Omutendesi wa URA FC Sam Timbe aziikwa leero
Kitalo! Omutendesi wa Kkiraabu ya URA Football Club Sam Timbe afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro lya Nakasero Hospital mu ICU, gyeyasindikiddwa okuva mu St Catherine Hospital ettuntu lyaleero. Enteekateeka y’okuziika abadde omutendesi wa ttiimu ya URA, Sam Timbe zifulunye. Leero wagenda kubaawo okusabira omugenzi mu maka ge e Kavumba mu disitlikiti ye Wakiso. Bagenda kumusabira […]
Ssaabasajja asiimye okulabikako eri Obuganda
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ng’ennaku z’omwezi 26 omwezi guno bwanaaba aggalawo empaka z’omupiira ez’Ebika by’Abaganda ku kisaawe kya Muteesa II Memorial stadium e Wankulukuku. Obubaka buno bwanjuddwa Minisita w’Abavubuka, emizannyo n’ebitone, Owek. Robert Sserwanga wano ku Bulange e Mmengo
Uganda eyagala kutegeka ne Kenya wamu ne Tanzania AFCON 2027
Olunaku olwaleero abakungu okuva mu Kibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga bakulemeddwamu FUFA Pulezidenti Eng. Moses Magogo, bano bakulembeddwamu omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, Minisita w’ebyemizannyo Ogwanga Ogwanga basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni mu State House Entebe okubayitiramu mu […]
Uganda Cranes yakukyaliza Algeria mu Ggwanga lya Cameroon
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekitegeeza ng’omupiira Uganda Cranes mwebadde erina okukyaaliza Algeria bwebasazeewo okugukyaliza mu Ggwanga lya Cameroon olwokuba nti ekisaawe kya Mandela National Stadium tekinaggwa kudaabirizibwa. Kinajjukirwa nti Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’emisazannyo Hon. Peter Ogwang MP yavvaayo nagumya Bannayuganda nti omupiira ttiimu […]
Everton egobye Lampard
#SimbaSportsUpdates; Kkiraabu ya Everton Football Club egobye abadde Maneja Frank Lampard. Ono Kkiraabu wemugobedde ngeri mu kifo kya 19 nga mu mipiira 7 gyesambye esobodde okufunamu akabonero 1 kokka era ngeri mwezo ezinasalwako. Steve Bruce akirizza okutwala kkiraabu mu mipiira egisigaddeyo.
Ronaldo ayanjuddwa eri abawagizi ba Al Nassr
#SimbaSportsUpdates: Cristiano Ronaldo ayanjuddwa mu butongole eri abawagizi ba kiraabu ya Al Nassr FC . Omupiira gwataddeko omukono aguwadde omuwagizi wa Ttiimu eno omuto abadde mu bawagizi ku kisaawe.
Morocco 1 – 0 Portugal
#SimbaSportsUpdates; Ttiimu y’eggwanga lya Morocco ewandudde ttiimu y’eggwanga lya Portugal mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna eziyindira e Qatar bwekikubye ggoolo 1 ku 0. Morocco ly’eggwanga lya Afirika lyokka erituuse ku mpaka ezidirira ezakamalirizo.
Morocco ewandudde Spain mu World Cup
#simbasportsupdates Eggwanga lya Morocco liwandudde Eggwanga lya Spain mu mpaka z’ekikopo ky’Ensi yonna ekiyindira e Qatar ku penati 3 ku 0. Morocco yakwambalagana nanawangula ku Portugal ne Switzerland.
Omupiira wakati ba General n’Ababaka ba Palamenti gugenda mu maaso
Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rt. Hon. Thomas Tayebwa ye mugenyi omukulu ku mupiira wakati w’Ababaka ba Palamenti nga bambalagana ne ba General okuva mu ggye lya UPDF ku Philip Omondi Stadium e Lugogo mukukuza amazaalibwa g’omutabani w’omukulembeze w’eggwanga Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.