RDC w’e Iganga agaanye akawunga k’omubaka Panadol abantu bakegabidde

Kitalo! Abantu 5 bafiiridde mu kabenje e Namataba

Kitalo! Abantu 5 bafiiridde mu kabenje emotoka 4 bwezitomereganye ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa bbiri ez’okumakya e Kayanja, Namataba mu Disitulikiti y’e Mukono Tata ebadde etisse ebikajjo bwetomereganye ne Fuso ebadde etisse emitayimbwa nga eyolekera Kampala.Mu kifo kyekimu owa Isuzu Elf atobedde Pickup bwabadde agezaako okwewoma loole […]

Muyige okwetegekera temulinda Gavumenti – Omumyuuka wa Ssaabaminisita ow’okubiri Kiveijinja

Omumyuuka wa Ssaabaminisita ow’okubiri era Minisita owaguli naguno, Ali Kirunda Kiveijinja akubirizza Bannayuganda okutwala obuvunaanyizibwa obwokwetegekera wamu n’okweriisa okusinga okulindirira Gavumenti okubawa mu budde buno obwa ‘lockdown’ COVID-19.Okwogera bino yasinzidde ku byogerwa abantu nti tebanafuna mmere ya Gavumenti olw’okuba ebijanjalo byabula. Bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire, Kiveijinja yakubirizza abantu okuyiga okwetegekera kuba Gavumenti tesobola kubeera nammere […]

Lockdowm ekoma nga 5 May 2020

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Lockdown n’ebiragiro ebirala byonna ebyateekebwawo bisigaddewo okumala enaku 21 okutuusa nga 5 May nga bwetwetegereza embeera nkubiriza Abantu okukozesa eggaali okuva awaka okugenda ku mirimu. Ku nsonga y’abantu abewola ssente mu Bbanka ngenda kwogerako nazo tulabe bwebaguminkirizaamu Abantu basooke baddemu okukola. Gavumenti tegenda kubasasulira kuba ssente tezirina. Bbanka terina kuteekawo ‘penalties’ […]

Poliisi esse ababbi babiri Mu Kampala

Ebitongole by’ebyokwerinda ettuntu lyaleero lisse ababbi babiri ababadde batigomya Mutundwe mu Rubaga Division mu Kampala. Bano bebamu ku kibinja ky’ababbi 10 ababadde bazimba ekiyumba mu lutobazi olusangibwa mu Mirembe Zone wansi wa Ppaaka y’e Nateete nga ekifo babadde bakituuma ‘Jungle’ nga bbo beyita ‘Jungle Gang’.Nga kigambibwa wano webabadde bava okutigomya Abantu.Leero babadde bava kubba, Abantu […]

Omuyimbi afudde ekirwadde kya COVID-19 e Burundi

Kitalo! Omuyimbi Munnansi wa Burundi Niyomwungere Leonard yafudde oluvannyuma lw’okukwatibwa ekirwadde kya #COVID-19. Ku lunaku olw’okutaano Minisita W’ebyobulamu Dr Thaddee Ndikumana yavaayo nategeeza nga abantu abalala babiri bwebaali bazuuliddwa n’ekirwadde kino nga Niyomwungere yali omu ku bbo.Ono yagibwa mu ddwaliro ly’e Kira natwalibwa e Bujumbura.Ono abadde tatambulangako kufuluma ggwanga mu budde buno nga kitegeeza obulwadde […]

Kabaka ng’ayogerako eri Obuganda mu Lubiri e Mmengo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde nnyo abantube abakoseddwa ekirwadde kya coronavirus mu Uganda ne mu mawnaga amalala. Bwabadde ayogerako eri Obuganda olwaleero mu Lubiri lw’e Mmengo, Kabaka agambye nti singa abantu bawuliriza obubaka obubaweebwa eb’ebyobulamu obulwadde bwa coronavirus bwewalika. “Tusaasira nnyo eb’engganda z’abantu baffe Bannayuganda abafudde obulwadde buno mu mawanga ag’ebweru. Tuteeka mu […]

Abalwadde ba COVID-19 mu Yuganda bali 52

COVID19UGUPDATES; Abantu 4 abalala bebakakasiddwa nti balina ekirwadde COVID-19. Olunaku lw’eggulo Abantu 300 bebakebereddwa ku Uganda Virus Research Institute Entebe. Kati abalwadde baweze 52 mu Yuganda. Bano bonna 4 Bannayuganda abaava e Dubai nga 22 March 2020 era nga babadde mu quarantine. #STAYSAFEUG #COVID-19 #COVOD19UG #COVID2019 #COVID2019UG

Poliisi e Serere ekutte ababba abantu

Ababbi bazinzeeko Disitulikiti y’e Serere nga befuula ab’ebyokwerinda abali ku mulimu gw’okukwasisa ebiragiro bya Pulezidenti.Okusinziira ku mubeezi wa Minisita ow’ebyobuvubi era omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Serere Hellen Adoa agamba nti ababbi ku lw’okusatu ekiro nga bambadde nga abasirikale ba UPDF n’eggye lya LDU banyaguludde abantu mu maka gaabwe.Wabula ab’ebyokwerinda basitukiddemu nabakwata abantu 3 abasangiddwa […]

Sinalagirako kugaana bantu kutambula – H.E Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abantu bange bantegeezezza nti waliwo tweet enjingirire etambuzibwa nti ndagidde okugaana abantu bonna okutambula mu Yuganda yonna. Kino sikituufu, nga bwenategeezezza emabegako, eggwanga njakulitegeeza ku kyonna ekipya ekinaaba kituukiddwa okwogera okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 nga mpita ku mikutu gy’empuliziganya gyenkozesa enaku zino.”