Olumbe lukumiddwa mu maka ga Muhakanizi
Abakungubazi ab’enjawulo batandise okukunganira mu maka g’omugenzi Keith Muhakanizi, ngono abadde PS mu Office of the Prime Minister e Bugolobi. Ben Kavuya, ngono ye Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka okuziika ategeezezza nti omubiri gw’omugenzi gwabadde gusuubirwa mu Gggwanga ssaawa mwenda ez’nkya yaleeto wabula tegwaleeteddwa olwokusoomozebwa okwabadde mu ntambuza y’emigugu. Ono ategeezezza nti gwakutuusibwa mu Ggwanga olunaku lw’nkya […]
Kkooti egaanye omusomesa eyakwatibwa e Jinja ku nsonga y’ebisiyaga okweyimirirwa
Omulamuzi wa Kkooti y’e Jinja Agnes Musiime yataddewo olwa 4-May nga lwerunaku Kkooti lwegenda okutandika okuwulirako omusango oguvunaanibwa Omumyuuka w’Omukulu w’essomero lya PMM Girls’ SS Lydia Mukodha ne munne gwagambibwa okwegatta naye mu bikolwa ebyokuvuga empanka Martha Naigaga. Bano bakwatibwa nga 3-March oluvannyuma lw’abazadde okuvaayo nebalumba essomero ku bigambibwa nti bano baali bayigiriza abaana baabwe […]
Minisita Oboth Oboth naye agenze ku kitebe kya CID
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda n’abazirwanako Jacob Oboth Oboth naye atuuse ku kitebe kya Uganda Police Force ekya Criminal Investigations Directorate e Kibuli, mu Kampala okukola sitaatimenti endala ku bikwatagana n’amabaati agalina okubeera agabayinike e Karamoja agamuweebwa wabula nga yagazizzaayo nebagaana okugakwata olunaku lw’eggulo. Abasirikale ba Military abamukuuma bagaaniddwa Abasirikale ba Counter Terrorism okuyingira […]
Minisita Lugoloobi ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Asst. Senior principle Omulamuzi w’eddaala erisooka Abert Asiimwe ku kusaba kwa Minisita Amos Lugoolobi okwokweyimirirwa ategeezezza nti ono talinaayo kiraga nti yali azizza omusango gwonna nga Ssentebe wa LC1 Katwere Kabogoza bweyamusembye nti era mutuuze we alina ettaka eriweza 0.016 hectares ng’ekyapa kiri mu mannya ge nga lisangibwa Makindye Lukuli Nanganda. Oludda oluwaabi lutegeezezza nti […]
Minisita Lugoloobi atuuse mu kaguli
Omubeezi wa Minisita era Omubaka Amos Lugoloobi atuuse mu Kkooti ewozesa abalyaake n’abakenuzi esuubirwa okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa e Kololo. Ono avunaanibwa ogw’okukozesa bubi amabaati agaali agabantu abayinike ab’e Karamoja agamuweebwa nagaseresa ebiyumba byebisolo bye ku ffaamu ye.
Bannayuganda muswaza eggwanga bwemuteekayo ebifaananyi byebinnya – Minisita Baryomunsi
Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire n’okuluŋŋamya Eggwanga Dr. Chris Baryomunsi avuddeyo nategeeza nti Bannayuganda basusizza okukozesa obubi omutimbagano nti era y’ensonga lwaki Gavumenti yavaayo n’etteeka ly’omutimbagano okukwata n’okukangavvula abakozesa yintaneeti obubi. Ono yabadde ayogera ku bakoze omwoleso gw’ebinnya mu nguudo za Kampala nga agamba nti bawebuula Eggwanga era baliwa ekifaananyi ekibi. #KampalaPotholeExhibition
Abawagizi ba NUP 28 batabukidde mu Kkooti y’amaggye
Abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform 28 abatanayimbulwa olunaku lw’eggulo bavudde mu mbeera mu Kkooti y’Amaggye oluvannyuma lwa Kkooti okubaggulako omusango omulala ogw’okulya mu nsi yaabwe olukwe, bano Kkooti yalagidde baddizibweyo ku alimanda wabula nga teraze ddi lwebagenda kutandika kuwozesebwa.
UNEB yakukangavvula amasomero agalinyisa ebisale byebigezo
Akola nga Executive Director ow’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Ggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB Mike Nagosya Masikye avuddeyo nalabula amasomero obutadumuula bisale byabayizi kwewandiisa kukola bigezo bya UNEB ebyomwaka 2023. Ono ategeezezza nti essomero lyonna erinakwatibwa lwakusasuzibwa engasi ya bukadde 40.
Abawagizi ba Minisita Lugoloobi beyiye ku Kkooti e Kololo
Ab’oluganda, abemikwano wamu n’Abawagizi b’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokuteekerateekera Eggwanga Amos Lugoloobi bakedde kweyiwa ku Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo mu bungi nga balindirira omuntu waabwe okuleetebwa mu Kkooti okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa. Ono avunaanibwa omusango gwokwezza agamu ku mabaati agaali ag’abantu abayinike ab’e Karamoja nga gasangibwa yagaseresa ebiyumba by’ebisolo bye ku ffaamu […]