Ababadde bawamba omwana bakubiddwa mizibu e Kyebando Katale Zone
Buyinja Kalisito omutuuze w’e Kabowa ne Mariam Nansubuga omutuuze w’e Kibe Kalerwe bebasimatuse okuttibwa abatuuze ababadde bataamye obugo bwebabadde bagezaako okuwamba omwana omuwala omuyizi ku ssomero lya Jinja Kalooli Primary School nga bamulimbye nti bamutwala ku musawo e Mattuga amuyambe okumuwa amagezi ag’okusoma. Ono bwagaanye byebabadde bamugamba nebagezaako okufuna entambula eyamangu bamutwale bwatyo natandika okukuba […]
Gavumenti etaddewo amateeka amakakali okukendeeza obubenje
Gavumenti evuddeyo neteekawo amateeka amapya kubidduka oluvannyuma lw’akabenje akaggwawo e Kiryandongo omwafiira abantu 22. Ku bbalaza Kkabineti yayisiza ebiragiro ebipya ku bidduka ebyaleeteddwa Minisitule y’ebyenguudo. Okusinziira ku biragiro ebipya buli motoka ezisaabaza abantu n’ebintu okuteeka speed limiters eza Digital ate ezo ez’emigugu wamu n’okuzikebera oba nga zisaanye kunguudo. Wagenda kuteekebwawo driving permit empya eri abo […]
18 bafudde oluvannyuma lw’okunywa waragi
Abantu 18 bebakafa mu kilombe kye Kosiroi mu Gombolola ye Tapac mu disitrict ye Moroto oluvannyuma lw’okunywa waragi. Kigambibwa nti waragi ono aleetebwa ba dereeva bebimotoka ebisooba marble nga bimutwala mu kkolera lya siminti erye Tororo. Mr Peter Lobot, nga ye LC3 chairperson wa Tapac agamba nti okuva January abantu 18 bebakafa oluvannyuma lw’okunywa waragi […]
Abalwadde ba Ebola badukidde mu basawo bakinnansi na basumba
Abasawo abalwanyisa ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo bawuninkiridde bwe basanze akaseera akazibu okunnyonyola abantu nti balina kujja mu malwaliiro okujanjabwa bbo nga bagamba nti mizimu gyegibalumbye era nga balina kugenda mu masabo na mubasumba babasabire. Abantu bagaanye okufuna obujanjabi nebasalawo okusaba. Ku lw’okusatu lwa week ewedde Omusumba w’abalokole yafudde nga […]
Omugagga asenze emmere y’abatuuze ku byalo 2 – Buyikwe
Abatuuze ku byalo Nkakwa ne Masugga mu Ggombolola y’e Ssi-Bukunja mu Disitulikiti y’e Buyikwe basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’omugagga Lwome Richard eyeeyita nnannyini ttaka kwe batudde okumala ebbanga okusenda emmere yaabwe yonna n’abagobaganya. Ettaka lino liwerako yiika bitaano (500) era nga abatuuze babadde balimirako ebirime eby’okutunda omuli Cocoa, Bbogooya, emiti egy’ensibo ng’emisizi wamu […]
Omukago gw’amawanga ga Bulaaya guwadde Yuganda obukadde 151 eza Bulaaya
Omukago gw’amawanga ga Bulaaya guliko obuyambi bwa Ssente za Bulaaya obukadde obukunukkiriza mu 151, bweguwaddeyo eri Gavumenti ya kuno okulabirira n’okukulaakulanya abantu b’omumambuka ga Yuganda. Ensimbi zino zaakukwasizaako mu kulwanyisa obwavu mu bantu abawangaalira mu bitundu bino, okubafunira amazzi amayonjo n’okubasimira ebidiba by’amazzi ne nayikondo kwebasobola okufunira amazzi ag’okufukirira ebirime n’okunywesa ebisolo byabwe, ebyobulamu, ebyendiisa […]
Mukozese amasannyalaze okuleeta obugagga mu maka gammwe – MP Lugoloobi
Omubaka mu Palamenti owa Ntenjeru ey’amambuka Amos Lugoloobi asabye abantu b’ekitundu ky’akiikirira okweyambisa obulungi amasannyalaze Gavumenti geesaasaanya mu misoso gy’ebyalo kiyambe okuleeta obugagga mu maka gaabwe nga bakozesa amasannyalaze gano ebintu ebiyinza okuvaamu ensimbi. Omubaka Amos Lugoloobi asinzidde ku mikolo gy’okusonda ensimbi ez’okuzimba amasinzizo e Luteete mu kitundu kino ky’akiikirira n’awaayo akakadde k’ensimbi mu Klezia […]
Ebibaluwa ebiraalika okuteemateema abantu byennyamizza Ssentebe
Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mukono Ssenyonga Andrew Luzindana yennyamidde olw’abantu abatandise emize gy’okuwandiika ebibaluwa ebitiisatiisa nga bwe bagenda okutemaatema abantu be batadde ku lukangaga naddala mu kabuga k’e Mbalala Mukono. Luzindana asabye abantu okwerinda abatemu abayinza obayingirira era n’alabula abazadde nga bwebagwanide okukuuma abaana baabwe obulungi eri abantu abaagala okubawamba okufuna ensimbi.
Sipiika mwennyamivu ku ngeri abantu gyebattibwamu
Sipiika wa Disitulikiti y’e Mukono Emmanuel Mbonye mwennyamivu ku ngeri abantu gye battibwamu nga bawambibwa. Mbonye agamba nti ebintu bino eby’okuwamba abantu babijja mu mawanga ge Bulaaya nga bayita mu kulaba Ffirimu z’ayogeddeko nti zikoze kinene okwonoona ensi Yuganda. Ono okwogera bino asinzidde ku muwala ow’emyaka 23 Nakabuto Felsita eyawambibwa ku Lwokutaano abasajja abataategeerekeka abaali batambulira […]