Minisitule y’Ebyobulamu netegefu okulongoosa mu buweereza
Minsitule y’Ebyobulamu evuddeyo nesiima obubaka bwonna obwaweereddwawo okuyita mu mwoleso gw’ebyobulamu mu Ggwanga ogwakoleddwa ku mitimbagano ogwa #UgandaHealthExhibition. Egumizza Bannayuganda nga bwebagenda okukola obutaweera okulaba nti ensonga ezayogeddwako zikolebwako mu budde okutumbula obuweereza bw’ebyobulamu. Minisitule esabye Bannayuganda okusigala ngabawaayo obubaka nga bayita ku mikutu gyayo emitongole era nesuubiza okutereeza mu budde.
Kitalo! Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Mityana
Kitalo! Omuntu omu yafiiridde mu kabenje akawungeezi k’eggulo n’abalala 10 nebabuukawo nebisago ebyamaanyi Takisi mwebabadde batambulira nnamba UBH 141W nga yabadde eva Fort Portal ngeyolekera Kampala bweyayabise omupiira neggwa neyevulungula. Akabenje kagudde ku kyalo Kikumbi, ng’omukyala eyafudde tanategeerekeka kuba teyabadde nakiwandiiko kyonna yadde essimu era nga omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mityana. Kigambibwa nti […]
Njagala kumanya oba nga Ssemateeka awa Pulezidenti okutuma ba Minisita emirimu emirala – Hon. Ssemujju
Hon. Ibrahim Nganda Ssemujju; “Njagala kuzuula oba nga mu kawayiro 113 aka Ssemateeka, Pulezidenti awaabwe obuyinza okutuma Minisita emirimu emirala, olaba Pulezidenti asobola okutuma Minisita okuwerekera abaana be bwebagenda ku bubaga e Kigali oba ku bbiizi e Mombasa. Ekirala Pulezidenti alina abaana abawerako, tewewuunya enkya enkya ngatumye Hon. Ruth Nankabirwa okuwerekera muwala we ku bbiici […]
Abadde avunaanibwa ogwokutta ASP Kirumirwa ayimbuddwa
Kalungi Abubaker; omusibe yekka abadde yasigala nga avunaanibwa omusango gwokutta omusirikale wa Uganda Police Force ASP Muhammad Kirumira ne mukwano gwe Nalinnya ayimbuddwa Kkooti olunaku olwaleero ngegamba nti okunoonyereza Poliisi kweyakola kwali kwakiboggwe nga kuleetawo ebibuuzo bingi kwani yatta Abantu bano 2, era wa weyabattira nalwaki.
Omwoleso gwebyobulamu kukyagenda mu maaso ku twitter
Omwoleso gwebyobulamu ogwokumutimbagano ogwatuumiddwa #ugandahealthexhibition gukyakwajja nga guno gwategekeddwa Dr Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons . Naawe osobola okuteeka wano ekifaananyi ekiraga embeera Eddwaliro lya Gavumenti gyeririmumu kitundu kyo. Wabula wewale okukozesa ekifaananyi ekikadde. Waliwo n’obubaka obutambula obulaga nga abakulira amalwaliro bwebalagiddwa okuyonja amalwaliro, okufaayo okulaba nti abalwadde bafiibwako, abasawo okubaawo mu budde, okwewala […]
Tulinda kiva wa DPP tulabe Minisita ki gwetuzzaako okukwata – Fred Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebakyalindiridde ebiragiro okuva mu woofiisi ya Ssaavawaabu wa Gavumenti okumanya Minisita ki gwebaddako okukwata kwabo abenyigira mu mivuyo gy’amabaati g’e Karamoja agaali agabawejjere.
Amazaalibwa ga Muhoozi agakulizza Rwanda
Olunaku lw’eggulo Pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda wamu ne Mukyala we Jeannette Kagame beetebya ku kabaga akamazaalibwa aka Gen Muhoozi Kainerugaba akemyaka 49. Mu bifaananyi Baminisita Norbert Mao wamu ne Maj Gen Jim Katugugu Muhwezi abamuwerekeddeko.
Sipiika alagidde Ssaabaminisita okuvaayo ku kyaba RDC okugaana emikolo gy’ababaka ba Opposition
Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bwangu n’ekiwandiiko ku byokuyimiriza emikolo egitegekebwa Ababaka nga kino kikolebwa ba RDC. Kino kidiridde enkwata etali yabuntu wamu n’okutulugunyizibwa kw’omubaka Omukyala Munnakibiina kya National Unity Platform–NUP owa Disitulikiti y’e Buvuma Hon. Susan Mugabi nga kino kyakolebwa abebyokwerinda bweyali […]
E Soroti maama aweereddwa olubimbi okulima asasule ebisale by’eddwaliro
Margret Iloku, 63, amaze wiiki 3 kati ngakoola nnimiro ya Nurse ku Ddwaliro lya Princess Diana Health Centre IV erisangibwa mu Kibuga Soroti oluvannyuma lwokulemererwa okusasula ebisale by’eddwaliro oluvannyuma lwamukamwana we okumuloongoosaamu omwana. Iloku, omutuuze w’e Tukum mu Disitulikiti y’e Soroti, yatuuka ku Ddwaliro nga talina ssente ngasuubira nti obuweereza bwali bwabwereere mu Ddwaliro lya […]