4 bafiiridde mu nnyanja, 2 basimattuse – Katosi
Abantu bana bagudde mu nnyanja Nalubaale nebafiiramu nga kino kivudde ku lyato mwebabadde basaabalira okulemererwa nelibayiwa mu nnyanja bwebabadde bagenda okuziika munnabwe ku kyalo Mitala ekisangibwa okuliraana omwalo gw’e Katosi mu Disitulikiti y’e Mukono. Abantu bano babadde bava ku mwalo gw’e Bunankanda nga boolekera ku gw’e Katosi balyoke bagende ku kyalo gyebabadde bagenda okuziika munnaabwe […]
Layini z’amasimu ezitali mpadiise zisalweko – Poliisi
Poliisi ya Yuganda eyagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission kisaleko layini z’amasimu ezitali mpandiise kubanga kyekimu ku biviiriddeko obumennyi bw’amateeka wamu n’obutali butebenkevu obukudde ejjembe mu ggwanga . Bwabadde mu lukungaana lwa bannamawulire olubeerawo buli wiiki ku kitebe kya Poliisi e Naguru mu Kampala, Asan Kasingye omwogezi wa Poliisi ategeezezza […]
Museveni ayimirizza okugaba ssente z’abazirwanako
Pulezidenti Museveni ayimirizza okusasula akasiimo eri abo abaazirwanako abali mu Disitulikiti y’ e Kyankwanzi ne Kiboga. Kino kizze oluvannyuma lw’abakulembeze b’ekibiina ky’abazirwanako ekya Kasejjere , Kigemuzi nga Nkrumah Civilian Veterans Association, okutegeeza Pulezidenti Museveni nti abantu b’akwasa ssente zaabwe tebazituusa era nga bino baabimufuuyidde mu nsisinkano gyebaabaddemu naye e Ntebe mu maka g’obwa Pulezidenti. Nickson […]
Kaweesi abadde muntu wa bantu – Ssaabasumba Lwanga
Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu bubaka bwe bwabadde akulembeddemu ekitambiro ky’e Misa eky’okusabira omwoyo gw’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, abadde omwogezi wa Police nga okusaba kuno kubadde ku Lutikko e Lubaga enkya ya leero, avumiridde abantu abenyigidde mu kumutemula(Kaweesi). Dr. Lwanga agambye nti enkumi n’enkumi z’abantu ebeeyiye Okusabira Kaweesi baalibadde bajjukira […]
Ab’ebyobulamu baggaddewo lufula y’embizzi – Nansana
Abakulira ebyobulamu mu Municipaali y’e Nansana baggaddewo amaduuka n’obulwaliro wamu ne lufula y’embizzi mu Kibwa nebalabula abakulembeze awamu n’abasawo obuteeyibaala okuloopa obukyafu n’abantu abatakolera mu mateeka . Ng’ oggyeko amaduuka, ebinywero awamu n’amalwaliro okuggalwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku kyalo kibwa mu Divisiona y’e Nansana era mu Municipaali eno, abasawo ababadde bakulembeddwamu Robert Kagwire, bagaddewo Lufula […]
Kkooti esalawo gwakuna oba Kamoga baneewozaako
Kooti ekola ku misango gy’ensi yonna etaddeewo nga ennaku z’omwezi 4 Kafuumuulampawu omwaka guno nga kwegenda okuweera ensala yaayo oba abantu 14 abateeberezebwa okwekobaana nga baliko kyebamanyi ku bayisiraamu abazze batirimbulwa, beewozaako oba nedda. Olunaku luno lulangiriddwa abalamuzi abakulembeddwamu Omulamuzi Ezekiel Muhanguzi nga lulangiriddwa enkya ya leero oluvannyuma lwa kkooti okumatizibwa oludda oluwaabi ne ba […]
Loodi MeeyaLukwago asimattuse okukubwa aba Park Yard
Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago asimattuse okugwibwa mu bulago agavubuka ga kawuula, ye wamu ne ba Kansala bwebabadde bagenze okulambula embeera eri ku katale ka Park Yard akazingiddwako Police enkya ya leero. Bano okugenda mu katale kano kiddiridde Olukiiko olutudde olwaleero bonna okussa ekimu ng’enkuyege nebasalawo okugenda okulaba embeera eri mu Katale kano. Omusasi […]
Olunaku lwa Valentine ssirwakwegadangirako – Ffaaza Lokodo
Nga ensi yonna olwaleero eri mu kujaganya olunaku lwa Valentine era nga bangi balaga bannaabwe omukwano , Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’okukwasisa empisa wamu n’enkola y’ebintu ey’ekintu kiramu wano mu ggwanga, Dr. Fr . Simon Lokodo agamba nti ebyembi wano mu Yuganda abantu olunaku luno baalufuula lwa kwegadangirako na kwerigomba, n’agamba nti kino kaakati abantu […]
Akabenje katuze 14 e Lugazi
Abantu 14 bafiiridde mu kabenje ddekabusa akaguddewo akawungeezi ka leero ku kyalo Ssagazi ekisangibwa mu Municipaali y’e Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja. Ayogerera Police mu bitundu bya Lugazi, Lamech Kigozi atutegeezezza nti Takisi UAZ 350U ebadde eva mu buvanjuba bwa Uganda ng’ekubyeko abasaabaze eyambalaganye bukanzu ne lukululana UAU 650S ebadde Eva […]