Mukama kuuma Pulezidenti Museveni – Big Eye
MUKAMA KUUMA PULEZIDENTI WAFFE: Omuyimbi Ibrahim Mayanja aka Big Eye StarBoss avuddeyo nsaba Mukama Katonda akuume Pulezidenti Museveni; “Ayi Allah tusaba okuume Pulezidenti waffe Yoweri Kaguta Museveni. Mukama Katonda twesiimye olwokutuwa Pulezidenti Museveni. Abo abatakimanyiiko sibanenya, kuba tebamanyi. Essaala yaffe katonda eri nti otuyambe tufune obuvumu obubasomesa ekituufu.” https://youtu.be/577QsG924JI
Bobi Wine tolimba bantu – Jennifer Fulfigure
BOBI WINE ABALIMBA – FULFIGURE: Nakanguubi Jennifer aka Jennifer Fulfigure avuddeyo nagamba nti yewuunya Bannayuganda olwobutasiima Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kuba twamufuna nga kirabo nti era n’okuwangula ekisanja ekirala ekya 2021-2026 twandibadde tumuwa ne ssente okumusiima. Ono era alumbye Pulezidenti wa National Unity PlatformHon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Winenti ye afuna omusaala okuva mu […]
Abavubuka tuli ba mirembe, mutuwe abantu baffe – Fik Fameica
MUTUWE BAVUBUKA BANAFFE: Omuyimbi Shafik Walukagga aka Fik Fameica; “Abakulembeze baffe bebatulagajjalira nebatulemesa so ssi bavubuka banaffe. Ekyenaku abantu bemugamba nti bafujjo, babadde kyakulabirako ky’amaanyi eri Bannayuganda bangi nga nabamu ku mmwe mubalabiddeko. Tuli muntu omu mukijjukire yadde abamu berabira nti bantu, abantu abawambibwa buli lukedde Bannayuganda n’ababawamba Bannayuganda! Yiiyi! Lwaki tetulekerawo okulinyirira eddembe ly’obuntu? […]
OBUSOSOZE MU MAWANGA OBULI MU GAVUMENTI TEBWOGEREKEKA – Bajjo
OBUSOSOZE MU MAWANGA OBULI MU GAVUMENTI TEBWOGEREKEKA; https://youtu.be/ffMdoqxZWy8 Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz wamu ne Jennifer Nakanguubi aka Jennifer Fulfigure bavuddeyo nebekkokola obusosoze mu mawanga obuli mu Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM nga bagamba tebabulabangako wantu wonna era bejjusa ekyabatwalayo.
Kitalo! Sseeka asomedde agenda okuwasa dduwa y’omufu
KITALO! SHEIKH ASOMEDDE AGENDA OKUWASA DUWA YOMUFU; Sheik Umar amanyiddwa ennyo ng’omusomi w’edduwa yakiguddeko oluvannyuma lwokuyitibwa mu lukiiko oluteekateeka omukolo gw’okwanjula kw’omuyimbi Yusuf Ssenabulya aka Kabako nebamusaba asome edduwa eggulawo omukolo namusomera dduwa gyebasomera omufu. Edduwa gyeyamusomera evuunulwa nti; “Kabako Allah amukyuusize ekifo kyagenzeemu ekyakabbuli, bwekiba kifo kya muliro Allah amukyuusizeemu kibeere eky’omujjana.”
Andrew Mwenda ayagalizza Bobi Wine amazaalibwa amalungi
Andrew M. Mwenda avuddeyo nayagaliza Bobi Wine amazaalibwa; “Muzzukulu wange Bobi Wine, nkwagaliza amazaalibwa ag’emyaka 39 amalungi. Wadde nga wanyaga ku ky’Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP n’ekyokukwatira ekibiina bendera ku bwa Pulezidenti ekyatuleetera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutuwangula, naye ssaanyiiga. Njagala empewo zabajjaja baffe zikutambulireko zikuwe n’emikisa.”
Teri kivvulu kya valentine kigenda kubaayo – Patrick Oyango
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddyo ku lunaku lwa Valentine; “Tusomye, tuwulidde era netulaba obulango obw’enjawulo nga bulanga obubaga mu bifo ebyenjawulo nga wooteeri, biici n’ebifo ebirala nti bagenda kujagulizaayo olunaku lw’abagalana nga 14-February. Ebiragiro bya Ministry of Health- Uganda bikyakola ne bya Ssenyiga omukambwe owa COVID-19 ebiri mu […]
Arshburg ne Kafeero balaajana
Arshburg Katto wamu ne Dr. T Amale bavuddeyo nebalajanira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nti akawogo keyabasuubiza tebakafunanga era embeera yaabwe si nnungi. Bano bagamba nti Pulezidenti si mwangu kuddamu kusisinkana nabwekityo basazeewo bayite ku social media bamulajanire. https://youtu.be/dZ44NrvVvi8
Pastor Mondo wonna walabibwako wakukwatibwa
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road yavuddeyo nayisa ebbaluwa bakuntumye eri Omusumba w’Abalokole Prophet Franklin Mondo Mugisha agambibwa okudduka. Ono avunaanibwa emisangi 53 okuli ogwokufuna ssente mu lukujjukujju wamu n’okwekobaana okuzza omusango. Kigambibwa nti ono yafera basumba banne wamu nebannanyini masomero obuwumbi 4.