Bobi Wine emisa agikwatidde Ntungamo
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine emisa olwaleero agikwatidde Rushenyi mu Disitulikiti y’e Ntungamo mu Kanisa ya St.James Rubaare.
‘Abakazi bazibu nnyo n’okusingawo’ – Big Eye
Omuyimbi Ibrahim Mayanja aka Big Eye StarBoss avuddeyo nawagira omusumba w’Abalokole Aloysius Bugingo nga agamba nti tamunenya kubyeyakola kuba abakazi sibangu babi nnyo n’okusinga bwebabalaba era amusaasira byayitamu kati naye asaanye abeere mugumu.
‘Ani asiriwaza ani?’ – Bebe Cool
Bebe Cool; “Oludda oluvuganya mu Yuganda lwewuunyisa, Munnabyabufuzi omupya afuna abagoberezi okuva mu b’oludda oluvuganya ababaddewo ekiyitibwa okubawulayawula. Oluvannyuma bakiriziganya okuddingana ekiyitibwa okutabagana ekitali kibi. Wabula kino kibanga okusalamu chapati ebitundu bibiri oluvannyuma n’ogigatta ng’olowooza nti enagejja. Ani asiriwaza ani? Ka vidiyo kano kalina obubaka obugenda eri abakyenvu, bbululu nabo abagoberera emyuufu.” Kizza Besigye Bobi […]
‘Temumeza Fresh Kid malala’ – Beenie Gunter
#Wolokoso; Omuyimbi wa Dancehall Beenie Gunter, ng’amannya ge amatuufu ye Baguma Crescent avuddeyo nasaba Bannayuganda obutatijisa nnyo nakuwanika omuyimbi ow’emyaka 7 Fresh Kid UG Patrick Ssenyonjo. Ono agamba nti Fresh Kid bwaba wakuyimba obulamu bwe bwonna ebintu alina kubikwata mpola kuba okumutijisa kijja kumumeza amalala ekijja okumusuula amangu ennyo.
Poliisi yakola bubi okumenya endabirwamu y’emotoka ya Bobi Wine – HE. Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo n’ekiwandiiko ku kukuba enkungaana, nga agamba nti awakanya abantu abavaayo nebagamba nti Yuganda etandise okugwa ng’abalowooza ekyo bandiba nga sibamazima nga tebamanyi nabigenda mu maaso mu Ggwanga. Pulezidenti agamba nti alina obujulizi obusobola okwoleka obulungi nga kino bwekitali kituufu. Bwatyo avuddeyo nalabula Bannabyabufuzi wamu ne Bannayuganda abagufudde omugano nga ogw’enswa […]
Bobi Wine ateereddwa kukakalu ka Kkooti
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Esther Nahirya atadde Omubaka wa Kyaddodo East Roebrt Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ku kakalu ka Kkooti. Ono yeyimiriddwa Babaka banne; Mbwatekamwa Gaffa ne Nsamba Patrick wamu n’omukyala Miria Matembe.
Kkooti ya Buganda Road ezeemu enkya yaleero okuwulira ogwa Bobi Wine
Okuddamu okuwulira omusango oguvunaanibwa omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kuzzeemu enkya yaleero ku Kkooti ya Buganda Road ne mukkomera e Luzira. Omulamuzi Esther Nahilya wakusinziira mu Kkooti ku Buganda Road nga awuliziganya butereevu nabali mu e Luzira Bobi Wine gyateereddwa mu kaguli munkola empya eyatongozebwa ekitongole kyamakomera eyitibwa ‘Tele-Conferencing’. Okusinziiira […]
Abagenze okulaba Bobi Wine babagobedde ku mulyango
Abantu ababadde bagenze okukyalira omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okubadde babaka banne okuli; Mp Bakireke Nambooze owa Mukono Municipality, MP Zaake Francis Butebi owa Mityana Municipality, Latif Ssebagala Sengendo owa Kawempe North, Allan Ssewanyana Bwino, Asuman Basalirwa, Loodi Meeya Erias Lukwago wamu ne Bannamateeka be bagaaniddwa okuyingira okumulaba nebategeezebwa nti […]