Dr. Jose Chameleone wakulabikako mu kkooti nga 30 July
Omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleone ayitiddwa okulabikako mu Kkooti ewozesa Abali b’enguzi n’abakenuzi etuula ku Kkooti ya Buganda Road olw’okubeera n’ebyamaguzi ebitasasudde musolo ekikontana n’amateeka ga East African Community Management Act 2004. Ono wakulabikako mu kkooti nga 30-July-2020. Kino kizze oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) okusika […]
URA etutte Dr. Jose Chameleone mu Kkooti lwa misolo
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kitutte Omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleone mu Kkooti yabakenuzi n’obuli bw’enguzi avunaanibwa omusango gwokwebalamu emisolo egiwereza ddala obukadde 137 bweyaleeta emotoka mu Ggwanga okuva mu South Sudan natagisasulira musolo nga kati yasikibwa URA.
Hajji Ashiraf atandise okuyiga ebikonde
Hajji Simwogerere Ashraf Ashraf; “Asalaam alaikum warahmatulahi wabarakaatuh. Okwerinda sibuti, ono omusajja simanyi “Mubanda wa Kabaka”. Alina maginenti esika buli kimu. Kyenalabye e Mengo, banange nange ayinza okunsika. Kati olwokuba Omubanda bbonddya, bayinza obutatuweereza ba Kibooko oba mukka gubalagala wabula ba bbonddya. Omukyala Nabakoo… byeyayogedde natidde. Ate nga nabeerako mu lutalo nerumpisa bubi nnyo. Era […]
Tina guma osasula bbanja – Gashumba
Frank M. Gashumba;”Bwotulumya, kitwale nti libeera bbanja lyolina okusasula namagoba . Ate mmwe abantu abalungi, sibuli omu nti agenda kukwagala kuba abantu abamu nabo bennyini tebeyagala. Mu nsi teri kisinga nge, ettima, obukyaayi nefubitizi bubi.”
Ssenyonyi annyumirwa Honey moon
Omwogezi w’Ekisinde kya People Power – Uganda eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Joel Ssenyonyi ali ku #honeymoon n’e mukyala we gweyakakuba embaga. Yoga yoga Joel B. Ssenyonyi.
Joel Ssenyonyi ababadde bamwegwanyiza abaleseewo
Omwogezi w’ekisinde kya People Power – Uganda eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Joel Ssenyonyi yakubye embaga eri scientific. Yogayoga Joel Ssennyonyi.
Bryan White talabiseeko mu kakiiko ka Palamenti
Brian Kirumira aka Bryan White talabiseeko mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Palamenti wabula asindise Munnamateeka we okumukiikirira. Akakiiko kali mukunoonyereza ku bigambibwa nti yatulugunya wamu n’okukukaka abawala abali bamukolera akaboozi.
Musansule ssente zange zenayimbira oba mbatwale mu kkooti – Big Eye
Omuyimbi Ibrahim Mayanja aka Big Eye StarBoss avuddeyo nga ayita mu Bannamateeka be nategeeza nga bwagenda okutwala mu mbuga ekibiina kya National Resistance Movement – NRM wamu ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni singa tebamusasula nsimbi ze zeyayambira mukunoonya akalulu mu 2011;”Bwenavaayo wiiki ewedde mu naku ennyingi nendaga amabanja genina abantu abamu balowooza nali njagala ssente […]
Balaam agenda kuyamba Bad Black okusasulwa
Shanitah Namuyimbwa Chanitah Ptt aka Bad Black asisinkanye Barugahara Balaam Ateenyi n’amusuubuzi okukola ku nsonga ze eza Ssente zagamba nti abanja Ministry of Health- Uganda olwokukola akalango nga akubiriza Abaana abawala okwewala abavuzi ba loole.