Kato Lubwama ku myaka gyo tolina mutima muzadde – Pallaso

Peter Ssematimba afunye 13 mu bya S.6

Omubaka wa Busiro South mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Peter Sematimba afunye obubonero 13 mu bigezo bya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) 2019.Sematimba yakola Divinity (CRE), Art ne Literature nafuna D,B,D ne subsidiary passes mu General Paper ne Computer Studies.

Eddie Mutwe akwatiddwa

Bannakisinde kya People Power – Uganda okuli Women Youth Coordinator Namirembe Angella wamu n’Omukuumi wa Bobi Wine Eddie Mutwe bakwatiddwa Poliisi ku bigambibwa nti babadde bekalakaasa kubigambibwa nti Poliisi etomedde Munnakisinde kyabwe Ritah Nabukenya nafiirawo.

Bobi Wine ntaasa – Big Eye

Big Eye StarBoss; “I did my best mu kalulu k’e Kyadondo East. Nange mbereraamu Papa. Just yogera n’abawagizi bo bandeke nkole, Nkimanyi bajja kuwuliriza. Nze siyina mulimu mulala gwenkola. Bobi Wine.”

Sipiika awadde ba Ghetto Kids obukadde 114

Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga olunaku olwaleero akwasiza abaana ba Ghetto Kids cheque ya bukadde 114. Sipiika yeyama okukungaanya ensimbi zino omwaka oguwedde era nga buli mubaka yali wakusalibwako emitwalo 25 okulaba nti bataasa ennyumba y’abaana bano.

Bobi Wine akubye Bannakenya omuziki

Bobi Wine akubye Bannakenya omuziki mu kivvulu kya Buju Official ekyabadde e Nairobi.

Kitalo! Omuwala eyazannya nga Gloria mu Queen of Katwe afudde

Nikita Pearl Waligwa 15, omuwala eyazannya nga Gloria mu ffirimu ya ‘Queen of Katwe’ afudde. Ono yafudde olunaku lw’eggulo obulwadde oba kookolo w’obwongo mu ddwaliro lya TMR International Hospital e Naalya gyabadde ajanjabirwa. Nikita yakeberebwa nazuulibwa nti yalina Kookolo mu 2016.

Bobi Wine ategese ekivvulu ku Independence

Munnakisinde kya People Power – Uganda era Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yavuddeyo olunaku lw’eggulo nawandiikira omuduumizi wa Poliisi ya Yunganda Martins Okoth Ochola nga omutegeeza nti ku nga 9 – October – 2019 wakubeera n’ekivvulu ku One Love Beach Busabala kyatuumye #OsobolaKuIndependence.

Nantume ne Mariach bagobeddwa mu Amerika

#Wolokoso; Omuyimbi wa The Golden Production / Band Maureen Nantume ne Munnakatemba Mc Mariach batikiddwa okuva mu Amerika nebazibwa okwaboobwe. Bano bombi bawereddwa okumala emyaka 10 nga tebazeemu kudda mu Amerika oluvannyuma lw’okusaba Visa okugenda mu Amerika nga yabulambuzi wabula nebasangibwa nga bakuba bivvulu. Kigambibwa mbu babadde bagezaako kwewala kusasula misolo. Bano babadde batwalibwa abategesi […]

Antiisa okunzita sitidde gyangu – Dr. Jose Chameleone

Omuyimbi Dr. Jose Chameleone avuddeyo ku mukutu gwa Face book nagamba nti waliwo abamutiisatiisa okumutta; “Mbadde nfuna obubaka obuntiisatiisa okuva ku nnamba eno +256 778 935 681. Omuntu ono yeyita General, nasooka nenfuna obubaka nga 10 – Sept – 2019 ku ssaawa kkumi nabbiri n’eddakiika kumi namukaaga (6:16pm) nga bangamba mpeereze obukadde 5 oba okuttibwa. […]