“Nze siri fala kugaana ssente” – Hon. Kato Lubwama
Omubaka akiikirira Lubaga South mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon Kato Lubwama avuddeyo natabukira abamuwandiikako ku by’Ababaka okweyongeza ensako; “Nze nga Kato Lubwama sisabangako ssente zino. Naye nga bwekibeera nti Ababaka abamu bwebavaayo nebasaba ekintu kyonna, ffenna twetikka omusaalaba ogwo kuba ssente ezo zisasulwa buli Mubaka. Nga omuntu eyazaalibwa era nakulira mu Kampala, mbeera fala bwengaana […]
Fresh Kid atandise okusoma ku Kampala Parents
Fresh Kid UG olunaku olwaleero yeyanjudde ku ssomero lya Kampala Parents, bazadde be, Manager we wamu n’abakungu ba Minisitule okussa omukono ku ndagaano ya Bursary eyamuweebwa Rajiv Ruparelia okuva mu Ruparelia Foundation.
Bobi Wine ayaniriziddwa e Kalagi
Olunaku lw’eggulo omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yawaliriziddwa okuyimirira nabuuza ku bantu b’omu ttawuni y’omu Kalagi bweyabadde agenda ku kyalo Ggonve okwetaba ku mupiira.
Ab’e Lukuya baniirizza Bobi Wine mu Maanyi
Abasuubuzi mu ttawuni y’e Lukaya olunaku lweggulo bayanirizza omubaka wa Kyaddondo Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nebamusaba ababuuzeeko.
Omuvubuka alumbye Schwarzenegger namukuba
Arnold Alois Schwarzenegger eyaliko Gavana wa California yakiguddeko e South Africa bweyabadde yekubya ekifaananyi n’omuwagizi we omusajja namuva emabega namukuba tteke mu mugongo. Arnold alina empaka eza Classic Africa sports festival mu Johannesburg, South Africa.
Bad Black afunye omuninkini omupya
Bad Black kyaddaaki alaze Muganzi we nakudaalira abatanafuna nti muva ddi ku luggya.
Giweze emyaka 12 bukyanga Paul Kafeero afa
Olunaku lwa leero lwegiweze emyaka 12 bukyanga emunyeenye y’okuyimba Kadongo Kamu Prince Paul Job Kafeero Maanyiganjegere Golden Boy of Africa ava mu bulamu bw’ensi eno. Ono yafa nga 17-May -2007 mu Ddwaliro ekkulu e Mulago. Yayimba ennyimba ezisoba mu 80 era nga yaleka album 21. Yawangula engule ya Golden Boy of Africa mu 1994 olw’oluyimba […]
Ebyavudde mukukebera omusaayi gwa Geo Steady biibino
Ensonga za Geo Steady okuzaala omwana mu mwana muwala Nabweteme bifundikidde. DNA eraze nti omwana si wa Geo Steady gyebigweredde nga kitaawe omutuufu azuuse nga ye Nyanzi Mukasa Joshua nga agamba nti abadde alabirira omwana ono ne Maama we era nga yewuunyizza okumulaba mu mawulire.
“Kitatta okalya dda kadda dda?” – Bobi Wine
Kkooti y’amaggye yasalidde eyali Omuyima wa Boda Boda 2010 Abdullah Kitatta ekibonerezo kyakusibwa emyaka 10! Okujjako nga ajulidde okujulira kwe nekukirizibwa, Kitatta wakumala emyaka 8, n’emyezi 8 nga atemeza mabega wamitayimbwa nga ogyeeko ebbanga ly’amaze ku alimanda. Emyaka 2 egiyise Kitatta yali w’amaanyi nga ensi emutya, yalowooza nti yali muganzi eri abali mubukulembeze. Yali nantagambwako […]