Bannayuganda mukole temutamunyiira mukole – Kato Lubwama
Eyali omubaka wa Lubaga South Kato Lubwama Paul – Official avuddeyo nakudaalira Bannayuganda nti temwagala kukola temusobola nakulya bulungi so nga ye kati yeriira kukyennyanja. Nti kati ye n’omugagga Lwasa Emanuel Kaweesi beriira ku ssente zaabwe. Basekeredde Dianah Nabatanzi nti yali ayagala kufuga Lwasa nga mutabani we natuuka nokumweragirako nga yakakola emyaka 5 gyokka so […]
Maama Fiina awadde Ssekitooleko booda booda
Maama Fiina atuukirizza ekisuubizo kyeyakola ekyokugulira omusituzi w’obuzito Julius Ssekitooleko booda booda empya ttuku wamu n’okumuwa entandikwa yabukadde 2.
JOSE CHAMELEONE OKUBA NGA ASABIRIZA KATI KISWAZA NNYO
Dj Jacob Omutuuze ; “Ku myaka n’obumanyirivu Jose Chameleone byalina kati yandibadde alina Record Label eyiye mpozzi n’ekibiina kyobwannakyewa ekiyamba abayinike. Ku myaka emitono Diamond Platnumz gyamaze mu kuyimba bino byonna abirina. Kyanaku nti Chameleone, ku myaka gyamaze nga ali waggulu mu kisaawe kyokuyimba kati asabiriza busabiriza olwaleero. Kino kiri kiti olwokuba Chameleone ne […]
Ba blogger baagala kulonda Pulezidenti waabwe
Ne ba Blogger batandiseewo ekibiina ekibakulembera ekya Uganda Bloggers Association kati balwanira bukulembeze. Kaye Wisdom – National Unity Platform – NUP eyambalagana ne Katto Ashburg owa National Resistance Movement – NRM eyakakubwa nawangulwamu amannyo ne Isma Olaxes nampawengwa. Linnya ki etuufu eriyinza okutuukira ku kibiina kino singa obadde wakukiwa linnya?
ABAYIMBI LWAKI MWEMALAMU? – BOBI WINE
Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yavuddeyo ku bayimbi abaddukira ewa Gen. Salim Saleh; “Bwendabye bayimbi bannange nga bafukamiridde muto wa Nakyemalira Gen. Salim Saleh okulebeeta obuswazzi nenzijukira olugero lwa Joseph Starlin nakyemalira wa Soviet mu kyasa 19. ‘Olumu Starlin yakongola enkoko ennamu ebyooya okusobola okuwa abagoberezi be essomo. Enkoko eno eyali effa obulumi […]
ASHBURG KATTO BAMUKUBYE NEBAMUGGYAMU AMANNYO
Asburg Katto mu kiro ekikeesezza olwaleero naye yalozezza ku bukambwe bwa Uganda Police Force bweyanadde atambula mubudde bwa curfew; “Wadde neyogeddeko nze ani, bagenze mu maaso okunkuba nebanziggyamu n’amannyo, naye nga lwaki nvaamu amannyo mu mikono gya Gavumenti nekitongole kyekimu kyenabadde nva okukiikirira ku TV? Eno yengeri Poliisi gyemwasazeewo okunsasula? Mwebale nnyo.”
NRM MULI BABI NNYO MWANSUULA – HASSAN NDUGGA
Omuyimbi Hassan Nduga ug avuddeyo nakukulumira National Resistance Movement – NRM nga agamba nti babi nnyo bebamulabya enaku gyayitamu enaku nga balowoozesa abantu nti bamuwa omudidi gwa ssente ekitali kituufu. Akiikidde NRM ensingo nti yamukyayisa Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine eyali atera okumuwa ku kamere. Obubaka abuyisizza mu […]
ABAYIMBI, BANNAKATEMBA, ABATEGESI B’EBIVVULU WAMU NABALALA BAKUFUNA EMITWALO 10
ABAYIMBI, BANNAKATEMBA, ABATEGESI B’EBIVVULU WAMU NABALALA BAKUFUNA EMITWALO 10: Gavumenti evuddeyo nefulumya olukalala lw’abantu abagenda okuduukirirwa mu nkola yaayo eyokuyamba abayinike mu kadde kano akomuggalo ogw’enaku 42. Bano buli omu agenda kufuna emitwalo 10 okuva mu Gavumenti ya Yuganda wamu n’emisolo gyazo.
Mukyala wa Eddie Mutwe yazadde omwana mulenzi
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Muganda wange @Eddie Mutwe mukyala we yamuzaalidde omwana omulenzi mu kiro ekiyise. Maama n’omwana bali mu mbeera nnungi. Twebaza Mukama Katonda. Wadde nga Eddie akyali mu kkomera e Kitalya, nsuubira amawulire gano ganamugumya mu mutima negamwongera amaanyi.” instagram views kopen