Bebe Cool okuteeka famire yamunno ku social media olimba – Kanyomozi

Balaam atutte banne mu State House

Balaam Barugahara Ateenyi, Andrew Mukasa aka Bajjo, Abbey Ssewakiryanga aka Basajjamivule Official n’abayimbi okuli Bebe Cool, Catherine Kusasira Sserugga, Buchaman ne Jennifer Full Figure mu State House.

BBC eronze Fik Fameica okuba omu ku bayimbi abasinze mu Africa

Omuyimbi Munnayuganda Shafic Walukagga aka Fik Fameica afulumidde ku lukalala lw’abayimbi 10 BBC News Africa befulumizza bolina okunoonya lwakiri owulirize ku nnyimba zaabwe mu mwaka 2021. BBC abayimbi bano ebasenzese bweti; Elaine (South Africa), Fik Fameica (Uganda), Gaz Mawete (Democratic Republic of Congo), Kabza De Small (South Africa), KiDi (Ghana), Omah Lay (Nigeria), Sha Sha […]

Tumbiiza Sound ddamu oluyimbi ngosomesa abantu ku COVID-19 – Minisitule

Omukwanaganya wa Ministry of Health- Uganda n’abantu babulijjo Ainebyona Emmanuel avuddeyo nategeeza nga olunaku olwaleero bwebasisinkanye n’omuyimbi Eric Opoka aka Eezzy Music eyayimba Tumbiiza Sound wamu n’abakakiiko akakulira eby’empuliziganya mu Ggwanga aka Uganda Communications Commission – UCC nebatuuka kunzikiriziganya addemu akola oluyimba luno mu ngoma yemu wabula nga kuluno akyuusizza ebigambo nga asomesa abantu ku […]

Bobi Wine ne Nubian Li bagenda kukuba abawagizi baabwe omuziki

Munnakibiina kya National Unity Platform- NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wineavuddeyo nategeeza nga olunaku olwaleero ku ssaawa kumi nabbiri ez’olweggulo okutuusa ssaawa bbiri ez’ekiro bwasazeewo ye ne Nubian liokusanyuusaamu ttiimu ye gyanoonya nayo akalulu mu kyatuumye #RevolutionaryChrismasConcert butereevu okuva e Ntungamo gyeyakwatidde Ssekukulu. Agamba nti kino akikoze okubasiima olw’okumubeererawo nga atalaaga Disitulikiti 95 nga […]

Minisitule y’ebyobulamu eyagala bawere oluyimba lwa Tumbiiza soud

Director General Health Services owa Ministry of Health- Uganda Dr. G. Mwebesa avuddeyo nawandiikira ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu Ggwanga ekya Uganda Communications Commission– UCC nga ayagala ewere oluyimba lwa Tumbiiza Sound olwa Eric Opoka aka Eezzy nga agamba nti lulimu obubaka obuwubisa Bannayuganda ku kirwadde kya #COVID-19 so nga babadde basobodde okusomesa Bannayuganda.

Gavumenti ekirizza ebivvulu okuddamu wabula n’obukwakulizo

Okusinziira ku National Cultural Forum, Gavumenti esazeewo okukiriza ebivvulu biddemu ku kakwakulizo nti bibeera mu bifo ebirondemu okutandika ku ssaawa emu ey’okumakya obutasukka ssaawa emu ey’ekiro. Kino kyakutandika ku lwomukaaga nga 19-December-2020. Bbo abategesi b’ebivvulu abafiirwa abaalina ebivvulu abakosebwa lockdown nabo baweereddwa akawumbi kamu mu obukadde 200 okubaliyirira nga ziyise mu Minisitule y’ekikula ky’abantu.

Omuyimbi Omah Lay ne banne bateereddwa

Omulamuzi wa Kkooti y’e Makindeye ow’eddaala erisooka Okumu Jude Muwone awandiikidde ekkomera ly’e Kitalya nga aliragira okuyimbula omuyimbi Munnansi wa Nigeria Stanley Omah Didia Omah Lay, Temilade Peniyi aka Tems n’abalala 6 ababadde avunaanibwa nabo ku musango gw’okugezaako okusaasanya ekirwadde ekikambwe. Omulamuzi agambye nti Gavumenti ejje enta mu musango guno. https://youtu.be/wyMZqtrRHZ4

Omuyimbi Omah Lay atwaliddwa mu Kkooti

Abantu 9 abakwatiddwa olw’ekivvulu ekyabadde ku Ddungu Resort e Munyonyo okuli n’omuyimbi Munnansi wa Nigerian Omah Lay batwaliddwa mu Kkooti y’Omulamuzi e Makindye okuvunaanibwa.

Poliisi ekutte abantu 9 abategese ekivvulu

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo natgeeza nti abantu 9 bebakwatibwa kubikwatagana n’ekivvulu ekyategekeddwa ku Ddungu Resort e Munyonyo mu Kampala. Abakwatiddwa kuliko abayimbi aba Nigeria okuli Omah Didia aka Omah Lay ne Temilade Openyi aka Tems, ne Manager wa Tems, Muyiwa Awomiyi. Abalala kuliko; Benjamin Kabura (Omutegesi), […]