Abavunaanibwa ogw’okugezaako okumaamulako Gavumenti bakyatoba

Sobi Police emuyimbudde, kati alya butaala

Police awatali kakwakkulizo konna etadde omusajja Paddy Sserunjogi ayakazibwako erya Sobi akulira ba Kifeesi wamu ne banne babiri,  Shafiq Kigozi ne Tim Twaha era nga kino kyakoleddwa akawungeezi ka jjo oluvannyuma nga baggyiddwa ku Police y'e Nsangi ne batwalibwa e Nalufenya mu Jinja .  Police ku ntandikwa ya wiiki eno yagombyemu obwala abasajja bano nga ebajja ku […]

Eggwanga liri mu katyabaga ka bbula lya musaayi

Eggwanga liri mu katyabaga ak'ebbula ly'omusaayi wonna mu ggwanga era abavunaanyizibwa ku by'obulamu basattira bukunku.  Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by'obulamu,  Sarah Opendi agamba nti ebbula ly'omusaayi lyeyongedde nnyo naddala mu ssabbiiti zino ebbiri eziyise ate nga kiseera kya luwummula nti abantu abakulu tebettanira kugaba musaayi , so abaana b'amasomero beebasinga okugugaba.  Minisita agamba nti […]

Obwakabaka bwa Buganda butongozza Endaga Bwami e Buweekula

Obwakabaka bwa Buganda butongozza ‘Endaga Bwami’ mu ssaza ly'e Buwekula okusobola okumalawo abantu abeeyita kye batali ne bavumaganya erinnya ly' Obwakabaka.  Bw'abadde atongoza Endaga Bwami (identity cards) Minisiita omubeezi owa Gavumenti  ez'ebitundu Joseph Kawuki ategeezezza nti , kino bakikoze okusobola okwawula abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku bantu abalala n' okubasobozesa okweyanjula obulungi nga balina ebiwandiiko ebiboogerako. Owek . […]

Dr. Nkoyooyo agalamiziddwa mu nnyumba ye ey’olubeerera e Namugongo

Omubiri gwa Ssaabalabirizi eyawummula Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo ( 1938 – 2017) gugalamiziddwa mu nnyumba yaagwo ey'olubeerera akaawungeezi aka leero mu kifo ky'ebyafaayo ku kiggwa ky'abajulizi Abakulisitaayo e Nakiyanja Namugongo.  Dr. Nkoyooyo aziikiddwa mu bitiibwa bya Gavumenti era nga yeekoze ku maziika gwe olw'ebirungi enjolo byeyakolera eggwanga, aziikiddwa abantu abakukunavu bangi mu gganga okuva mu Gavumnenti […]

Abantu abawerako battiddwa mu nnaku enkulu – Police

  Police egamba nti mu biseera by'ennaku enkulu abantu abawerako batemuddwa mu bitundu by'eggwanga ebiwerako.  Bw'abadde ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya Police mu Kampala n'emiriraano ekimanyiddwa nga CPS,  Omwogezi wa Police Emilian Kayima agambye nti abantu abamu beebeggye mu budde Kyokka abalala baatirimbuddwa butirimbulwa era Police yabakanye dda n'ogwokunoonyereza.      

Ab’ebijambiya bazzeemu okutemaatema abantu – Bukomansimbi

Ab'ebijambiya abatemaatema abantu bazzeemu okutema abantu mu kiro ekikeesezza olwaleero mu Disitulikiti y'e Bukomansimbi era abantu bana kati z'embuyaga ezikaza engoye.  Ate n'abatuuze ababadde batasalikako musale bagudde ku muvubuka gwebateeberezza okuba ow'ebijambiya nebamutemaatema olwo nebawera abantu bataano.  Omwogezi wa Police mu kitundu ekyo,  Lameck Kigozi akakasizza bino era n'ategeeza nti mubatemeddwa mubaddemu ne Ssentebe wa […]

Abantu 4 beebattiddwa ku Ssekukkulu e Mubende ne Kyankwanzi – Police

Police mu ttundutundu lya Wamala  egamba nti mu biseera bya Ssekukkulu abantu 4 beebattiddwa mu butemu obw’enjawulo mu Disitulikiti y’ e Mubende neginnayo ey’ e Kyankwanzi. Omwogezi wa Police mu kituundu kino,  Nobert Ochom akakasizza nga abantu bano bwebattidwa mu butemu obw’enjawolo nga abasatu( 3) ku bafudde entabwe yavudde ku butakkaanya wakati mu bafumbo songa n’obutemu obulala bwakoleddwa mu […]

Pulezidenti w’ekibiina ekitaba abasawo alumbiddwa

Pulezidenti w'ekibiina ekitaba abasawo ba Ddokita mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA) Dr. Obuku addusiddwa mu ddwaliro lya Case Clinic mu Kampala oluvannyuma lw'okulubibwa abantu abataategeerekese mu kiro ekiyise nebamukuba bubi nnyo. Police egamba nti Dr. Obuku gyebuvuddeko yeeyakulemberamu abasawo mu malwaliro ga Gavumenti wonna mu ggwanga okwediima olw'emisaala emitono. Ayogerera Police mu Kampala n'emiriraano, […]

Abatuuze basaanyizzaawo ebintu by’ateeberezebwa okutta abantu 4 – Mubende

Ebintu by' ateeberezebwa okutemula abantu bana e Mubende bya bukadde na bukade bwa nsimbi bisaanyiziddwawo abantu abatannategeerekeka.  Ebintu ebisaanyiziddwawo bya Ssebadduka Juma ow'emyaka 40 nga mutuuze ku kyalo Kyambisi mu Ggombolola y'e Kibalinga e Mubende era nga ono yakwatibwa Police oluvannyuma lw'okuteeberezebwa okubeera nga alina ky'amanyi ku ttemu eryakolebwa ku bantu abana nga 16, Ntenvu […]