Cindy oli mubi nnyo ongoba otya ku siteegi – Rema K

Cindy agobye omwana omuto ku siteegi

Omuyimbi Cindy sanyu agobye omuyimbi omuto ku siteegi ku Fusion Auto Spa e Munyonyo nga agamba nti omwana omuto tasobola kubeera mu bidduula ssaawa mukaaga ogw’ekiro. Cindy yagobye Rema K nga agamba nti amazina geyabadde azina gaweebula omwana omuto nga ate agazinira mu bbaala. Cindy agamba nti ye ng’omukyala era Maama tekiba kyabuvunaanyizibwa bazadde kuleka […]

Bebe Cool alaajana, ‘kata bankube amasasi’

Bebe Cool; “Omusajja ono yabadde ayagala kunkuba masasi oluvannyuma lwokutomera emotoka yange. Twasobodde okumuggyako emmundu era nakwatibwa owa Poliisi. Oluvannyuma tamututte ku Poliisi e Ntinda era nebandagira nkole sitaatimenti. Bwenatuuse ku Poliisi, banne babadde batuuse dda nga basazeeko Poliisi y’e Ntinda nga batadde abasirikale ku mudumu gw’emmundu. Bandagidde okuva mu kifo ekyo mu bwangu era […]

Bbaasi yaffe naye aba Lubiri High School bagipangisizza – Midland High School

Essomero lya Midland HIGH School- Kawempe livuddeyo ku katambi akatambula nga kalaga abayizi mu bbaasi y’essomero nga bakola ebikolwa ebyesitaza. Essomero ligamba nti liri ku musinji gwa ddiini nabwekityo abayizi b’essomero lino tebasobola kwenyigira mu bikolwa nga bino. Essomero ligamba nti bbaasi yalyo yapangisiddwa essomero lya Lubiri High School okutwala abayizi mu mwoleso e Jinja.

Cephco eyavuma Full Figure agaaniddwa okweyimirirwa

Omuvubuka eyeyita Dr. Cephco amanyiddwa ennyo mukuvuma abantu ku mukutu gwa Tiktok agaaniddwa okweyimirirwa era nazzibwayo mu Kkomera e Kitalya. Ono yakwatibwa Uganda Police Force oluvannyuma lwa Jennifer Nakanguubi aka Jenifer Fullfigure okumuggulako omusango nti yamulebula saako n’okumuvuma.

Yuganda yetaaga ssaala – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda; “Olukalala lw’Abawabuzi ba Pulezidenti okuli; Full Figure, Buchaman ne Catherine Kusaasira. Naye Mukama Katonda nebwoba owagira nnyo ekintu tekikwetaagisa kutegeera kwanjawulo, oyinza otya okuyisa ssente mbu zakupangisiriza Full Figure naye nga tolina ssente zirabirira ICU mu Malwaliro okwetoloola eggwanga lyonna?!”

Lwaki Sheebah osirika nga bampayira – Andrew Mwenda

Andrew M. Mwenda avuddeyo ku kya Sheebah okugamba nti waliwo eyali ayagala okumusobyako; “Kyewuunyisa omukyala ow’erinnya engeri gyayinza okuswazibwa n’okulumya mu kifo kyokuwaabira eyakikoze ku Uganda Police Force ate nadda ku Social Media, afunemu ki? Kumusaasira? Lwaki tagenda ku Poliisi ayambibwa oba mu Kkooti? Enkola yonna gyeyandigoberedde yandimuyambye okufuna okusaasirwa wamu n’obwenkanya mu mateeka. Akatambi […]

Mulekeraawo okumanyiira – Sheebah Karungi

Sheebah Karungi alina kyagamba; “Sifaayo ku ki kyemundowooleza bwemundaba ku siteegi oba Vidiyo olwenyambala yange, mulina okuwa omubiri gwange ekitiibwa. Ggwange, ndi waddembe okugukozesa kyenjagala. Naye ggwe tolina lukusa olwo.”

Sijja kugenda ku kabaga ka Gen. Muhoozi – Big Eye

#Wolokoso; Omuyimbi Big Eye StarBoss; “Sirina nsonga enetabya mu kabaga kamazaalibwa ga Gen. Muhoozi Kainerugaba kuba embeera eno embi gyempitamu kati tavangayo kunsaasira so nga byonna ebintuukako bizze lwakuba nwanirira Gavumenti eno ye gyannyumirwa. Omulimu ggwange gwaggwawo. Benyiizizza mu nsonyiwe. Naye mwebale kumpita.”

Kusaasira ali mu maziga, DPC agadde ekivvulu kye

Omuyimbi Catherine Kusasira Sserugga ali mu miranga oluvannyuma lwa DPC okuggalawo ekivvulu kye. Kusaasira alajanidde IGP ne DIGP wa Uganda Police Force okuvaayo mu bwangu bakole ku DPC Kamujebe, ono agamba nti bwoggalawo ekivvulu kya Catherine Kusasira oba nga agaddewo ekivvulu kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuba ye wa National Resistance Movement – NRM. Ono […]