‘Bobi Wine tosobola Museveni manya wokoma’ – Golola
Wolokoso: Omukubi w’emisambaggere Golola Moses avuddeyo nawa omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nti yandibadde teyesimbawo ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuba abavubuka bo mu Ghetto bamwetaaga. Ono agamba nti alina obumanyirivu mu njaga era yandibadde awabula abavubuka ku ngeri gyebananywamu enjaga, n’okulwanyisa abo abatunda ebisubi mu kifo ky’enjaga. Bino n’ebirala […]
Poliisi eyise Bobi Wine annyonyole
Kyaddaaki Poliisi efulumizza ekiwandiiko kiba kuntumye eri Omubaka wa Kyaddondo East RObert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ngeyagala annyonyole ku byeyayogera yo byegamba nti byali bikuma omukiro mu bantu wamu n’okubayita okukuba olukungaana olutali mu mateeka. Omubaka Kyagulanyi yetaagibwa okulabikako eri Commisioner wa Poliisi avunaanyizibwa ku misango gy’ebyobufuzi.
Bobi Wine agenze Bugiri kuziika
Omubaka wa Kyaddondo East Roberrt Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine agambibwa okuba nga yatolose ku Poliisi eyabadde emusibidde mu makaage e Magere ali Bugiri gyagenze okuziika Haji Siraji Samanya Lyavaala.
Bobi Wine atolose ku Poliisi
Amawulire agakaggwawo galaga nga Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yatolose okuva mu makaage e Magere nakuba Poliisi ekimooni eyateereddwawo okumukuuma aleme kufuluma nga amayitire ge teganamanyika.
‘Bobi Wine alina omusango’ – Minisita Kania
Omubeezi wa Minisita ow’ensonga zomunda mu Ggwanga Obiga Mario Kania avuddeyo olunaku olwaleero nakakasa nti ddala kituufu Poliisi yasibidde Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine awaka. Minisita Kania ayongeddeko nti Munnakisinde kya People Power Our Power, Bobi Wine yazizza emisango era agenda kuba ayitibwa ku offiisi za CID leero oba enkya […]
‘Diamond wegendereze byoyogera’ – Zari
Zari the bosslady avuddeyo nayanukula omuyimbi Diamond Platnumz eyagenda ku Leediyo ye e Tanzania namulangira obwenzi nti yali ayagala P-Square- The Official Page. Zari agamba nti abo abayinza okuba nga bakikirizza bamusonyiwe naye basiru. Agamba nti Diamond amwesonyiwe kuba yagaana okubawo obuyambi n’abaana, tamanyi nebwabali. Amwewuunya okumulangira nti mwenzi so nga ye yalina omukazi nga […]
‘Poliisi okugaana Bobi Wine okuyimba emutaasa balabe’ – Tumwebaze
Minisita Frank Tumwebaze ku kivvulu kya Bobi Wine akyasaziddwamu; “Kyemanyi nti munnabyabufuzi ayagala okukozesa omukisa gw’abadigize ayogere eby’obufuzi. Mu bantu abo abazze mu kivvulu mwandibaamu abaagala okulumya Hon. Kyagulanyi ate bamale bakiteeke ku Gavumenti.”
‘Omuyimbi omu yekka gwetugaana okuyimba naye abalala bayimba’ – Ofwono Opondo
Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo avuddeyo nayanukula ekitebe ky’Amerika mu Yuganda; “Gavumenti ezuubira abakulembeze okugoberera wamu n’okugondera obukwakulizzo wamu n’ebiragiro ebiteekebwawo ebitongole by’ebyokwerinda nga bakola emirimu gyabwe. Ng’ojjeeko omuyimbi omu, abayimbi abalala mu Yuganda beyagalira mu ddembe lyabwe nga bayimba wamu n’okukozesa emikutu gy’ebyempuliziganya gyonna awatali abakuba ku mukono. Ne Bannabyabufuzi abalala beyambisa emikutu gyonna […]
Ekitebe ky’America kifulumizza ekiwandiiko ku bivvulu ebigaanibwa Poliisi
Ekitebe ky’Amerika mu Yuganda kivuddeyo ne kifulumya ekiwandiiko nga kijjukiza Gavumenti ya Yuganda okussa ekitiibwa mu ddembe lya Bannayuganda okukungaana wamu n’okwogera; “Olunaku olwalweero twegatta ku Bannayuganda abangi abali eyo nga bebuuza lwaki Gavumenti ensangi zino eyimiriza ebivvulu, pulogulaamu ku leediyo, okulemesa okwekalakaasa okw’emirembe wamu n’enkungaana, wamu n’okusindika ab’ebyokwerinda ababagalidde ebyokulwanyisa eby’amaanyi mu Bannayuganda abali […]