Abafere baguddewo omukutu gwa facebook ogwa Minisita Kasaija
Abafere baguddewo omukutu ogwa Facebook mu mannya ga Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija nebatandika okugamba abantu okusaba ensimbi okuva mu gavumenti obukadde 500. Bano bawadde ebiragiro ebirina okugobererwa okujjuza empapula okusobola okufuna ensimbi zino. Minisita Kasaija yasabye abantu okwewala okujjuza ebibakwatako byonna awantu wonna wadde okusasula ssente yonna wabula baddukire ku poliisi bafune obuyambi.
Abadde abba abantu nti abatwala China mukwate
Poliisi ekutte omusajja abadde agamba nti atwala abantu e China mu kkampuni emu nababbako obukadde bw’ensimbi. Ono okukwatibbwa kidiridde abantu 13 okumuwawabira nti yabajjako ssente okubatwala ebweru ate natabatwala. Nasser Sseremba kigambibwa nti yakungaanya obukadde obuwerera ddala 58 nga abalimba nti agenda kubafunira emirimu egiriko ssente mu China. Kigambibwa nti ono oluvannyuma lw’okufuna ssente zino […]
Ekibaluwa kiro kitwalo omunaku – Twagala emitwe gy’abantu 50
Poliisi e Kamuli eri mu kunoonyereza ku bibaluwa bikiro kitwala omunaku ebyasuuliddwa ku Kyalo Kyamuluya mu waadi ye Buwanume mu Division ye Kamuli North nga bitiisatiisa okutta abantu 50 era nga betaaga emitwe gy’abantu 50. Abantu abatanategeerekeka basudde ekibaluwa kino ekitaliiko nnaku za mwezi mu maka ga Mzee Lulireki Stephen 70, nga balaliika nga bwebagenda […]
Muziimule ebiragiro byonna ebiweebwa ba Minisita ne ba RDC – Ssaabalamuzi
Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe agambye abantu basaanye okwewala okugoberera ebiragiro byonna ebiweebwa ba Minisita wamu ne ba RDC kunsonga ezikwatagana neby’ekkooti kuba bebasigala mu buzibu kuba ebiba bisaliddwawo Kkooti biba birina okuteekebwa mu nkola. Yagambye nti ebiragiro ebiweebwa ba Minisita ne ba RDC tebiba mu mateeka, bibeera byabwe nga bantu ebitalina kyebisobola kukyuusa mu […]
Obubenje obwaggwa e Kiryandongo mu mwezi ggwa May mwafiiramu abantu 33
Poliisi egamba nti obubenje bwonna obugudde mu district y’e Kiryandongo ku luguudo lw’e Kampala – Gulu mu mwezi gumu butugumbudde abantu 33. Julius Hakiza nga ye Mwogezi wa Poliisi mu kitundu ky’e Albertine agamba nti abantu okufa ky’ava ku bubenje 6 obwali obw’amaanyi obwaggwawo, nga busatu ku bbwo bwali bw’amaanyi nnyo mu kitundu ky’oluguudo luno […]
Poliisi eri bulindaala nga ekikopo kya World Cup kitandika
Oluvannyuma lwa bbomu ezatta abantu abali balaba omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna mu 2010 mu Kampala mu bifo ebyenjawulo, Poliisi egamba nti ku mulundi guno eri bulindaala wamu n’ebitongole ebirala eby’ebyokwerinda. Ebitongole eby’enjawulo muby’okwerinda bitaddewo enteekateeka ez’enjawulo ezinayamba Bannayuganda okunyumirwa obulungi ekikopo ky’omupiira eky’ensi yonna. Nga ayogerako ne bannamawulire e Naguru ku kitebe kya Poliisi, Omuduumizi […]
Eyali Omudduumizi wa Poliisi Gen. Edward Kale Kayihura agamba nti nakwatibwa nga bwebibadde byogerwa
Kayihura agamba nti abadde yewala amawulire okumala ebbanga eddene naye basigadde bamuwandiikako ebitali bituufu. Ayongeddeko nit ye yebeerera ku Farm y’e Kasagama e Lyantonde nga yerimira. Kayihura agamba nti nebwekyandibadde kituufu nti bamukutte, si yeyandibadde asoose okukwatibwa era nti amaggye gandivuddeyo negakyogerako. Brig. Richard Karemire nga yemwogezi wa maggye agamba nti naye abadde alaba birabe […]
Pulezidenti Museveni akukulumidde abasse Abiriga; mujja kusasula namusaayi
Pulezidenti Museveni akukulumidde abatta abantu abatalina musango era nabategeeza nti bayiwa omusaayi naye nabo bajja kusasula namusaayi. Bino abyogedde bwabadde ayogerako eri abantu olunaku lwaleero mu kukuza olunaku lw’abazira e Birembo mu Disitulikiti ye Kakumiro. Pulezidenti era asabya Bannayuganda bonna okuteeka obuuma obuketta mu biduka byabwe okusobola okuyamba ebitongole ebikuuma ddembe singa wabaawo obuzibu okusobola […]
Abantu 10 bebafiiridde mu kabenje k’ennyonyi mu nsozi z’e Aberdare mu Kenya
Epipapajjo by’ennyonyi eya FlySax 5Y-CAC eyabula gyebuvuddeko kulw’okubiri bisangiddwa mu kibira kye Aberdare mu nsozi z’e Aberdare. Abantu 10 ababadde ku nnyonyi eno bonna bafudde. Gino gigiddwayo negitwalibwa mu ggwanike ly’e ddwaliro lya Njambini gigibweyo olwaleero gitwalibwe ku ‘Lee Funeral Home’ okusobozesa abantu okulondako ab’enganda zaabwe. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennyonyi mu ggwanga lya Kenya ekya […]