Abantu 200 Easter bagiriiridde mu buduukulu

Abasawo b’ebisolo balabudde ku balunzi abawa ebisolo ARVs

Abasawo b'ebisolo e Mubende balaze okutya olw'abalunzi abeefunyiridde okuwa ebisolo empeke eziweweeza ku kawuka ka mukenenya (ARVs) kyebagambye nti kya bulabe eri obulamu bw'abantu.  Bano nga bakulembeddwamu Dr. Kawule Leonard Kiryonsa okuva mu Vetline Services ategeezezza nti okunoonyereza kwe bakoze kulaze nga omuze gw'okuwa ensolo eddagala lino erya ARVs bwe gukyase ennyo e Mubende era nga […]

Namuttikwa w’enkuba asaanyizzaawo amaka 49 – Kasese

Abatuuze mu ggombolola y'e Nyakatonzi ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Kasese basigadde neemagaza ng'ogwebusami era nga bakulukusa ga jjulujulu oluvannyuma lwa Namuttikkwa w'enkuba eyatandika olwokutaako lwa ssabbiiti ewedde n'akoma akawungeezi ka jjo okuleka ng'amayumba 49 gali ku ttaka. Omwogezi w'ekitongole kya Uganda Red Cross, Irene Nakasiita agamba nti basindise ekibinja ky'abantu baabwe okuzuula obuzibu bw'abantu bano mwebatubidde […]

Tusaba Bannayuganda bonna baziimuule era bazire omukolo ogw’e Kiboga ogw’okujaguza olw’okugikwatako – Ssekikubo

Ababaka mu Palamenti aba NRM abaakazibwako erya ba kyewaggula bagugumbudde era nebanenya bannaabwe bannakibiina kya Muuvumenta abaasalawo okuwagira eky'okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti  mu Ssemateeka wa Yuganda nga babanenya olw'okuteekateeka akabaga akabayozaayoza olw'okutuuka ku kiruubirirwa kino.  Akabaga kano kagenda kubeerawo nga ennaku z'omwezi 25 omwezi guno ogwa Mukutulansanja e Kiboga ku ssaza Ground era […]

Ekirwadde ky’okusannyalala kikwata abaami okusinga abakyala – Kunoonyereza

Ekirwadde eky'okusannyalala (Stroke)  kyongedde nnyo okukwata abaami okusinga ku bakyala era nga kigambibwa nti abaami okweraliikirira kwekusinze okuleeta bino wonna mu ggwanga.  Abakugu mu kunoonyereza mu myaka mukaaga egiyise nga bali ku bantu 32 kwebaazuulira nti ekirwadde kino kikutte nnyo abantu abakuze okusukka mu myaka 50 egy'obukulu era nga kino UK kizuuliddwa mu bitundu eby'enjawulo […]

Kirumira atabukidde mu kkooti ya Police, addiziddwayo e Nalufenya

Eyali omuduumizi wa Police mu Disitulikiti y'e Buyende Muhammad Kirumira azziddwa mu kkomera e Nalufenya oluvannyuma lwa kkooti ya Police okussaawo obukwakkulizo buna obuzibu bw'alina okusooka okutuukiriza alyoke akkirizibwe okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti.  Kirumira avunaanibwa emisango omuli; Okuggya ensimbi ku bantu, okugulirira abantu, okufuna ekyojamumiro, okukozesa eryanyi erisukkiridde ng'agombamu obwala abantu, okutulugunya abantu.  Kkooti […]

Omupoliisi Nickson kkooti y’amagye emummye okweyimirirwa

Kkooti enkulu ey'ekinnamagye egaanye okuyimbula ku kakalu kaayo Omuserikale wa Police Nickson Agasirwe Karuhanga nga ono ye yali aduumira ekibinja kya Police ekyali kikola ku bikwekweto eby'enjawulo . Nickson avunaanibwa emisango gy'okuba nti aliko Bannansi b'eggwanga erya Rwanda beyawamba era n'abawaliriza okudda okwa boobwe . Kkooti eno nga etulako abantu musanvu abakulirwa Lt. General Andrew […]

Abantu abawerako bakutuse amagulu mu kabenje – Ziroobwe

Abantu abawerako balumiziddwa mu kabenje akagudde mu maduuka g'e Bulami ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ziroobwe . Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti Mmotoka kika kya ttipa nnamba UAK 030R ebadde eva e Kampala okudda e Ziroobwe etomereganye ne Takisi nnamba UAU 691A nezitomeregana bwenyi ku bwenyi.  Bagamba nti abantu abamu batemyemu bateme mu Mmotoka […]

Obutabanguko mu maka bukudde ejjembe e Mubende

Ebikolwa eby'obutabaguko mu maka byeyongedde obungi  e Mubende nga kati byeraliikirizza abavunaanyizibwa ku mbeera z'abantu byabagamba nti bivudde ku bwavu obususse ennyo mu bantu.  Maria Ndagire akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z'abantu mu Disitulikiti y'e Mubende agamba nti mu bbanga ery'emyezi omukaaga bafunye emisango  lukaaga ataano mu etaano (655) egy'obutabanguko mu maka mu Disitulikiti y'e […]

Abantu 10 bebattiddwa e Mityana mu mwezi oguyise

Abantu abawerera ddala kkumi bebattiddwa mu bbanga lya mwezi gumu mu Disitulikiti y'e Mityana nga ku bano omukaaga abakazi, abasajja abasstu n'omwana wa mwaka gumu n'ekitundu. Abantu abano abattiddwa babadde bakubwa bukubwa ngeri ya byuma era nga basangiddwa mu magombolola omuli ;  Myanzi, Bikers , Maanyi, Kikandwa ne ttawuni kkanso y'e Ssekanyonyi. Omwogezi wa Police mu […]