Big Eye yepikira Cricket Oval

Kaye Wisdom ateereddwa

Omuyimbi wa Gospel Kaye Wisdom ateereddwa okuva ku Poliisi e Luweero gyeyakwatiddwa ku bigambibwa nti yenyigira mukutunda ettaka ery’empewo.

Sinze kitaawe wa Kenzo – Apass

A PASS; “Bannamawulire abamu babadde bankubira nga bambuuza kyenjogera ku Eddy Kenzo era kino kyenkyogerako.😊 Siri Kitaawe, Taata we yekka yalina okumugamba ekyokukola. Musajja mukulu era muyimbi munene alina okwesalirawo kyayagala mu bulamu bwe. Mu mawulire amalala sigenda kwesimbawo nfune obululu buna, nedda bambi, njakugenda mu nsiko. 🤣🤣🤣“

Kitalo! Omuyimbi wa Gagamel Short Cut afudde

Kitalo! Omuyimbi mu Kibiina kya Bebe Cool ekya Gagamel International Allan Masengere aka Short Cut afudde. Ono abadde amaze enaku eziwera 40 mu ICU. Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine naye avuddeyo namukungubagira ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face Book.

Oluyimba lwa Property luzaalidde Fik Fameica ebizibu

Omuyimbi Fik Fameica atwaliddwa mu Kkooti lwaluyimba lwe olwa Property. Munnamateeka Prasidia Nagasha yaddukidde mu Kkooti nga agamba nti oluyimba luno lulina engeri gyerutyoboolamu omukazi n’omwana omuwala nga lumukkakanya okumutuusa kussa ly’okumuyita ekintu omuntu kyalinako obwannanyini n’ekyokulya nga chapati. Prasidia ayagala Fameica wamu ne Producer eyakola oluyimba luno baveeyo betonde mu lujudde eri abakyala bonna […]

Bobi Wine otwefuulirako owakabi ngenda kuwagira Museveni – Eddy Kenzo

Eddy Kenzo avuddeyo nawera nti ketonnye kagwake Bobi Wine bwawangula obwa Pulezidenti ye agenda mu buwanganguse. Kenzo agamba nti Bobi Wine yewanika okulaga nti asinga abalala bonna. Nti era bwategendereza yandiwagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayiirewo ddala omubiri amulemese. Kenzo agamba nti okumanya Bobi yeyagaliza yatuuka n’okugamba Bannayuganda bazire emipiira gya Uganda Cranes wabula bwetunuulira […]

Abayimbi abagenda ewa Bobi Wine baagwa – Kusaasira

Catherine Kusasira Sserugga avuddeyo nategeeza nti abayimbi bonna abagenda okwegatta ku Bobi Wine baagwa nga banoonya ngeri gyebayinza okusitukamu. Ono ayongerako nti ekyewuunyisa tebamuwagira era nga atera okubalaba ekiro nga bagenda ewa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ne National Resistance Movement – NRM.

Kusasira alwanye n’okuwandiika ekifo kye

Catherine Kusasira Sserugga omuwabuzi wa Pulezidenti atuyanye nga bwezikala omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa aka @Bajjo Eventz bwamusabye awe ‘spelling’ y’ekifo kyalimu nga bali ku TV. Kyawandiise mu mukono gwe kikino, byampuna!

Lwaki ebyobufuzi mubitambuliza ku mawanga? – Eddy Kenzo

Eddy Kenzo; “Ensi eno nzibu nyo banange buli okalulu wekatuka politicians start promoting Tribalism kibakolera nyo era bafuna okalulu naye fe batuleka mumatiga. Twawukana nabagalwa bafe, nga nolusi tubazaddemu nabaana, business partners nebirara binji. Enaku enuma era enakuzino sebaka bulungi. Olwa trible talk ekute akati. Imagine in 2020 abavubuka ebilowozo byafe byakweyagiliza feka omululu banange […]

Bajjo aleese ebiwandiiko bye ebyobuyigirize

Mukasa Alfonse Andrew aka Bajjo Events Tv Clear Process avuddeyo nalaga empapula ze ez’obuyigirize nga adda mu Catherine Kusasira Sserugga eyavaayo ku bya ‘small books’.