20 basimattuse okufiira mu kabenje, bapookya – Budaka

Bbaasi ya Gaaga egudde, 5 bapookya

  Akabenje, Bbaasi ya  kkampuni ya Gaga egudde ne yeefuula enkya ya leero ku luguudo lwa Nebbi – Pakwach e Agwok era abantu bataano nebaddusibwa mu ddwaliro ly'e Angal nga taasulewo taasiibewo y'ali ku mimwa gy'abantu .  Ekiviiriddeko akabenje kano tekinnategeerekeka. Wabula kinajjukirwa nti mu kifo kyekimu Loole eyabadde yeetisse binyeebwa eggulo weyakwatidde nabbambula w'omuliro era […]

Dr. Besigye asiimye abasawo mu ddwaliro ly’e Nyakibale

Col. Dr. Kizza Besigye olwaleero akyaliddeko eddwaliro lya Nyakibale okwebaza abasawo wamu n'abatwala eddwaliro lino olw'okutaasa obulamu bw'abantu omukaaga abaakubwa amasasi katono bagende ezzirakumwa. Kinajjukirwa nti nga ennaku z'omwezi 18 ogw'ekkumi omwaka guno Abapoliisi baakuba amasasi omusajja Edson Nasasira Kakuru n'afiirawo ate abalala mukaaga nebaddusibwa mu ddwaliro ly'e Nyakibale nga bapookya na biwundu Abantu bano […]

Omubaka Kamugisha (NRM) awakanya eky’okugikwatako

Omubaka mu Palamenti akiikirira essaza ly'e Kajara , Micheal Kamusisha era nga wa kibiina kya NRM agamba nti ssiwaakuwagira kuggya kkomo ku myaka gya Pulezidenti kubanga abalonzi tebakkiriziganya nakyo. Bw'abadde ayogerako ne bannamawulire ku Palamenti enkya ya leero, Kamugisha agambye nti eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti abantu abasinga obungi kibawunyira ziizi era bakisimbidde ekkuuli […]

Semeo akakasa nti ab’e Mubende baamusaba eky’okuggya ekkomo ku myaka

Omubaka mu Palamenti owa Kasanda ey'amaserengeta  Semeo Nsubuga Muwanga asekeredde abo ababadde bagamba nti abantu mu kitundu kye tebawagira kya kukwata ku semateeka w'eggwanga okukyusa ennyingo ya 102b. Semewo Nsubuga bino abyogeredde ku kyalo Nkokoma mu Ggombolola ye Kiganda e Mubende era n'asekerera abo bonna ababadde bagamba nti tasobola kulinnya bigere mu kitundu ky'akiikirira n'agamba nti bano boogera byabwe. […]

200 bagombeddwamu obwala Police mu kivvulu kya KCCA

Police mu Kampala agamba nti yagombyemu obwala abantu abasoba mu bikumi bibiri (200) abateeberezebwa okuba abazzi b’emisango mu kivvulu kya Kampala Capital City (Carnival). Mu kafubo k’abaddemu ne Radio Simba, ayogerera Police mu Kampala n’emiriraano Emillian Kayima atutegeezezza nti abantu bano baakwatiddwa ku misango egy’enjawulo mu “Carnival” eyatandika ku lunaku lwokutaano n’ekomekkerezebwa ku Sande ya […]

Kiwanda ne Nabakooba abalonzi babatutte ntyagi

Abalonzi mu Mityana ey’amambuka balidde obuwuka nebatwala entyagi Omubaka waabwe ow’ekitundu ekyo ate nga ye mubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’obulambuzi mu ggwanga, Godfrey Kiwanda Ssuubi wamu n’omubaka omukyala mu Palamenti owa Disitulikiti y’e Mityana, Judith Nabakooba nga babalanga kuwagira kiteeso eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Kiwanda y’abadde alina okuba omugenyi omukulu ku mukolo […]

Gavumenti edduukiridde ab’e Rubanda n’obuwunga

Gavumenti eddukiridde abantu boomu Disitulikiti y’e Rubanda abaafiirwa abantu baabwe wamu n’ebintu olwa nnamuttikwa w’enkuba eyafudemba gyebuvuddeko n’avaako amataba n’ okuyigulukuka kw’ettaka okwaleka abantu 17 nga baluguzeemu obulamu, ebawadde ensawo z’akawunga 250. Mu nsasagge eno ,abantu 14 baafuna ebisago eby’amaanyi ate munaana tebakubikako kimunye songa amayumba agassoba mu makumi ataano (50) gasigala ku ddibwa nga […]

Amasasi n’omukka ogubalagala binyoose e Kamuli lwa Togikwatako

Police mu Disitulikiti y’e Kamuli  enkya ya leero ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga wamu n’omukka ogubalagala  okugumbulula abantu ababadde beesomye nga batandise okutambula okwolekera amaka g’omubaka omukyala mu Palamenti owa Munisipaali y’e Kamuli,  Rehema Watongola. Babadde baagala kumutegeeza nti bo nga abalonzi mu kitundu kino tebaagala awagire kyakutaganjula Ssemateeka okuggyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga […]

Emmundu endala ebbiddwa ku mupoliisi – Busia

Waliwo emmundu endala  ebbiddwa ku Ofiisa wa Police abantu abatannategeerekeka mu kiro ekikeesezza olwaleero mu Disitulikiti y’e Busia era nebamuleka ng’apookya.  Omwogezi wa Police mu bitundu by’e Bukedi, Kamulya Soali agamba nti omuserikale ono omubbako emmundu eno bamusanze ku mirimu ekiro ku bumu ku bufo obukebererwamu abantu oba tebalina bissi. Kino kijjidde mu kiseera nga […]