Gavumenti egenda kugula Ambulance eziri ku mutindo gw’ensi yonna
Gavumenti nga eyita mu Minisitule y’ebyobulamu emalirizza enteekateeka mweyagala okuyita okugulayo ”Ambulance” bbiri eziri ku mutindo gw’ensi yonna ziyambeko okujuna bannayuganda baleke kufa mu ngeri ey’ekyeyonoonero Ambulance zino ezinaabaamu eddagala ery’amangu, abasawo n’ebirala zijjakwanguwangako okutuuka mu bifo ebitali bimu okutaasa abantu abantu olw’obuzibu bwebaba bafunye . Dr. Diana Atwine, omuwandiisi omukulu mu Minisitule evunaanyizibwa […]
Akakyankalano ku kkooti e Nakawa mu gwa Kaweesi
Wabaddewo akakyankalano ku kkooti e Nakawa nga ab’enganda z’abantu abiri abaagombebwamu obwala gyebuvuddeko ku byekuusa ku kutemulwa kwa Afande Andrew Fellix Kaweesi, abantu bano bwebavudde mu mbeera nga Police ebagaana okwogerako n’abenganda zaabwe ate n’okuyingira munda mu kkooti. Abavunaanibwa babadde balabiseeko mu maaso g’omulamuzi ku ddaala erisooka Noah Ssajjabi naye nga abongezzaayo ku alimanda mu […]
Ab’ebibaluwa kati balumbye Mubende
Amagye ga UPDF ne Police batandise okulawuna ekibuga Mubende olw’abantu abatandise okutisaatiisa okutuusa obulabe ku bantu b’ekitundu kino . Aduumira Police e Mubende Patrick, Byaruhanga ategeezezza nti kino kiddiridde ebibaluwa mukaaga byebaakutte nga biwandiikiddwa abantu abatannategeerekeka nga bitiisatiisa okutuusa obulabe ku Bannamubende. Byaruhanga ategeezezza nti ebibaluwa bino bisuulibwa ku mayumba g’abatuuze mu matumbi budde era […]
Nannyini ttaka tolina buyinza bugobaganya wa kibanja – Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannannyini ttaka abagobaganya ab’ebibanja nti tebalina buyinza bubasalako era n’ategeeza nti abo bonna abakola ebyo eby’ejjoogo bagenda kubasesemya. Omukulembeze w’eggwanga okwogera bino asinzidde ku mikolo emikulu egy’okukuza olunaku lw’abazira egiyindidde mu kisaawe ky’e Ziroobwe mu Disitulikiti y’e Luweero n’ategeeza nti mu ssemateeka wa 1995 , ekiragiro ekifuga ettaka kiri nti […]
Economy teyinza kuba mbi mpozzi ng’aboogera ekyo tebalina maaso galaba – Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayogeddeko eri eggwanga akawungeezi ka leero ku ngeri eggwanga gyeriyimiriddemu nga asinziira ku Serena Hotel mu Kampala era nga mu bimgi by’ayogedde, mwemubadde eby’okwerinda, ebyenfuna nga wano yeetoolooledde nnyo ku bavubuka wamu n’enteekateeka ya Operation Wealth Creation, ebyentambula, amasannyalaze n’ebirala njolo. Pulezidenti bwatuuse ku by’enfuna n’amasannyalaze, n’asekerera abo abagamba nti Economy […]
5 bafiiridde mu nnyanja Nalubaale – Kalangala
Abantu bataano bafiiridde mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’eryato mwebabadde basaabalira eribadde liva e Kasekulo nga lidda mu mwalo gw’e Kamese mu ggombolola y’e Kacanga mu Kalangala okubbira. Ayogerera Police mu Bendobendo lya Masaka Lameck Kigozi, agamba nti eryato lino libaddeko abantu musanvu ate nga litisse nnyo, likubiddwa omuyaga neribbira era okukkakkana nga abantu babiri bebasobodde […]
Ggoonya zaakalya 3 ku mugga Cafu – Masindi
Abantu abaliraanye omugga Cafu mu Disitulikiti y’e Masindi balaajanidde ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsolo zoomu nsinko ekya Uganda World Life Authority okufuba okulaba nga bakola ekisoboka kyonna okujja okusengula Ggoonya ezibafuukidde ekyambika. Kino kijjidde mu kiseera nga abaana basatu be baakaliibwa Ggoonya mu mugga Cafu mu bbanga lya mwezi gumu. Asembyeyo abadde Sarah Okello wa myaka […]
3 baluguzeemu obulamu ku lunaku lw’abajulizi, mubaddemu n’owoolubuto – Police
Police egamba nti ebikujjuko ebyabaddewo eby’okujjukira abajulizi ba Yuganda ebyabaddewo ku biggwa by’abajulizi e Namugongo, abantu basatu be baaluguzeemu obulamu era nga muno mwabaddemu n’omukazi ow’olubuto. Amyuka Omwogezi wa Police mu ggwanga Polly Namaye, ategeezezza Luboggola Simba nti omu ku baafiiridde mu nnaku zino yabadde atuuse mu bitundu eby’ e Matugga ng’ava e Lira mu […]
Omusolo omupya ku basawo b’ekinnansi gugguse e Mubende
Abakulira Disitulikiti y’e Mubende batonzeewo omusolo omupya ku basawo b’ekinnansi wakati mu kusika omuguwa okuva eri abakiise nga abamu bagamba nti kino kyakwongera obufere ate abalala nga bagamba nti kyakubukendeeza. Omusolo oguteekeddwawo, Abasawo bonna ab’ekinnansi abanoga eddagala bagenda kuba nga basasula emitwalo esatu (30.000) buli mwaka ate ab’amasabo basasule emitwalo kkumi (100.000). John Kayingere akiikirira […]