Ab’enzikiriza ya KANYIRIRI bagombeddwamu obwala Police – Kibuku
Police mu Disitulikiti y’e Kibuku mu buvanjuba bwa Yuganda egombyemu obwala abantu babiri abagoberezi b’enzikiriza esimbira ekkuuli enteekateeka ya Gavumenti ey’okugemesa abaana awamu n’okuwandiika abantu okufuna endagamuntu . Soali Kamulya nga ye Mwogezi wa Police mu kitundu kino agamba nti enzikiriza eno eyakazibwako erya Kanyiriri esimbira ekkuuli enteekateeka za Gavumenti ez’enjawulo. Abakwatiddwa be, Makombeshe Elidadi […]
Omulamuzi Owiny Dollo akakasiddwa ku bumyuka bwa Ssaabalamuzi
Akakiiko ka Palamenti akakakasa abantu abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga mu bifo kakakasizza omulamuzi Alfonse Owiny Dollo nga omumyuka wa Ssaabalamuzi omuggya. Owiny Dollo addidde omulamuzi Steven Kavuma mu bigere kubanga mu mwezi guno mwennyini mwagenda okunnyukira emirimu gya Gavumenti oluvannyuma lw’okuweza emyaka 75 egiwummula . Akakiiko kano nga kakulirwa omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya […]
3 bafiiriddewo mbulaga, 10 bapookya – Kabenje e Kamuli
Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga n’abalala kkumi nebaddusibwa mu ddwaliro nga bapookya na biwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje ka takisi mu Disitulikiti y’e Kamuli. Omusasi waffe Solomon Baleke obuuyi obwo atutegeezezza nti akabenje kano kagudde kumpi n’ekibuga ky’e Kamuli nga kavudde ku kimotoka ky’ebikajjo ekiyingiridde takisi ebaddemu abantu bano. Ye Meeya wa Munisipaali y’e Kamuli, David […]
RDC agombeddwamu obwala lwa mivuyo gya ttaka – Katakwi
RDC wa Disitulikiti y’e Katakwi Ambrose Mwesigye akwatiddwa ku biragiro by’omulamuzi Catherine Bamugemereire nga entabwe evudde ku ttaka ly’ekyalo Lwebitonga mu Disitulikiti y’e Hoima okwasengulwa abantu omugagga Tibagwa. Bino byebiddiridde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire okutandika emirimu olunaku olwa jjo mu Disitulikiti y’e Hoima nga abantu bavudde e Bule n’ebweya okwemulugunya ku bikwatagana n’ettaka era nga […]
Abakiikirira abaliko obulemu mu Palamenti balayiziddwa
Abantu babiri abaalondebwa okukiikirira abantu abaliko obulemu mu lukiiko olukulu olw’eggwanga omuli William Nokrach ng’ono akiikirira abaliko obulemu mu bukiika kkono obwa Yuganda ne Hood Katuramu akiikirira abava mu kitundu eky’obuvanjuba bwa Yuganda akawungeezi ka leero lwebalayiziddwa ku bubaka obwa Palamenti. Kinajjukirwa nti mu mwezi oguyise, kkooti yasazaamu okulondebwa kw’abantu bano ababiri ku bubaka obwa […]
Abanyaga waya z’amasannyalaze e Lugazi bali mu kaduukulu
Police y’e Lugazi eriko abantu bana nga mulimu n’omukazi begombyemu obwala abagambibwa okunyaga waya n’ebyuma by’amasannyalaze ebigatwala ku muliraano e Kenya. Omu ku beerabiddeko n’agaabwe, Mpiima Livingstone e Lugazi agamba nti abantu bano bakwatiddwa lubona ne waya zino era kati wetwogerera batemeza mabega wa mitayimbwa.
Sheikh Kamoga akaligiddwa obulamu bwonna mu nkomyo
Kkooti enkulu mu Kampala ewozesa emisango gy’ensi yonna ekalize eyali akulira Abatabbuliiki, Amir Ummar Sheikh Yunus Kamoga n’abalala basatu okumala emyaka gyabwe egisigadde egy’obulamu mu nkomyo oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango gy’obutujju. Abalamuzi; Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggundu bavumiridde ekya ba sseeka bano; Sheikh Yunus Kamoga,Sheikh Multabh Bukenya, Sheikh Siraje Kawooya okudda mu bikolwa eby’obutujju […]
Abasima zzaabu e Mubende UPDF ebatutte ntyagi
Eggye lya UPDF olwaleero litutte entyagi abantu abasoba mu mitwalo mukaaga (60.000) ababadde basima zzaabu e Mubende . Abantu bano abagobeddwa babadde bakolera mu birombe omuli Lujiiji A, Lujiiji B, Lujiiji C, Kampala, Kapya ebisangibwa mu ggombolola y’e Kitumbi mu Disitulikit y’e Mubende. Enteekateeka eno ey’okugoba abantu mu birombe omusimwa zzaabu e Mubende ekulembeddwamu Col. […]
Abawagizi ba Bulemeezi 5 bafiiridde my kabenje e Butambala, 9 bapookya
Abantu bataano bafiiriddewo mbulaga ate abalala mwenda nebaddusibwa mu ddwaliro nga taasulewo taasiibewo y’ali ku mimwa gy’abantu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje ddekabusa mu mutala Ssenene ku luguudo oluva e Mpigi okudda e Gombe – Kibibi. Abantu bano babadde bawagizi ba ttiimu y’essaza lya Bulemeezi nga babadde bagenda kuwagira ttiimu yaabwe nga ebiisana ne Gomba mu […]