Obukadde 400 butono ku nze – Big Eye

Buchaman Poliisi emukutte

#Wolokoso; Eyeyita Ghetto President era omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Bugembe Mark aka Buchaman akwatiddwa Poliisi ku bigambibwa nti atomedde owa booda booda e Luzira nga abadde avuga atamidde mu motoka ekika kya Rav4 nnamba UAN 413E.

Munnyambe munsondere ku ssente maleyo ennyumba – Big Eye

Ibrahim Mayanja aka Bigeye Starboss avuddeyo nalajanira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’abawagizi be okumuduukirira bamutaase kuba atunze ebibye byonna biweddewo okusobola okusasula ebbanja ly’ennyumba gyeyagula obukadde 400 nasasulako 60 kati bamubanja 340.

God’s Plan leeta ebintu byange – Gashumba

Frank M. Gashumba avuddeyo ku mukutu gwa Twitter nabuuza Marcus Ali Lwanga aka God’s Plan ddi lwamutwalira ebintu mu butongole atwale muwala we Sheila Gashumba.

Bad Black atabukidde Minisitule y’Ebyobulamu

Ministry of Health- Uganda evuddeyo neyanukula Shanitah Namuyimbwa aka Bad Black aka Chanitah Ptt ne Bannamateeka be abavuddeyo olunaku lw’eggulo nebategeeza nga bwebagenda okuwawabira Minisitule y’Ebyobulamu wamu ne banywanyi baayo okuli UNICEF Uganda ne World Health Organization Uganda. Minisitule egamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyavaayo nasaba Bannayuganda n’abazira kisa abalala okuwaayo kyebasobola okulwanyisa ekirwadde […]

Bad Black atutte Gavumenti mu Kkooti lwabutamusasula ssente z’akalango

Sharita Namuyimbwa aka Bad Black avuddeyo naddukira mu Bannamateeka be nga ayagala Gavumenti emuliyirire obukadde 500 olw’okumokozesa akalango nga agamba ku bazzukulu ba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abawala okwewala ba Ddereeva ba loole nga tulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19. Bad Black agamba nti byonna ebyamusuubizibwa mpaawo kyamuweebwa. Bino mwalimu okumukolera entegeke okusisinkana Pulezidenti Museveni babeeko byeboogera.

Giweze emyaka 23 bukyanga Basudde afa

Olwaleero lwegiweze emyaka 23 bukyanga omuyimbi Herman Basudde afiira mu kabenje e Kabaale Bugonzi ku luguudo lw’e Masaka nga 11-June-2020. Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Hillary Kiyaga aka Dr Hilderman ne Bannakisinde kya People Power – Uganda batuuseeko ku kyalo Bubondo nga akabonero akokujjukira omugenzi. Kayimba ki aka Basudde akatakuleka […]

Abtex ne Bajjo badukidde wa Sipiika

Abategesi b’ebivbulu okuli Andrew Mukasa aka @Bajjo Events wamu Abbey Musinguzi aka Abtex promotions batotoledde Sipiika wa Palamenti Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga ebizibu byebayitamu nga abakuuma Ddembe babakutte. Bano bagamba nti bakiririza mu ‘defiancy’ naye basazeewo bagoberere Amateeka.

Zahara Toto atabukidde abasajja abayita abakazi bamalaaya

Zahara Toto aka Fieldmashall Entertainer Z Totto avuddeyo nalumba abasajja;”Bassebo kano kammwe. Baslayer bantumye ntuuse obugambo buno wamanga…… have left out so many things my dear women mwongerezeeko wamanga awo. . Ba Ssebo just tusaba mwetereeze mumpisa kyekyo kyokka!” https://youtu.be/cHH60OlsE8w

Mariach akuumye omutindo

Bano ababiri bwebasisinkana omu ayita ku munne. MC Mariachi Comedian kyuuma kya mu Girimaani ddala oba? MC Mariach ddala akuumye omutindo. Naye Bannayuganda tebatudde, oli yafefesse akafaananyi ke nga akyali muzinnyi mu kibiina kya Chance Nalubega!