Ziggy Wine yafudde bisago by’akabenje – Enanga
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Alinda Micheal aka Ziggy Wine omuwagizi wa People Power – Uganda ekisinde ky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nti teyatulugunyizibwa wabula 21- July 2019 ku ssaawa 7:30pm yatomera omusomesa wa Nursery Atwolo Roy 24 eyali ava okusoma nga adda awaka mu Mulimira Zone. […]
Poliisi eyiye basajja baayo e Wankulukuku
Poliisi eyiye abasajja baayo abawanvu n’abampi ku kisaawe kya Muteesa II, e Wankulukuku awabadde walina okubeera ekivvulu kye kyepukulu akyategekeddwa Abby Musinguzi aka Abtex ne Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz Clear Process olunaku olwaleero.
Balam lekeerawo okulemesa ebivvulu byabalala ng’okola olugambo – Bajjo
#Wolokoso ne Sula Ssenyonga wamu ne Kakalaamu. Osobola okumuwuliria ku: www.afkloud.com Ekivvulu ekimanyiddwa nga ekyepukule Poliisi ekigaanyi ku bigambibwa mbu, nkiddamu mbu kirowoozebwa nti Bobi Wine ne Jose Chameleonebandiyimbayo ne kafuuka akaddaala k’ebyobufuzi. Wabula abategesi okuli Abtex ne Bajjo Eventz Clear Process bagamba nti Balam yabalemesa. Balam abawadde amagezi mugondere Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM byonna bigenda kutereera. Bajjo agamba mbu teyewuunya […]
Aganaga akubye ku Fresh Daddy omuyimbi omulala
#Wolokoso; Omuyimbi Kalifah AgaNaga avuddeyo nayanjula omuyimbi omupya Chris Johnz gwagamba nti gwazizza mu kifo kya Taata wa Fresh Kid UG Mutabaazi Paul aka FRESH DADDY gwebakubye obuccupa olunaku lw’eggulo ku Aero Beach. Aganaga agamba nti abadde akooye okumugobya Fresh Daddy ku siteegi nti tamanyi kuyimba.
Eky’ekibiina tekingaana ku kwagala Bobi Wine
‘Wadde nga tuwagira ebibiina byanjawulo mu by’obufuzi naye ndi muwagizi wo mukuyimba.’ Bwatyo omuwagizi wa National Resistance Movement – NRM bweyayogedde nga asisinkanye Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.
“Fleesi Daddy eby’ekitone wandibyesonyiye” – Desire Luzinda
Taata wa Fresh Kid UG Mutabaazi Paul aka FRESH DADDY yavuddeyo nategeeza nga Omuyimbi ow’ekitone Desire Luzinda bwamulya omutima. Ye Desire Luzinda yavuddeyo namuddamu; “Fles daddy eby’ekitone wandibyesonyiye bijakukutulila bwelele tata wange 🤣🤣🤣🤣🤣“
Swangz Avenue yetonze ku lwa Winnie Nwagi
Abaddukanya ekibiina kya Swangz Avenue bavuddeyo nebetonda kubyatuukawo ku ssomero lya St. Mary’s College Kisubi; “Twetonda nnyo olw’enneyisa ya Winnie NWAGI bweyali ayimba ku ssomero lya St Mary’s College Kisubi July nga 13. Tukoze okunoonyereza ku nsonga eno era netuteekawo enkola okulaba nti ekyo tekiddamu kubaawo. Twetondera abazadde ba bayizi, abantu mwenna wamu n’abaddukanya essomero.”
sizze kukola linnya mu byabufuzi – Jose Chameleone
Jose Chameleone; “Sizze mu byabufuzi kukola linnya, buli kimu nkikoze era nenkifuna nembikoowa. Njagala kulaba nga Gavumenti ekyuuka.”
Poliisi ekutte Jose Chameleone ne Weasel
Poliisi mu Kampala ewaliriziddwa okukwata omuyimbi Jose Chameleone wamu ne muganda we Weasel nebatwalibwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala. Kigambibwa nti bano babadde bagezaako okutambula mu kibuga wakati nga baagala okuleetawo akacankalano nga bava ku kitebe kya Democratic Party Uganda – DP ku City House. Wabula oluvannyuma Chameleone yetonze, era Poliisi nemusonyiwa olwokuba nti […]