9 bagombeddwamu obwala Police ku byekuusa ku butemu

Omubaka Kakooza agugumbudde RDC w’e Mubende, bya ttaka

Omubaka mu Palamenti ow’essaza ly’e Buweekula, Rtd. Maj. Kakooza agugumbudde omubaka wa Pulezidenti e Mubende, Florence Beyunga olw’okukozesa yafeesi ye n’emmundu okugoba abantu ku ttaka. Kino kiddiridde abatuuze okuva ku byalo bina omuli ; Kannyogoga, Kifumbira, Kagezi ne Lwebaga ebsangibwa mu ggombolola y’e Butoloogo e Mubende okulumiriza RDC Beyunga olw’okwekobaana n’omugagga Donald Kananura nebalyoka babagobaganya […]

Mengo erabudde Gavumenti ku bbago ly’etteeka ly’ettaka

Gavumenti y’e Mengo erabudde Gavumenti ya wakati ku nnongoosereza mu bbago ly’etteeka ly’ettaka erya 2017 eriruubirira okuwa Gavumenti obuyinza okutwala ettaka ku bannannyini lyo nga tesoose kubaliyirira.  Kamalabyonna bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda e Mengo, ategeezezza nti kino kyalisajjula enkolagana wakati w’abantu ne Gavumenti era n’awabula nti wabeerewo okusasula oba okuliyirira abantu nga tebannatwalibwako […]

Obwakabaka buleeta eddwaliro eritambula

Omuwanika mu Bwakabaka bwa Buganda Owek Wagwa Nsibirwa alangiridde nga Obwakabaka bwa Buganda bwebuleeta eddwaliro eritambulira eriyitibwa Mobile Hospital nga libeera ku mmotoka liyambeko okwanguyiza abantu ba Beene eby’obujjanjabi . Nsibirwa okulangirira kuno akukoledde mu Lukiiko lwa Buganda  e Bulange Mengo olutudde enkya ya leero mwasomedde embalirira y’ Obwakabaka  bwa Buganda eri mu buwundu 74.  […]

MP Adeke ajeemedde ekiragiro kya Sipiika

Omubaka mu Palamenti akiikirira abaana bonna mu ggwanga Anna Adeke ajeemedde ekiragiro kya Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga bweyalagidde ababaka okwewala okwogera ku nsonga ezikwatagana n’ebbago ery’etteeka ly’ekkomo ku myaka egy’obukulu omuntu gyakomako okukulembera eggwanga 75. Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Kadaga yagambye nti abantu emitima gibeewanikira bwereere kubanga ebbago eryo terinnakubwako kimunye mu Palamenti […]

Ba MP batandise okufuna essimu ezibatiisatiisa ku by’ekkomo ly’emyaka

Ababaka mu Palamenti bagamba nti batandise okufuna essimu ezibakubirwa abantu  nga babatiisatiisa nga bwebayinza okubateekera omuliro oba okubakuba emiggo eginaabaleka mu kkubiro singa kabatanda nebakyusa ennyingo ya Ssemateeka eye 102 akatundu akookubiri nga baggyawo ekkomo ery’emyaka ku mukulembeze w’eggwanga.  Bano nno okutuuka ku bino kiddiridde olukalala lw’amannya gaabwe ssaako n’ennamba z’amasimu olutambulira ku mikutu gy’embikkulirwa […]

Katikkiro Mayiga agugumbudde abakulembeze abakyukakyuka

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga enenyezza bannabyabufuzi mu ggwanga lyattu Yuganda abagenda nga bakyusakyusa endowooza zebaba baalina mu lubereberye, n’agamba nti endowooza zino bwezigenda zikyukakyuka kitandika okulaga bannansi omutima ogw’okweyagaliza n’okwefaako bokka na bokka nga tebakyafa ku nsonga za ggwaga. Mayiga okwogera bino  abadde awaayo obubaka obwamutikkiddwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii […]

Minisita Naduli atadde akaka ku bakungu ba Gavumenti abaagala okulya obuli

Minisita owa guno naguli,  Al Haji Abdul Naduli avumiridde nga kwossa n’okwambalira abakungu ba Gavumenti eya wakati abaagala obwagazi okulya  okusinga okukolera abantu .  Nadduli okwogera bino abadde atongoza ekidiba ky’amazzi mu ggombolola y’e Makulubita mu Disitulikiti y’e Luweero okuyamba abalimi okufuna amazzi agafukirira ebirime . Asinzidde wano n’asaba abantu okwettanira obulunzi nti lwebajja okweggya […]

Bobi Wine akalulu k’e Kyaddondo akeezesezza lweyo

Robert Kyagulanyi Ssentamu eyakazibwako erya  Bobi Wine omuyimbi abadde avuganya mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka  mu Palamenti owa Kyaddondo ey’obuvanjuba, banne abana baabadde avuganya nabo abamezze n’enkoona nezinywa era abakubisizza kaga.  Akalulu kano nga kabadde ka kufa na kuwona omwetobese okulwanagana wakati wa Police n’abantu ba bulijjo naddala nga mu bifo awabadde wateeberezebwa okubbirwa obululu […]

Walagi woomu buveera abizaalidde bannannyini birabo – Maganjo

Police eyise bannannyini birabo by’omwenge abakakkalabiza mu Maganjo zzooni mu Munisipaali y’e Nansana mu Disitulikiti y’e Wakiso, olw’ebigambibwa nti waliwo abantu 11 abaafudde oluvannyuma lw’okwekatankira Walagi woomu buveera ssabbiiti bbiri emabega!!  Emilian Kayima nga ono ye Mwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano,  agamba nti waliwo abamu ku bannannyini b’ebirabo  abaayitiddwa nebabuuzibwa akana n’akataano oba nga […]