Abawagizi ba Bobi Wine bakyekalakaasa
Abawagizi ba Munnakisinde kya People Power Our Power era omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine mu bitundu eby’enjawulo bakyagenda mu maaso okwezooba ne Poliisi nga bekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe ku ng’eri omuntu waabwe gyeyasindikiddwa ku alimanda e Luzira omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ow’eddaala erisooka Esther Nahirya. Poliisi enkya […]
Bobi Wine asindikiddwa e Luzira okutuusa nga 2-May-2018
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine asindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 2-May-2019 ku misango gy’okwekalakaasa nga awakanya omusolo gwa OTT mu 2018.
Bobi Wine avunaaniddwa gwakalakaasa olwa OTT
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine asomeddwa emisango gyeyazza nga 11-July-2018 bweyali yekalakaasa ku musolo gwa OTT. Kigambibwa nti ono yakuba olukungaana nga talina lukusa kuva eri Poliisi wamu n’okukuba olukungaana nga tagoberedde biragiro bya Poliisi. Kigambibwa nti era yalemesa Poliisi okukebera abantu beyali atambula nabo okulaba nti tebalina kyakulwanyisa kyonna […]
Bobi Wine asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku Kkooti ya Buganda Road
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku Kkooti ya Buganda Road.
Poliisi yezoobye n’abawagizi ba Bobi Wine
Poliisi kati eri ku mulimu gw’okuggulawo ekubo ly’e Kayunga e Naggalama oluvannyuma lw’abantu okwekalakaasa nebookya emiti nga balaga obutali bumativu bwabwe olwa Poliisi okukwata omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.
Bobi Wine atwaliddwa ku Poliisi e Naggalama
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine akwatiddwa Poliisi nga kati akuumirwa ku Poliisi y’e Naggalama.
Poliisi ekutte Bobi Wine nemwolekeza ekitebe kya CID
Poliisi ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala mu bawagizi b’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ababadde babemberedde ku kubo nga bamuwerekerako okwolekera ekitebe kya CID e Kibuli gyeyayitiddwa. Poliisi ewaliriziddwa okumukwata nemussa mu motoka yaayo eya kaduukulu nebamuvuga nga bamwolekeza ku kitebe kya CID e Kibuli.
Lwaki Ababaka temulumirirwa muntu wawansi? – Bobi Wine
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine: “Olwaleero nsomye empapula z’amawulire ne newuunya ekikolwa ky’Ababaka banange nga bagamba nti beyongezza ensako nga bawa ensonga nti ebbeeyi y’ebintu n’ebyetaago erinnye mu Yuganda. Babaka banange kyebaakoze kikyaamu nnyo okwelowozaako bokka neberabira Bannayuganda abakola ennyo so nga bafuna kitono mumbeera y’ebyenfuna ebanyigiriza ennyo. Bwekiba nga […]
Empaka za Miss Curvy zawedde
Belinda Nansasi yawangudde empaka za Miss Curvy Uganda 2019. Ono yewangulidde Jeep Grand cherokee wamu ne sikaala okusomera ku Victoria University Kampala Uganda eya Sudhir Reperelia nga tasasudde yadde ekikumi.