono gumu ogwali gutasobozesa bantu basoba mu mitwalo 2 kwetaaya […]