Bobi Wine atanateesa mirundi 5 mu Palamenti nti naye ayagala bwa Pulezidenti – Hon. Ogwanga

Poliisi egaanye ekivvulu kya Chameleone e Bukomansimbi

Nga wakayita enaku ntono nnyo ng’omuyimbi Joseph Mayanja aka Jose Chameleone yegasse ku Democratic Party Uganda – DP, Poliisi mu ttundutundu ly’e Masaka esazizaamu ebivvulu bye. Okusinziira ku Robert Nkuke aka Mutima, agamba nti Chameleone yabadde n’ebivvulu 3 e Mutukula n’e Kaliisizo mu Disitulikiti y’e Kyotera n’ekirala e Bukomansimbi ku wiikendi wabula Poliisi nebategeeza basooke […]

Kitalo! Omu afiiridde mu kabenje akagudde e Gombe

Kitalo! Omuntu omu afiiriddewo mu kabenje Coaster ebadde etambuza abayimbi b’ekibiina kya Hajji Haruna Mubiru – Kream Production e Gombe bwebabadde bagenda okuyimba. Conductor wa Coaster eno afiiriddewo. Bano babadde bava Kayabwe okuyimba nga bagenda Gombe.

Bebe Cool aguze kkamera

Bebe Cool avuddeyo ku mukutu gwa Face book; “East African/UGANDA game changer. Omutindu kikulu nnyo bwoba onavuganya, munzikirize mu kadde kano kennyini mbategeeze nti Gagamel International Studio yaguze kkamera 2 eziri ku mutindo nga zikwata ebifaananyi bya vidiyo, ffirimu wamu n’olango bwa TV. 1 – Mini ARRI Alexa (222,991,715/=) 2 – RED GEMINI (91,222,191/=) Tugenda […]

Nnyumirwa Wolokoso ku www.afkloud.com

#Wolokoso; Kati nnyumirwa Wolokoso waleero ku www.afkloud.com   Olutalo wakati wa Ssenga Kulannama n’abakyala beyabbako Omusajja Ssaabakabona Jjumba lunyinyitidde, Maama Fiina abiyingiddemu – bwotyo bwewewangamya ne ku Ntebe yange. Taata wa Fresh Kid UG agamba nti mu mwezi gumu gwokka e Kampala ebbango aliwanise. Fred Ssebbaale avudde mu Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. […]

Ffe eby’e Kyankwanzi tetubiriimu – Sophie Gombya

Abayimbi abeggatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association (UMA) bavuddeyo nebategeeza nti ssi bakusisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mulusirika olutegekeddwa nga bwebaali bakiriziganyizza. Pulezidenti w’ekibiina kino Sophie Gombya agamba nti baagala kusooka kusisinkana Ssaabaminisita wa Yuganda ku mateeka agagaana bayimbi banaabwe okuyimba n’ekirala nti abateekateeka olusirika luno bbo nga aba UMA tebanategeera bulungi bigendererwa […]

Omulamuzi agobye oguvunaanibwa Don Nasser

Omulamuzi Mary Babirye yasazeewo okugoba omusango ogubadde guvunaanibwa omuvubuka eyali yegumbulidde okusasaanya ssente mu Kampala Nasser Nduhukire aka Don Nasser 32. Omulamuzi yategeezezza nga bweyamugyeeko emisango egibadde gimuvunaanibwa nga agamba nti oludda oluwaabi lubuliddwa obujulizi obumala okumuluma era nga abadde amaze ebbanga eriwerako ng’asaba oludda oluwaabi okuleeta obujulizi naye nga tebabuleeta. Era Omulamuzi yaligidde Poliisi […]

Jose Chameleon ne Pallaso begasse ku DP

Joseph Mayanja aka Dr. Jose Chameleone wamu ne Muganda we Pius Mayanja aka Pallaso begasse mu butongole ku kibiina kya Democratic Party Uganda. Jose Chameleon agenda kwesimbawo kubwa Loodi Meeya wa Kampala ate ye Pallaso agenda ku kya Mubaka wa Kawempe South mu Palamenti.

‘Bobi Wine gamba abayaaye bo baleme tukaka kuwagira Poeple Power’ – Kato Lubwama

Omubaka wa Rubaga North Hon Kato Lubwama avuddeyo nayambalira mubaka munne owa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga agamba nti atadde akajanja mu kukola ssente zaabwe ne Gavumwenti, yalibadde ayawula ebya People Power – Uganda bye. Era agambe n’abayaaye be balekere awo okubamanyiira nga babanyigiriza okuwangira People power kuba bbo tebabyagala. Yagambye […]

Lwaki abayimbi tebaganyulwa mu nnyimba zaabwe? – Gombya

Abayimba abegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Musicians’ Association nga bakulembeddwamu Pulezidenti waabwe Sophie Gombya basisinkanye omukubiriza w’Olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga. Bano babadde bagenzeeyo okwogera ku tteeka lya ‘Copyright’ lwaki teriteekebwa mu nkola. Bagamba nti abayimbi bangi baffa naye tebaganyulwa mu nnyimba zaabwe.