Empaka za MTVMAMA awards zongezeddwayo

Selector Davie ateereddwa ku kakalu ka Kkooti

Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Mwebale nnyo Bannayuganda banange olw’okuvaayo ku kya okuteebwa oba nga mufu oba mulamu. Olunaku olwaleero agiddwa gyabadde akuumirwa mu nkambi y’amaggye e Makindye nabawagizi ba National Unity Platform/ People Power abalala. Ono yawambibwa okuva mu maka ge e Magere nga 12-January era annyumya okutulugunyizibwa kwayiseemu ne banne abalala. […]

Muleete Selector Davie oba mufu oba mulamu

Shamim Kyomuhendo, Mukyala w’omuyambi wa Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine era Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP, David Bwanika Lule aka avuddeyo naddukira mu Kkooti Enkulu mu Kampala ngayagala ewalirize Gavumenti ya Yuganda wamu n’ebitongole byebyokwerinda okuleeta Davie nga mulamu oba mufu mu bwangu. Kyomuhendo, nga mutuuze mu Ddungu Zone mu Disitulikiti y’e Wakiso […]

Sirina kyenali njogedde ku Bobi Wine – Pastor Bugembe

Pastor Wilson Bugembe “Nasaba Mukama Katonda ampe amagezi mbeere omusumba w’ebibiina byonna era neme kugenda mu byabufuzi wadde omulundi ogumu bweguti. Newuunyizza okuzuukuka nga ndaba ebivumo ebiri ku social media biyitirivu naye nga banvumira ekintu kyesimanyiiko. Sirina kyenali njogedde ku Bobi Wineera yenna eyannumbye wakikoze ku muntu atalina kyamanyi. Manyi waliwo eyakikoze banumbe, era nga […]

Munviire ku mwana, yasoose? – Tamale Mirundi

Omukukunavu Tamale Mirundi avuddeyo ku kya mutabani we Tamale Mirundi Jr okunywegera Nalongo Sheila Don Zella, ono agamba nti mubadde mwagala mutabani we anywegere mbuzi! Tamale agamba nti mubadde mwagala omwana we abeere mubbi, nti era ebidongo byebiyinza okuba nga bimwonooye naddala abayimba tukiggale, teeka munda eyo, gyozalawa abalala bagikoona. Agamba nti teyewuunya, nti kasita […]

Aba NRM babi nnyo tebaagaliza – Full Figure

https://youtu.be/O1AfpEU3I6s Nakanguubi Jennifer aka Jennifer Full Figureavuddeyo nakunga ba blogger banne okuli Arshburg Katto, Isma Olaxess, Bajjo Eventz ne Basajja Mivule okuvaayo berwaneko oluvannyuma lwobutayitibwa ku mukolo gwokwaniriza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo. Ono agamba nti kati bategedde kyebaali babagamba nti Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRMtebaagaliza. Oluvannyuma lwokuyiwawo omubiri buli omu bakyaawa […]

Bannamawulire abagenze okubaja Gen. Saleh ezokukolera NRM kibaweddeko

Gen. Salim Saleh olunaku olwaleero asituse nava mu lukiiko lwa Bannamawulire ababadde bataamye obugo e Gulu. Bano bagamba nti bakola amawulire agawagira National Resistance Movement – NRM nti era babadde bagala basasulwe. Bannamawulire 28 abegattira mu Entertainment News Reporters Association bavudde e Kampala ne bagenda e Gulu nga baagala basasulwe olw’omulimu gwebakoze okukuiira NRM ne […]

Ronald Mayinja komyawo essimu yange – Munnamawulire

#Wolokoso Munnamawulire wa Observer Yudaya Nangozi addukidde ku Uganda Police Force ya Salama Road nga ayagala emuyambe ewalirize omuyimbi Ronald Mayinja amuddize essimu ye gyamugyeeko. Nangozi agamba nti akoze interview ne Ronald Mayinja yassaawa bbiri mu maka ge e Munyonyo wabula oluvannyuma ngewedd, Mayinja nasituka n’essimu ya Munnamawulire nga agamba nti akatambi k’eddoboozi kabadde akutte […]

Speke Apartments ewandiikidde Embassy ya America ku bya Don Zella

Abakulira Speke Apartments Wampewo bawandiikidde ekitebe kya Amerika mu Yuganda nebakiwa n’obujulizi ku kyaliwo ku lunaku Nandege Sheilah aka Nalongo Sheila Don Zella lwagamba nti bamubbako emitwalo gya ddoola 9. Bano bagamba nti Don Zella atanakwatibwa yandigezaako okuva mu Ggwanga nga tanavunaanibwa. Ebbaluwa eraga nti mugandawe Shanitah yali ne Jeremy eyakwatiddwa ng’obubbi tebunabaawo. Abakulira Speke […]

Doreen Kabareebe alumbye Bobi Wine

Omwolesi w’emisono Doreen Kabareebe nga yayatiikirira nnyo olw’ebifaananyi ebyoleka ebitundu byomubiri gwe naye avuddeyo nalumba Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olwokutwala abaana be ebweru;”Situlago kegenda mu maaso🙌🏽😭, Kyemugamba mulutuleseemu🤷🏽‍♀️. Naye Bobi Wine ogenda kusasula otya abo abafiiriddwa abantu baabwe nabo abali mu makomera?🤷🏽‍♀️ Kino kiraga nti wefaako […]