Abitex akwatiddwa naggalirwa – Fred Enanga

Abitex asindikiddwa ku alimanda e Luzira

Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka @Abitex Promotions asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Makindye amusindise ku alimanda okutuusa nga 10-Jan-2023 mu kkomera e Luzira olw’ekivvulu kyeyategeka nga 31-Dec-2022 ku Freedom City omwafiira Abantu 10.

Kitalo! Omuyimbi Tshala Muana afudde

Kitalo! Omuyimbi Munnansi wa Congo Élisabeth Tshala Muana Muidikay eyamanyibwa ennyo nga Tshala Muana afudde enkya yaleero ku myaka 64. Ono yazaalibwa nga 13 May 1958.

Oluyimba lwo genda olwekubire ewuwo – DJ agobye Big Eye ku siteegi ya Kenzo

#Wolokoso; Big Eye StarBoss bakannyama bamuwazewaze okumuggya ku siteegi mu Kivvulu kya Eddy Kenzo oluvannyuma lwokugezaako okukuba DJ eyagaanye okuddamu okuzannya oluyimba lwe omulundi ogwokubiri wabula nakubamu lwa DJ Micheal. Big Eye yavudde mu mbeera nga agamba nti ono yamulabisizza mu maaso gabawagizi be enkumi nenkumi. Yayongeddeko nti yateeka essente nnyingi n’obudde bwe mukukola oluyimba […]

Bobi Wine muttaka mu Amerika

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine muttaka mu Ggwanga lya Amerika gyagenze okuyimbira mu kivvulu ekitegekeddwa okubaayo ku Lwomukaaga e Burlington Marriott. Kyagulanyi atuukidde mu kibuga Boston era ayaniriziddwa Bannayuganda mu ssanyu.

Poliisi egamba nti Sipapa yenyigira mu bubbi obulala 12

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekikola kukunoonyereza ekya CID bwekizudde nga Charles Olimi aka Sipapa nti yenyigira mu misango emirala 12 egyobubbi oluvannyuma lwokumuggyako endagabutonde n’ebinkumu nebikwatagana nebyo ebyagibwa mu bifo webabba. Kino kitegeeza nti Sipapa yali omu ku bantu abenyigira mu bubbi mu bifo okuli; […]

Ekivvulu kya nyege nyege okusobola okubaawo abategesi tubawadde obukwakulizo – Minisita Akello

Hon. Akello Rose Lilly Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byempisa avuddeyo nategeeza Palamenti nga bwebawadde abategesi ba Nyege nyege obukwakulizo obulina okutuukirizibwa ekivvulu kino okubaayo. ▶️ Abaana abali wansi w’emyaka 18 tebakirizibwa mu kivvulu kino. ▶️ Teri akirizibwa kubeera ku kivvulu kino ngali munkunamyo. ▶️ Teri muntu akirizibwa mu kivvulu kino nga waliwo ebitundu byomubiri […]

Poliisi ekutte Sipapa – SCP Fred Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzigu ekya Directorate of Crime Intelligence bwekikutte Olimu Charles Sipapa, abadde anoonyezebwa ku bigambibwa nti yenyigidde mu bubbi mu maka ga Jacob Arok, e Kawuku-Bunga. Enteekateeka zigenda mu maaso okumukwasa CID mu Kampala Metropolitan Police, okwongera okumukunya n’oluvannyuma akwasibwe Kkooti.

Sipapa Poliisi emuyigga lwabubbi – SCP Fred Enanga

Bambega okuva ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, bakoze okunoonyereza ku bubbi obwakoleddwa mu maka ga Munnansi wa Sudan Jacob Arok e Kawuku mu Bunga mu kiro kya 28-29 August 2022 era nebakwata abasuubira okwenyigira mu bubbi buno era nebaako nebintu byezudde. Kigambibwa nti ekibinja kyababbi bamenya nebayigira mu maka ga Arok nebabakuba kalifoomu nebabba […]

Nwagi twamugoba lwakwambala bubi ngajja ku Minisitule – Mundeyi

Omwogezi w’ekitongole ekikola ku ppaasippooti mu Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Simon Peter Mundeyi avuddeyo kubyatuukawo wiiki ewedde omuyimbi Winnie Nwagi bweyagobwa ku kitebe kya Minisitule. Mundeyi agamba nti ennyambala y’omuyimbi Nwagi yali yesitaza nga tekirizibwa ku kitbe ekyo kuba abantu bangi abagendawo omuli Bannaddiini, abakulembeze ab’enjawulo, Baminisita, abazadde abajja n’abaana baabwe n’abalala. […]