Waliwo owa ADF antiisa mukyala wange – Bebe Cool

Muggwe mabeere gammwe muve ku nnyambala yange – Spice Diana

Omuyimbi Spice Diana yavuddeyo nalumba abawagizi be abamunenya ku nnyambala ye; “Mulekere awo okugamba okwambala nga abayimbi bammwe aba Kadongo Kamu. Nze kyendi kyendi ekinfuula ow’enjawulo ku balala. Mulowooza ddi lwendibeera kyendi nga mwagala mbeere omuntu omulala. Emibiri gyammwe tegisobola kufaanana bulungi mu ngoye nga zino zenyambala, guma yonsa baanabo. Abamu ku ffe emibiri gyaffe […]

Big Eye tolina mugaso ku nsi – Don Zella

Eyaliko muninkini wa Ibrahim Mayanja aka Big Eye StarBoss Nalongo Sheila Don Zella naye avuddeyo neyegatta ku balwanirira Ronald Mayinja nga naye alumbye Big Eye; “Mozey Radio yafiira bwereere singa ggwe wafa, oli kikolimo, nabadde sigenda kukuddamu naye gwewandeetedde okuddamu. Singa wasirise natobaako kyoyogera wandivuddeko ki? Bwebiba nga ebintu bitambula bulungi lwaki waddukira e Bungereza? […]

Entegeera ya Bebe Cool n’emyaka gyalina bindeka newuunya – Ronald Mayinja

Omuyimbi Ronald Mayinja avuddeyo nadda mu muyimbi munne Bebe Cool eyavuddeyo namunenya ku ky’okuyimba olumbi bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; “Bebe Cool okusisinkana Pulezidenti agiraba nga deal yakukola ssente. Bebe Cool anyiiga olw’okuba alabika yalimba Pulezidenti nti embeera nnungi kati bwawulira mbyogera mu maaso ge alaba […]

Mayinja wumuzza engalabi yo – Big Eye

Omuyimbi Big Eye StarBoss naye avuddeyo nalumba muyimbi munne Ronald Mayinja olw’okuyimba oluyimba Bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Serena mu kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; “Kitange RONALD MAYINJA nkusaamu ekitiibwa, wabula temuddayo kubuzaabuza bantu. Mwe mumaze okwekolako muteredde kati mulaba naffe ba musaayi muto akaseera katuusetwekoleko tutereere ate mutandise okutubuzaabuza nga […]

Basabidde ba Celeb e Lubaga

Olunaku olwaleero ku lutikko e Rubaga wabaddeyo okusabira abantu ab’enjawulo omuli abayimbi ne Bannabyabufuzi ab’enjawulo okubadde Bobi Wine, Jose Chameleone, MP Zaake Francis Butebi, Dr Hilder Man n’abalala. Rev. Father Simon Peter Ssekyanzi akubirizza naddala abayimbi ne Bannakatemba okukozesa obulungi ebitone byabwe okusinga okubikozesa mu bintu ebitaliimu Katonda.

Balam asazizaamu okusondera Chandiru ssente

#Wolokoso: Barugahara Balaam Ateenyi avuddeyo nasazaamu okusondera Jackie Chandiru.ssente oluvannyuma lw’aboluganda lwe okuvaayo bebategeeza nti bagenda kumusasulira. Balam avuddeyo neyebaa abantu bonna ababadde bavuddeyo okudduukirira Chandiru. Ab’oluganda lwe bagamba nti bafunye omuntu wa Family agenda okusasula ebisale by’eddwaliro. Bwatyo Balam alagidde Pastor Wilson Bugembe okuddiza abantu ssente zaabwe ze babadde basonze. Pastor Bugembe agamba nti […]

SK Mbuga ateereddwa okuva mu kkomera

#Wolokoso; Sulaiman Kabangala Mbuga aka Sk mbuga kyaddaaki ateereddwa okuva mu kkomera e Sweden. SK Mbuga ateereddwa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi obuluma Mbuga nga bulaga nti ddala yafera kkampuni ya Sweden ssente. Mbuga yalabiseeko mu kkooti ku lw’okutaano nga omulamuzi yabadde alina okuwa ensala ye nga 27 September wabula oluvannyuma lw’okwekebejja empoza Omuwaabi […]

MC Kats agobeddwa ku Fame lounge

#Wolokoso; Abaganda balugera nti ekuba omunaku tekya, MC KATS nga akyajanjaba ebiwundu by’okukyayibwa kati ate ebbaala ya FAME Lounge & Restaurant emugobye lwakunyooma bakoze nebanannyini ku muzindaalo saako n’okulemererwa okuleeta ba Kasitoma nga bweyategeeza.

Abatwagala mutulage nti mutwagala – Rema Namakula

REMA Namakula avuddeyo nakatambi nga alina obubaka; “Mbaagala nyo nyo mwebale nnyo abatwagalira ddala ebituufu, nammwe abatwagala naye nga mwebuzaabuza mubeere clear, mutwagala ate mwebuzaabuza temutwagala ate mutulaga mutwagala, you either love us or not muwulira mulekerawo okwebuzaabuza banange. Kale Thank you so much see you guys …….. Love you mwaaaaaaa.” Abaffe buno abuweereza Eddy […]