Omuyimbi Omah Lay akwatiddwa Poliisi

Omuyimbi okuva e Nigeria akubye ekivvulu mu Yuganda

Omuyimbi okuva e Nigeria Omah Lay nga akuba Bannayuganda omuziki e Munyonyo ekiro ekikeesezza olwaleero. Abaffe ebivvulu byazzeemu?

Balaam musajja mubi nnyo – Basajja Mivule

Basajjamivule Official avuddeyo nalangira Balaam Barugahara Ateenyi okubeera omusajja omubi ennyo era atayagaliza nga agamba nti yatuuka n’okumusimuula ku lukalala ng’omu kubaalina okunoonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akalulu. Basajja Mivule agamba nti Jennifer Full Figure yeyamugamba nti Balaam yamusiimuddeko. Wabula Balaam Barugahara Ateenyi naye amuddiza omuliro nagamba nti yewuunya lwaki Abaganda tebaagala kukola buli kaseera […]

Allan Hendricks amalirizza emisomo

#Wolokoso Mutabani wa Bebe Cool, Allan Hendricks aka Pepper Daddy amalirizza emisomo ku International University of East Africa natikirwa Degree eya Software Engineering.

Bebe Cool, Bobi Wine gwewali omanyi mulala nnyo ku wakakati – Adrine Nsubuga Snr

#BirowoozoByaMuntu; Munnabyamizannyo Aldrine Nsubuga Snr; “Mbadde nina kubeera mu lusirika okumala omwezi mulamba nga nkungubagira omusambi wange ow’omupiira DM10, wabula kanveeyoko olw’ensonga eno n’oluvannyuma nzireyo mu lusirika. Ggwe Bebe Cool, ye Pulezidenti Robert Ssentamu Kyagulanyi, otembeya t-shirt za kyenvu. Okulaba obulabi ku Bobi Wine ebikumi n’ebikumi byabamwagala abawaayo obulamu nebajja gyali nga badduka. Okumulabako obulabi, […]

Bebe Cool akyalumba Bobi Wine

Bebe Cool; “Bwogamba nti ekya Bobi Wine okukozesa ebiragalalagala mudda tekirina makulu, lwaki tokiriza bawala bo ne batabani bo okubikozesa? Sisobola kwesimbawo ku bifo ebimu olw’ebyafaayo byange.”

Bebe Cool yalina ekisumuluzo ekiwanguza Pulezidenti Museveni

Bebe Cool avuddeyo nategeeza nti waliwo Omusumba w’abalokole eyamukubidde; “Olunaku lw’eggulo akawungeezi waliwo Omusumba eyankubidde, nangamba nti mutabani wange ggwe alina ekisumuluzo ekiwanguza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kalulu akabindabinda. Newunyizza nnyo nemubuuza lwaki? Nangamba ggwe Bebe Cool ekitegeeza nti oli mukakamu, omuntu akuli emabega ye Catherine Kusasira Sserugga ekitegeeza okusaasirwa ate emabega waliyo eriiso […]

Bobi Wine atandise okutendeka Kampala ebikonde

Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert Bobi Wine afunyeemu akadde okutendeka mutabani we Solomon Kampala ebikonde oluvannyuma lw’okwenyigira mu misinde egikuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebe II.

Bajjo agulidde Full Figure obugoye b’omwana

Jennifer Full Figure avuddeyo ku bamwogerera ne Bajjo Eventz Clear Process n’abasanyuse nga akyadde ewa Mukyala we; “He came to check on me very early in the morning ela agambye he will be there for me abogezi tebakusuza kayanzi ko. Aguze nobugoye bwo mwana Kati mufune kubyokola.” https://youtu.be/bMxkQQPHyEs

Omuyimbi Evelyn Lagu aziddwa mu Ddwaliro

Omuyimbi Evelyn Nakabira aka Evelyn LAGU yaziddwayo mu Nakasero Hospital oluvannyuma lw’embeera ye okutabuka. Tumusabire assuuke.