UNRA efunye ebyuuma ebipya
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ki Uganda National Roads Authority – UNRA kifunye emotoka empya ezigenda okukozesebwa okukola n’okuddaabiriza enguudo okwetoloola Eggwanga lyonna. Kino kidiridde embeera y’enguudo mu Ggwanga naddala mu kibuga Kampala okwongera okwonooneka.
Poliisi esabye buli gwebawambako ennangamuntu aggulewo omusango
Uganda Police Force evuddeyo nesaba Bannayuganda mwenna ng’ennangamuntu zammwe mwazikozesa ngomusingo oba nga zawambibwa okugenda ku Poliisi yonna ekuli okumpi ofune okuyambibwa. Poliisi egamba nti ekikolwa kyokuwamba, okutwala, okuwaayo oba okuggya ku muntu ennangamuntu ye ng’omusingo kimenya mateeka.
Morley Byekwaso alekulidde ku kyobutendesi bwa KCCA FC
Omutendesi Morley Byekwaso olunaku olwaleero alekulidde ku kifo ky’omutendesi wa KCCA FC ono asiibulidde Kavumba leaves Kavumba oluvannyuma lwa Soltilo Bright Stars FC okubakuba ggoolo 1 ku 0 nebawandula mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup. Abawagizi bawuliddwako nga bamuweerekereza ebigambo nti “Togenda wekka, ne banno bagende.” Byekwaso agamba nti abazannyi babadde tebakyamuwulira.
NUP ekoze enongosereza mu Ssemateeka waayo
Ekibiina kya National Unity Platform – NUP kikoze enongosereza mu Ssemateeka waakyo okuteekawo ekkomo ku bisanja omuntu byalina okukomako ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti wamu n’Abakulembeze abalala mu kibiina ku bisanja 2 eby’emyaka 5 buli kimu nga kitandika kisanja ekijja. Enongosereza eno yakukola ne ku Pulezidenti w’ekibiina, Secretary General n’abalala. Wabula kino tekikola ku muntu […]
Minisita Kitutu ne Nagoya bayimbuddwa
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Dr. Mary Gorretti Kitutu Kimono wamu ne Mulamu we Nagoya Micheal Kitutu bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti. Minisita Kitutu alagiddwa okusasula obukadde 10 obwobuliwo ate abamweyimiridde bbo obukadde 200 obutali bwabuliwo. Ye Nagoya alagiddwa okusasula obukadde 3 ezobuliwo abamweyimiridde obukadde 100 buli omu. Bano bakudda mu Kkooti nga 27-April-2023.
Abayizi e Makerere batandise okulonda, ebyokwerinda binywezeddwa
Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF bayiiriddwa ku Ssetendekero e Makerere ng’abayizi bakuba akalulu okulonda Gulid President omuggya wamu n’abakulembeze abalala nga byonna bikoleddwa ku mutimbagano.
Minisita Kitutu akomezeddwawo mu Kkooti okusaba okweyimirirwa
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Mary Goretti Kitutu wamu ne mulamu we Nagoya Michael Kitutu baleeteddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti evunaanana abali b’enguzi n’abakenuzi mu Kampala olwaleero. Minisita Kitutu asuubirwa okuleeta abamweyimirira abalala 2 abalina ebisaanyizo Kkooti byeyetaaga okusobola okumuyimbula ku kakalu kaayo.
Poliisi ekutte abakulu bamasomero e Mityana kubyekuusa ku mabaati
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Mityana ekkute Abakulu ba masomero 2 nga bano ebalanga kuseresa mabaati agateeberezebwa okuba ag’e Karamoja ebibiina mu masomero gaabwe. Abakwatiddwa ye; Christine Nabukeera omukulu w’essomero lya Kitovu Primary School ne Enid Kunihira owa Bongole Primary School nga gano gasangibwa mu Ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti ye Mityana.
Omusirikale wa Poliisi asangiddwa ngabba mita z’amazzi e Kayunga
Agambibwa okuba omusirikale wa Uganda Police Force e Kayunga ku Poliisi mu Mumuluka gw’e Ntenjeru Jjagwe Joseph akwatiddwa abatuuze ku bigambibwa nti abadde abba mita z’amazzi mu kitundu.