Poliisi eyigga Omubaka John Kamara ku byokubba obululu e Kisoro – Elly Maate

Uganda Cranes ne South Africa ziyiseemu okugenda mu AFCON e Morocco

Ttiimu y’Eggwanga eyomupiira ogwebigere Uganda Cranes eyiseemu okugenda okwetaba mu kikopo kya AFCON 2025 e Morocco. Uganda Cranes ne Bafana Bafana eya South Africa zeziyiseemu mu Kibinja nga wadde tebanasamba mupiira gwankya. #ffemmwemmweffe

Owa Independet awangudde akalulu e Kisoro

Akifeza Grace Ngabirano eyesimbyeewo ku Independent yalangiriddwa ngomuwanguzi ku kifo ky’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kisoro, naddirirwa eyakwatidde ekibiina kya National Resistance Movement – NRM Rose Kabagenyi, Munnakibiina kya National Unity Platform Sultana Salim nakwata kyakusatu. #ffemmwemmweffe

Poliisi terina ttaka e Kanawataka – Minisita Mayanja

Lyabadde ssanyu nakujaganya olunaku lweggulo abatuuze okuva mu zone 5 bwebabadde bazzibwa ku ttaka lyabwe. Abatuuze mu Zone okuli; Katogo, Kiganda, Kasokoso, Kireka ne Kinawataka babadde bagobanyizibwa Uganda Police Force ngegamba nti bano besenza ku ttaka lyayo. Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka Sam Mayanja yategeezezza abatuuze nti oluvannyuma lwa State House Anti Corruption Unit […]

Olukungaana lwa NUP e Nakasongola lugaaniddwa

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force n’amaggye bwebiyiye basajja baabyo nebalemesa olukungaana olubadde lulina okubeera mu Disitulikiti y’e Nakasongola nga bagamba nti olunaku lw’eggulo tebagoberedde biragiro ebyabaweebwa. Ategeezezza nti bayiye abasirikale ku nguudo zonna ezoolekera e Nakasongola. #ffemmwemmweffe

Twakola kinene okumatiza abantu okukiriza Bobi Wine – Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Tekyali kyangu kukulembera Kibiina kipya nga ababaka ebitundu 90 ku 100 bonna bapya mu Palamenti nga bangi kubbo baali tebakikiriza nti baali batuuse mu Palamenti. Twakola okusalawo okutaali kwangu okuva mu Democratic Party netusalawo okutandika era netweyunga ku kibiina ekipya. Mu kaseera wetwaviirayo netutegeeza nti twali twagala okuwa Mw. Kyagulanyi (Bobi […]

Abakedde okwekalakaasa olwa EACOP bayooleddwa

Waliwo ekibinja ky’Abavubuka nga 15 abakwatiddwa Uganda Police Force mu Kampala bano nga bagamba nti balwanirira butonde bwa Nsi nga begattira mu “Students Against Eacop Uganda” Movement, nga babadde bekalakaasa nga bawakanya East African Crude Oil Pipeline (Eacop) mu maaso ga Palamenti. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

Owa booda booda e Nansana atomedde abayizi bamukubye mizibu

Abatuuze e Nansana Kabumbi bavudde mu mbeera nebakuba omuvuzi wa booda booda ategerekeseeko erya Hassan naddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka nga bamulanga kutomera baana babiri ababadde bava ku ssomero. Abatuuze bategeezezza nti ono abadde avugisa kimama. #ffemmwemmweffe

Zaake bamukulisizza ebikonde bya Akol

Banakibiina ki National Unity Platform mu Disitulikiti y’e Mityana n’ebitundu ebirinaanyeewo bakedde mu maka g’Omubaka MP Zaake Francis Butebi okumukulisaayo mu Ddwaliro oluvannyuma lwa Mubaka munne Anthony Akol okumukuba ebikonde ebyamutuusa ku kitanda. Bamutonodde ebirabo ebyanjawulo ku mulolo gwokwebaza Katonda ogubadde mu maka ge e Buswabulongo mu Mityana. Bya Jospeh Balikuddembe #ffemmwemmweffe

Abantu abenjawulo bakyalidde ku mubaka Malende

Abantu abenjawulo batuuseeko mu Ddwaliro e Nsambya okukyalira ku Mubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende ali mu kujanjabwa oluvannyuma lwokulumizibwa mu kavuvungano akaliiwo mu Palamenti wiiki eno bweyasikasikanyizibwa abagambibwa okubeera abebyokwerinda. #ffemmwemmweffe