KCCA yanzikiriza okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo – Hamis Kiggundu
Omusuubuzi w’omu Kampala Hamis Kiggundu amanyiddwa ennyo nga Ham avuddeyo natangaaza ku nsonga zokuzimba ku mwala gw’e Nakivubo oluvanynuma lw’abantu ab’enjawulo okuli nabalwanirizi b’obutonde bw’Ensi okuvaayo nebekubira enduulu. Ekiwandiiko ekivudde mu Kkampuni ya Kiggundu eya Ham Enterprises kiraga nti ebizimbibwa byebimu byateekebwateekebwa mu kuddamu okuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo okusobola okutumbula endabika y’e Kibuga. Ayongerako nti […]
Gideon Tugume olina okwetondera Obuganda – Minisita Kiyimba
Obwakabaka bufulumizza ekiwandiiko okulabula Gideon Tugume olw’ebigambo bya kalebule by’azze ayogera ku KKatikkiro Charles Peter Mayigane Gavumenti ya Kabaka. Tugume era awereddwa ennaku 7 zokka okuva ekiwandiiko kino lwe kifulumye okwetonda n’okumenyawo by’azze ayogera ku mikutu gy’ebyempulizanya egy’enjawulo. Ekiwandiiko kisomeddwa Minisita Noah Kiyimba akola ng’Omwogezi w’Obwakabaka mu kiseera kino era kiteereddwako omukono Ssaabawolereza wa Buganda […]
Amaggye gaggibwe ku nnyanja – Al Hajji Nadduli
Eyaliko Minisita owaguno naguli era nga kati ye muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyobufuzi nokukunga Al Haji Abdul Nadduli ayagala abasirikale abaatekekebwa ku nnyanja (Protection Fisheries Unity) baggibweyo nga agamba nti ebikolwa byebakolerayo bittattana erinnya lya Gavumenti n’Omukulembeze w’Eggwanga. Hajji Nadduli agamba nti ebizibu ebiri ku nnyanja tebitaliza kubanga ebiri ku Kyoga byebiri ku Muttanzige, […]
Aba Our Lady of Carmel Busuubizi bajaguzza emyaka 125
Omuyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rtd. Maj Jessica Alupo avuddeyo nasiima Abakatuliki olwokulafubana ennyo okulaba nti batumbula enkola za Gavumenti ezenjawulo ezigenderera okugoba obwavu mu bantu. Alupo okwogera bino abadde Mityana aba Our Lady of Carmel Busuubizi Catholic Parish esangibwa mu Kiyinda – Mityana Diocese kwebajaguliza okuweza emyaka 125 okuva lweyatandikibwawo. Alupo yasabye Abakulu b’eddiini okuvaayo bakwataganire […]
Buganda yakuzimba ekyuuma kyayo ekisunsula emmwaanyi e Nakisunga
“Gavumenti ya Ssaabasajja esaba abantu ba Buganda okugenda mu maaso n’okulima emmwanyi era Obwakabaka bwawadde ekitongole kya Mwanyi Terimba Limited ettaka e Nakisunga ewagenda okuzimbibwa ekyuma ekisunsula emmwanyi n’ekisiika kaawa okwongera okugatta omutindo ku mmwanyi” – Oweek. Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro #EmmwanyiTerimba
5 balumiziddwa mu kabenje akagudde ku Entebe Express Way
Abantu 5 balumiziddwa byansusso, 8 nebabuukawo n’ebisago ebitonotono mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Entebe Espress Way loole ya Kkampuni ya Coca-Cola Beverages Uganda bwetomereganye ne Takisi ya kkampuni ya Fly Express kiromita 4 e Kajjansi ngodda e Busega ekireeseewo akalippagano k’ebidduka. Kigambibwa nti akabenje kavudde kukuvuga endiima wamu n’okuyisiza ku ludda olukyamu. #ffemmwemmweffe
MPOX azinzeeko Disitulikiti y’e Luweero
Abakulira eby’obulamu mu Disitulikiti y’e Luweero balabudde abantu bonna okwetanira Amalwaliro singa bafuna embeera gyebatategeera era basabiddwa okuddamu okwewa amabanga, okwewala okukwata abantu mu ngalo wamu n’okunyiikira okunaaba mu ngalo okulaba nga basobola okwewala okusaasaanya ekirwadde kya MPOX ekibaluseewo mu Disitulikiti eno. Bano okuvaayo kidiridde abakulira ebyobulamu mu Disitulikiti eno okulangirira nga bwezindiddwa ekirwadde kya […]
Kitalo! 6 bafiiridde mu kabenje e Kakira
Kitalo! Abantu 6 bafiiriddewo mbulaga n’abalala 8 nebaddusibwa mu malwaliro ng’embeera mbi ddala takisi eyakazibwako erya Drone bwetomedde loole y’ebikajjo ebadde ku mabbali goluguudo ku luguudo lwa Jinja-Iganga e Kakira. Akabenje kagudde ku ssaawa nga mwenda ezookumakya Takisi nnamba UBP 574J ebadde eva e Iganga bweyingiridde loole y’ebikajjo nnamba UAF 333B. Aberabiddeko nagaabwe bategeezezza nti […]
Poliisi eyigga Omubaka John Kamara ku byokubba obululu e Kisoro – Elly Maate
Omwogezi wa Uganda Police Force owettunduttundu lye Kigezi Elly Maate, avuddeyo nategeeza nga bwebatandise omuyiggo gw’Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM owa Bufumbira North, John Kamara Nizeyimana, kubigambibwa nti yenyigidde mu kubba obululu ku Busanani polling station mu Disitulikiti y’e Kisoro. Maate agamba nti yadde okulonda kubadde kukkakamu, mubaddemu effujjo ttonotono erikoleddwa abawagizi […]