Daddy Andre namukyawa lwakugaana kwekebeza – Angella Katatumba
Omuyimbi Angella Katatumba avuddeyo ku bya Daddy Andre, “Mbulamusizaako mwenna, Nvuddeyo okwanukula abo ababadde bambuuza ku kiriwo wakati wange ne Andre. – Ebbanga erisukka mu myezi 3, Andre yampisanga ng’Omumbejja. Yamalirako ensimbi ezisoba mu bukadde 20. Tewali kyenali njagala kyatangulira oba okunzikiriza okubaako kyensasula. Yandagayo mu mikwano gye, ab’oluganda lwe nantwala newaabwe mu kyalo. – […]
Kitalo! Arlus Mabélé afudde
Kitalo! Omuyimbi wa Soukous Arlus Mabélé afudde. Ono abadde atawanyizibwa ekirwadde kya kkokolo wemimiro. Ono afiiridde ku myaka 67.
Big Eye yesimbyeewo ku ky’abavubuka ekya NRM
Big Eye StarBoss avuddeyo nategeeza nti naye asobola; “Kyokka kyensobola okubasaba mwe kunesiga n’okumpagira. Ndi mwetegufu okukolera abavubuka mu Yuganda. Ku lwa Katonda n’Ensi yange🇺🇬.”
Chairman Nyanzi ayanjuddwa
Chairman Nyanzi ayanjuddwa, Bannakisinde kya People Power – Uganda nga bakulembeddwamu Bobi Wine ne Barbie Kyagulanyi babaddewo nga abajulizi e Kyankwanzi.
Bobi Wine akyalidde ku muwagize we mu Ddwaliro
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine akyalidde ku muwagizi we Omulongo Babirye mu Ddwaliro gyaali ku kitanda. Omukadde asanyuse okulaba ku Munnakisinde kya People Power – Uganda gwayagala ennyo.
Bebe Cool leka kutufuula basiru ate! – Frank Gashumba
https://youtu.be/EjTXuFc56gQFrank M. Gashumba avuddeyo ku nsonga y’okukuba Bebe Cool obuccupa ku kivvulu kya Cindy sanyu; “SFC, FBI, CIA, KGB bisaana biveeyo binoonyereze ku bakasuka obuccupa ku bivvulu. BEBE COOL alabika okuba nga yeyategese abamukubye obuccupa asobola okulabikira mu mawulire wamu n’okusaasirwa. Teriiyo muntu ategeera asobola kusigala ku siteegi nga ayimba nga bwebamukuba obuccupa bwatamanyi naki […]
Bebe Cool asonyiye abavubuka abamukuba obuccupa!
Omuyimbi Bebe Cool avuddeyo olunaku olwaleero nagenda ku Central Police Station (Uganda Police Force) mu Kampala okulaba abavubuka Poliisi begamba nti yabakutte olw’okumukuba obuccupa mu kivvulu kya Cindy sanyu ekya Boom Party ekyabadde ku Cricket Oval. Bebe Cool avuddeyo nategeeza nti bano abasonyiye! https://youtu.be/EjTXuFc56gQ
Bebe Cool naawe tolina nnyimba kyabava bakubye obuccupa – Big Eye
https://youtu.be/EMUhqLXXgIY Omuyimbi Big Eye StarBoss avuddeyo naddiza Bebe Cool omuliro; “Ndowooza Papa (Bebe Cool) naawe okukuba obuccupa kyabadde nti tolina nnyimba. Nawulira bubi nnyo bwewavaayo nogamba nti ekyankubya obuccupa kuba sirina nnyimba naye saasobola kukulaga busungu bwange kuba nkuwa ekitiibwa nga mukulu wange. Kyali tekisaana kuva mu ggwe kuba kyali kyakweyagaliza nnyo okusinziira ku mbeera […]
Bobi Wine mukwano ggwange – Gen. Muhoozi
Gen. Kainerugaba Muhoozi; “Abawagizi bange bangi bangamba ntuule wansi ne muganda wange Bobi Wine. Sirina buzibu kwogera naye, twayongeranga edda era twala bamikwano. Nkubiriza abavubuka bonna obutalowooleza mu lutalo okusinga eddembe.”