Wolokoso! Kato Lubwama mufu nnyo – Abtex
#Wolokoso; Omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi aka Abtex Promotions agamba nti Omubaka wa Rubaga South Kato Lubwama bwaddamu n’awangula akalulu bamukumeko omuliro ku ssaawa ya Queen, Kato Lubwama amwambalidde nti ebidomola n’amafuta babigule kati. Waliwo omuwala avuddeyo nti yepikira omuyimbi Chris Evans Kaweesi, Evans asabye bamulagirire ku ffaamu ye kuba ayagala mukazi mukozi. Kati Wolokoso osobola […]
Bajjo atwaliddwa ku kkooti ya Buganda Road
Munnamateeka Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lw’okulindirira akabanga akawerako ku kkooti e Nakawa bategezeddwa okuva ku kitebe kya SIU e Kireka nga Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz Clear Process bwagenda okusimbibwa mu maaso g’omulamuzi ku Kkooti ya Buganda Road.
Kenzo akiikiridde Yuganda e Senegal
Omuyimbi Eddy Kenzo yazeemu okusitula bbendera ya Yuganda ku weekend bweyayimbye mu Senegal mu lukungaana olukwata ku kufumbiza abaana abatanetuuka wamu n’okubakeccula ebitundu byabwe eby’ekyaama.
Bajjo aganiiddwa okweyimirirwa
Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz Clear Process eyakwatibwa ku lw’omukaaga aleeteddwa ku kitebe kya SIU e Kireka. Munnamateeka we Erias Lukwago abaddewo. Kigambibwa nti akunyiziddwa ku katambi ka vidiyo keyalimu nga akakasa Bannayuganda nga bwebasobola okusuula Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga 2021 tegunatuuka. Aguddwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro wamu ng’ogwokukozesa obubi yintanenti […]
Full Figure yemenye
Jennifer Full Figure kyaddaaki apondoose neyetondera Catherine Kusasira Sserugga.
Bajjo bamututte talinnya
Ab’ebyokwerinda olunaku olwaleero bakutte omutegesi w’ebivvuly Andrew Mukasa amannyiddwa nga Bajjo nga bamukwatidde ku Centenary Park mu Kampala webabadde bakubye olukungaana lwa Bannamawulire ne munne Abbye Musinguzi aka Abtex nga boogera ku musango gwebawawabira omuduumizi wa Poliisi IGP Martins Okoth Ochola olw’okusazaamu ebivvulu bya Bobi Wine wamu n’okwogera ku misinde mubunabyalo egya People Power – […]
Fresh Kid e swag liri mu 90
Fresh Kid UG emisomo agikwazza lutali luno ku Kampala Parents’ School gyewaabwe ekifo oluvannyuma lw’okuweebwa bbasale aba Ruparelia Group. Wabula ne Swag taryerabiranga.
‘Zanie Brown, ekizinga ky’obulungi’ – Chris Evans Kaweesi
#Wolokoso; Omuyimbi Chris Evans Kaweesi avuddeyo n’awandiikira muyimbi munne Zannie brown ebbaluwa; Ebbaluwa eri Zanie Brown. Ow’omukwano Zanie Brown, ekizinga ky’obulungi! Olunaku olwaleero nvuddeyo mu lwatu okusiima n’okutegeeza nti gwe muyimbi asinga obulungi mu bayimbi abakyala mu Yuganda. Simanyi bw’okikola! Osigala oli mulungi ne bwoba wekozeeko oba nga tewekozeeko. Kankutegeeze leero nti buli kifaananyi kyo […]
Temwatutemera luwenda mutuleke – Jose Chameleone
Omuyimbi Dr. Jose Chameleone avuddeyo nayanukula Capt. Mike Mukula ku magezi geyamuwadde okwesonyiwa eby’obufuzi; “Weebale nnyo mukwano gwange, Abasajja ab’amaanyi batemera basajja banaabwe ab’amaanyi empenda, nabwekityo, olw’okuba balemererwa okututemera empenda ky’ekiseera naffe tuwaguluze tusobola okutemera empenda abo abaliddawo nga tuvuddewo.”