‘Nina okugenda ku Poliisi e Naguru’ – Bobi Wine

‘Nze nakulira mu Ghetto nsobola okupambana’ – Bobi Wine

Bobi Wine; “Nze nga omuvubuka eyakulira mu Ghetto, manyi engeri gyensobola okubeerawo nga ndi musanyufu wadde nga sirina ssente. Ng’omuntu, sikirinaamu buzibu okubeerawo omwaka omulamba nga sikola.”

Poliisi eremedde mu maka ga Bobi Wine

Poliisi ekyalemedde mu maka g’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga temukiriza kufuluma kubaako walaga.

‘Bobi Wine alina eddembe okuyimba’ – Bobi Wine

Omuyimbi A PASS avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Face book nayogera ku kyokugaana Bobi Wine okuyimba; “Bino mbyogera nga Munnayuganda so ssi ng’omuyimbi, nsuubira buli omu alina eddembe okukola asobole okulabirira ‘family’ ye naye sisuubira nti kino kikola ku Bobi Wine yekka nze kunze sikituufu. Ogaana omusajja okukola ebivvulu bye mu ngeri yonna, wamu n’okumulemesa […]

Poliisi emenye emotoka ya Bobi Wine

Poliisi ewaliriziddwa okumenya emotoka Bobi Wine mwabadde atabmulira nekubamu omukka ogubalagala okumujjamu nga kati ateereddwa mu motoka ya Poliisi nabuzibwawo.

Bobi Wine akwatiddwa Poliisi e Busaabala

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wamu n’omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana Bwino bakwatiddwa Poliisi e Busaabala wabula ye Allan Ssewanyana atolose.

Bajjo ne Abtex bakwatiddwa Poliisi

Omutegesi w’ebivvulu Bajjo Eventz Clear Process ne Abbey Musinguzi aka Abtex abaategese ekivvulu kya Bobi Wine eky’e Busaabala olwaleero bakwatiddwa Poliisi bwebabadde bagenze mu lukiiko lwa Bannamawulire.

Poliisi eyimirizza ebivvulu bya Bobi Wine

Poliisi kyaddaaki efulumizza ekiwandiiko nga kiraga nga ebivvulu byonna ebyategekeddwa Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine bwebiwereddwa okubaayo nga nekyenkya ku Easter Monday e Busaabala mwokitwalidde. Ebbaluwa eteereddwako omukono gwa Director of Operations Asuman Mugyenyi agamba nti emirundi egiwerako mu bivvulu ebiyise Bobi Wine n’abawagizi be balemereddwa okugoberera ebiragiro ebibaweebwa Poliisi omuli; […]

Easter Monday Busaabala teri kuzikiza

Wolokoso: Kyaddaaki Poliisi emaze nekiriza ekivvulu ky’omubaka wa Kyaddondo Easter Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ekya Easter Monday e Busaabala ku One Love Beach okubaayo. Bw’obubaka bwe obwa Easter bugenze bwebuti; “Good Friday etusomesa okubeera abavumu mu mbeera y’okutiisibwatiisibwa, naddala mu maaso gabali b’enkwe netubeera bavumu mukutulugunyizibwa nga tukimanyi bulungi nti ku nkomerero tujja […]

Ekubo ly’omusaalaba

Abagoberezi ba Yesu Kulisitu okuva ku lutikko e Rubaga bakedde kutambuza kubo lwamusaalaba nga bakulembeddwa Archbishop wa Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga.