Abalamazi 45 bagudde ku kabenje – Kyotera
Abalamazi abawerera ddala 45 bagudde ku kabenje, bus ey’ekika kya Falcon nnamba T967 – BTA ebadde eva e Tanzania okudda e Namugongo bweremeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kyotera. Abantu 27 beebakoseddwa nga basinze kukosebwa ku mikono , mitwe n’ebifuba era nga bano baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka […]
Ebyokwerinda e Namugongo biri gguluggulu – Police
Police egamba nti ebyokwerinda biri gguluggulu e Namugongo mu kwetegekera emikolo gy’okujjukira abajulizi ba Yuganda egy’omwaka guno 2017. Ayogerera Police mu ggwanga, Asan Kasingye agamba beat, ” Police eggyakwongera okugenda mu maaso n’okukulembera ebitongole ebirala n’abantu ba bulijjo wamu ne Minisitule ya Tourism World life and Antiquities okulaba nti tusigala mu ddembe ppaka enkomerero y’omukolo […]
Palamenti egobye okusaba kwa Gavumenti kukwongezaayo emyaka kubuyambi bwabakadde
Palamenti egobye okusaba kwa Gavumenti ku myaka omuntu kwafunira obuyambi bw’abantu abakuze mu myaka okuva ku 65 okutuuka ku 85. Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo yali yategeeza palamenti nti kabineeti yali yasalawo nti basooke bayimirizeemu ekyokusaasanya obuyambi buno mu disitulikiti endala mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 okusobola okumaliriza okusasula obuwumbi obusatu eri abo abawandiisibwa. Wabula […]
Abantu bana balumiziddwa mu kabenje ka bbaasi e Gulu
Abantu bana bebagambibwa okuba nga balumiziddwa mu kabenje ka bbaasi eya Homeland Bus e Gulu. Akabenje kano kaguddewo e Koro kilomita ttaana (5KMs) okuva mu ttawuni ye Gulu kussaawa nga kkumi n’ekitundu ez’okumakya. Abalumiziddwa ye Dr. Onen David dayirekita w’essomero lya Gulu Central High School, Opio Junior, Emmanuel Owot ne Fiona Kankudire maneja wa Wellsprings […]
AMAGYE AGALAWUNA ENNYANJA NALUBAALE GASUSSE OBUKAMBWE
Omubaka wa Mukono South mu palamenti Johnson Muyanja Ssenyonga asabye amagye agakwasibwa omulimu gw’okulawuna ennyanja Nalubaale okukendeeza obukambwe bwagamba nti buviiriddeko abantu okufiira mu nnyanja. Bino webigidde nga waliwo abantu abagambibwa nti bagudde mu nnyanja oluvanyuma lwokutiisibwa abalawunyi abali ku muyiggo ggwa bantu abenyigira mu nvuba emenya amateeka. Muyanja agamba nti abasirikale basaanye okwawula amaato […]
Abasuula ebibaluwa tubagudde mu buufu – Kasingye Mwogezi wa Police
Omwogezi w’ekitongole kya Police Asan Kasingye agamba nti baatandise dda okubuuliriza ku kibinja ky’abazzi b’emisango abeeyita ba Kabazzi nga bano bagenze batulugunya abantu mu bitundu ebitali bimu mu ggwanga . Abantu bano bagenda batiisa abantu ssaako n’okubasuulira ebibaluwa bi kirokitwala Omunaku naddala mu bitundu ebya Kampala n’emiriraano. Enkola ey’okusuula ebibaluwa bino yatandikira mu bitundu bye […]
Abagoberezi bazaalidde Pasita leenya – Nakasongola
Abatuuze booku kyalo Kilalamba ekisangibwa mu ggombolola y’ e Kakooge mu Disitulikiti y’ e Nakasongola bavumbagidde Pasita nebamukuba ku Police y’ Nakasongola lwakulemera abamu ku bagoberezi be . Abatuuze batutegeezezza nti Pasita Abbey Tumwesigye owa Kkanisa ya Holy Church of Christ abadde aliko abamu ku bagoberezi be omuli n’omuwala owa S.4 beyagaana okudda ewaabwe era […]
Ab’e Iganga bazudde emmundu mu mwala
Waliwo emmundu ezuuliddwa nga eri mu mwala mu Munisipaali y’e Iganga. Emmundu eno ezuuliddwa ya kika kya AK 47 nga ezuuliddwa abantu ababadde bagenda okugogola omwala gw’e Walugongo ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga. Aduumira Police e Iganga nga ye Ndita Nasibu agamba nti emmundu eno esangiddwamu amasasi ataano nga eteeberezebwa okuba nga […]
Busiro awuumye ku mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka
Ensi n’ ensi y’abantu ekuluumulukuse okuva ebule n’ebweya okweyiwa ku ssomero lya Lubiri High School erisangibwa e Buloba mu Disitulikiti y’e Wakiso mu ssaza ly’e Busiro okwetaba ku mikolo nga Obuganda bujaguza olwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 okuweza emyaka 62 egy’okuyuuguuma. Ebikujjuko by’emikolo gino byatandika ku sssabbiiti ya wiiki ewedde era nga byasooka […]