Eddy Kenzo azudde mwanyinna gwamaze emyaka 23 nga talaba

Buchaman alabiseeko ku Poliisi e Katwe

Omuyimbi Mark Bugembe aka Buchaman olunaku olwaleero alabiseeko ku Poliisi y’e Katwe abuuzibwe ku katambi akatambudde ku ‘social media’ ye ne bassajja be nga bakuba muyimbi munaabwe Fred Giriya aka Rocky Giant. Uganda Police Force egamba nti eremeddwa okufuna Rocky Giant okubaako byemubuuza.

Khalifah Aganaga yegasse ku NRM

Omuyimbi Sadat Mukiibi aka Kalifah AgaNaganga ono gyebuvuddeko yali ayagala tiketi ya National Unity Platform ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga ayagala okwesimbawo ku kifo ky’Omubaka akikiirira Lubaga South yandiba nga yasaze nadda mu Kibiina kya National Resistance Movement – NRM. Ono yalabiddwako ku kitebe ky’ekibiina ne Nakagubi Jeniffer aka Jennifer Full Figure.

Njagala Yuganda eyawamu – Eddy Kenzo

Eddy Kenzo; “Kantwale omukisa guno okwebaza eyasiize ekifaananyi kino (Ntonio Ntonna) kuba kino kyennyini kyembadde nwanirira ebbanga lyonna. Tetusaanye kulwanagana oba kwetta, wabula tulina kwegatta nga eggwanga tukolerere Yuganda ey’enkya. Abaagala entalo mwandiba nga muli ba mafia nga munoonya byammwe oba si ekyo nga mulina emitima emibi. #evilpeople. Share spread love not hate. Obuntu bulamu […]

Amazaalibwa amalungi Mukyala wange Barbie – Bobi Wine

Bobi Wine ayagalizza Barbie Kyagulanyi amazaalibwa; “Ow’omukwano Barbie, teriiyo mukisa gwenali nfunye mu bulamu bwange nga ggwe okubeera ffanfe wange, Mukyala wange era Maama w’abaana bange. Siwulirangako bulungi nga bwempulira kati nga nkwagala. Nalibaddewa nze singa toliiwo? Oli Mukyala wanjawulo. Nina okujaguza ku lunaku luno lwewazaalibwako. Nsaba Mukama Katonda akukuume ng’oli musanyufu ebbanga lyonna. Amazaalibwa […]

Omuyimbi Willy Mukaabya ali mu mbeera mbi

Omuyimbi wa Kadongokamu Willy Mukaabya embeera gyalimu eyungula ezziga ng’olumbe lumubala embiirizi, talina nakyakulya. Mukaabya agamba nti olw’ekirwadde kya #COVID-19 ekigoyezza eggwanga ng’omulimu gweyali afunamu ensimbi ogw’okuyimba gwateekebwako envumbo. Mu bangi abamuduukiridde mwe muli abawuliriza ba Radio Simba ne HE. Prof. Sir. Gordon Babala Kasibante Wavamunno abavuddeyo okulaba nti afuna eky’okulya n’okujanjabwa.

Bobi Wine mulekerawo okumuwanika – Bebe Cool

Bebe Cool avuddeyo natabukira ba blogger ne Mabirizi Male nti bebatadde Bobi Wine mu mawulire n’okumuwanika. Bebe Cool agamba nti Bobi Kyagulanyi alina eddembe okwesimbawao kuba ddembe lye nga Munnayuganda nti naye talina buwanguzi bwonna kuba National Resistance Movement – NRM erina abalonzi mu lukalala lwayo obukadde 13 so nga olukalala lw’Akakiiko k’ebyokulonda lulina obukadde […]

Omusaayi gusigala musaayi

Essanyu lya Taata okusisinkana muwala we! Eddy Kenzo tasobola kukweka ssanyu lyeyafunye nga asisinkanye muwala we.

Bajjo ne Abtex baagala Pulezidenti ate ebivvulu

Abategesi b’ebivvulu okulu Abbey Musiguzi aka Abtex promotions wamu Andrew Mukasa aka Bajjo Events Tv Clear Process bavuddeyo nebawanjagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agulewo ebivvulu kuba bafa enjala oluvannyuma lw’okumala emyezi 4 nga tebakola olw’omuggalo. Bano bagamba nabo abate bakole nga bweyata aba arcade ne takisi.

Hassan Ndugga bamukwatidde mu ssabo e Lwengo

Omuyimbi Hassan Nduga ug nga kati erya Hassan yalyeggyeko bamuyita Ndugga Bamweyana yakwatiddwa olunaku lw’eggulo nga abamukutte bamuggye mu ssabo e Lwengo. Hassan agamba yabadde agenze kusinza ku mpewo ze abamubanja gyebamusanze. https://youtu.be/RWGoONwCyes