

Abalamazi babateereddewo olutindo okusala Katonga – Minisita Katumba Wamala
Minisita avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula Gen. Edward Katumba Wamala avuddeyo nagumya abalamazi abakozesa oluguudo lw’e Masaka okudda e Namugongo nti bagenda kubateerawo olutindo olw’akaseera lubasobozese okusala omugga Katonga. Era asabye Bannayuganda okubeera abaguminkiriza nga Gavumenti bwekola kyonna ekisoboka okudaabiriza olutindo olwaggwamu okusobozesa eby’entambula okuddamu obulungi.

Minisita Muyingo atangazizza ku masomo agaggwako
Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza; “Olweggulo lwaleero, Omubeezi wa Minisita ow’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Owek. John Chrysostom Muyingo yayanjudde ekiwandiiko ku ‘masomo agaggwaako’ n’atangaaza nti ebisaanyizo by’abayizi abamaze Ddiguli oba Ddipulooma ku pulogulaamu ezifunye okukkirizibwa nga tebinnabaawo, okusinziira ku mutindo n’ebiragiro ebitandikirwako ebya National Council for Higher Education (NCHE) bituufu. […]

Pulezidenti Museveni ali mu Greater Masaka
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wakuggulawo mu butongole Greater Masaka industrial hub e Ndegeya mu Nyendo-Mukungwe Division mu Masaka City olwaleero. Pulezidenti Museveni ali mu Masaka nga agezaako okubunyisa enjiri ya Pulogulaamu za Gavumenti ezenjawulo eziteekeddwawo okukulaakulanya abantu okulwanyisa obwavu nga Emyooga ne Parish Development Model (PDM).

Kkampuni ya China etandise eddimu lyokuzzaaw olutindo ku mugga Katonga
Kkampuni y’aba China eya China Communications Construction Company Limited eyakwasiddwa eddimu ly’okuddaabiriza omugga Katonga ogwagwamu etandise kunteekateeka eno ng’etandikidde mu kuteekamu bigoma saako okuzimba bugwe okusobozesa abatambuza ebigere n’emmotoka entonotono okugira nga batandika okukozesa olutindo luno.

Ebikwekweto byababangibwa ebipapula bitandika nkya
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Polly Namaye avuddeyo nategeeza nga okutandika olunaku olw’enkya nga 25-May-2023 abasirikale ba Poliisi y’ebidduka bwebagenda okutandika okukwata ebidduka byonna ne ba Ddereeva abatasasulanga bipapula byangasi ebyabaweebwa. Ono ategeezezza nti era tabajja kulonzalonza kuwa bipapula byangasi eri ba Ddereeva bonna abatagondere mateeka gabidduka.

Kitalo! Omusirikale wa Poliisi yekubye amasasi e Kassanda
Kitalo! Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kassanda etandise okunoonyereza ku kyaviiriddeko omusirikale waayo okutuuka okwekuba amasasi agamutiddewo. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu lya Wamala APS Racheal Kawala, enjega eno yaguddewo ku Makokoto Police Post, No. 1037 Police Constable Alex Kitiyo 47, ku ssaawa nga kumineemu ezookumakya mu ttawuni y’e Makokota PC Kityo yazuukuse […]

Byonna byemuteekateeka okunkola mbimanyi – Dr. Jimmy Spire Ssentengo
Dr. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons eyavaayo natandika emyoleso gy’okumutimbagano egyebintu ebitatambula bulungi naddala mu buweereza eri omuwi w’omusolo avuddeyo; “Enteekateeka zonna zemunkolera nzimanyi. Nkoze kyensobola okwongera ettaffaali ku Ggwanga. Nina essuubi nti Eggwanga lino lirondoola ommwooyo gwalyo. Nsuubira nti ekiseera kijja kutuuka twebuuza nti: Kino kye kisinga obulungi kye tuyinza okuba? Nkomye wano […]

Bobi Wine bwotalabikako mu Kakiiko tugenda kugoba okwemulugunya kwo – Mariam Wangadya
Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission Wangadya Mariam avuddeyo nategeeza bga bwagenda okugoba okwemulugunya kwa Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulangyi Ssentamu aka Bobi Wine. Kyagulanyi abadde alina okulabikako mu Kakiiko kano olunaku olwaleero wabula talabiseeko okuwa obujulizi ku musango gweyatwalayo ngawakanya ekya Poliisi okuyimiriza ebivvulu bye. Kyagulanyi asindise Bannamateeka […]

Abavubuka musaanye mubeere n’omulamwa – H.E Bobi Wine
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ategeezezza nti buli mujiji gusaanye okuzuula omulamwa gwagwo era bafube nnyo okulaba nti baguteeka mu nkola. Okwogera bino Kyagulanyi abadde ku kitebe ky’ekibiina e Makerere, Kavule mu lukuŋŋaana lw’Abavubuka okuva mu bitundu eby’enjawulo.