Abalina COVID19 w Kenya baweze 15
Minisita wa Kenya ow’ebyobulamu CS Mutahi Kagwe avuddeyo nategeeza nti waliwo abantu abalala 8 abazuuliddwa nga balina ekirwadde kya #COVID19 nga kati baweze abantu 15 era nga bali wakati w’emyaka 20 – 57. #COVID19KE
Poliisi ekutte omuvubuka abadde atigomya Naguru n’e Ntinda
Poliisi yakoze ekikwekweto olunaku lw’eggulo mu bitundu by’e Naguru Go Down oluvannyuma lwa Poliisi ya Jinja Road okufuna okwemulugunya okuva eri abatuuze nti waliwo omuvubuka Kisoro Paul 19 omutuuze w’e Kamwokya nga abadde alina ekibinja ky’abavubuka ekitigomya abantu b’e Naguru ne Ntinda.Poliisi yasitukiddemu nekola ekikwekweto mweyakwatidde abantu 37 ab’ekibinja kye naye.Uganda Police Force yategezeddwa nti […]
Poliisi ekutte abantu 7 olw’ettemu
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Directorate of Crime Intelligence kyakoze ekikwekweto oluvannyuma lw’okutemezebwako nekikwata abantu 7 abagambibwa okuba nga benyigira ttemu lya Lubinga Henry wamu n’obubbi mwebabbira obukadde bubiri n’ekitundu okuva ku Sam Kasule, 25 omusuubuzi w’e Nakiwaya LC1 mu muluka gw’e Nakiwaya mu Kikandwa.Nga 28-02-2020 ku ssaawa bbiri n’eddakiika kumi ez’ekiro […]
Ekirwadde kya Coronavirus tekinatuuka mu Yuganda – Minisitule
Minisitule y’ebyobulamu erina abagwira 4 betadde mu ddwaliro lya Entebbe Regional Referral Hospital. Bano bagiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nga balina obubonero bwassenyiga. Bano bagiddwako ‘Samples’ nezitwalibwa okukeberebwa ku Uganda Virus Research Institute (UVRI) era nga ebinavaamu byakutegezebwa abantu bonna. Minisitule egamba nti mukadde kano ekirwadde kya Coronavirus (COVID-19) tekinatuuka mu ggwanga. Minisitule y’ebyobulamu ekubiriza […]
Poliisi ekutte abasajja 4 abagambibwa okutigomya Kyanja
Abasajja 4 abagambibwa nti babade bakwata abantu obubadiya wamu n’okubakuba mu bitundu by’e Kyanja, Nakawa Division, bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa Poliisi ya Kira Road olunaku lw’eggulo.Ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu by’e Kyanja wamu ne Ssekabira. Abakwatiddwa kuliko; Kavuma Abasa, Augustine Sadat, Madoyi Joseph, ne Ssenyange Jimmy nga basangiddwa n’ebiragalalagala, ebyuuma ebikozesebwa okumenya amayumba, essimu ezirowoozebwa […]
Omuwala abadde yabula asangiddwa Muyenga
Omuwala Mellisa Kayanja Nakyomu abadde yabula okuva nga 14 – Feb ku lunaku lw’abagala azuuliddwa olunaku olwaleero mu kifulukwa e Muyenga Tank Hill. Okunoonyereza kulaga nti ono yandiba nga yalimbibwa abantu abamu ku social media abamukuba ebiragalalagala, Poliisi y’e Kabalagala egamba nti erina abantu beyakutte ku byekuusa kukuwambibwa kwa Nakyomu.
Antiisa okunzita sitidde gyangu – Dr. Jose Chameleone
Omuyimbi Dr. Jose Chameleone avuddeyo ku mukutu gwa Face book nagamba nti waliwo abamutiisatiisa okumutta; “Mbadde nfuna obubaka obuntiisatiisa okuva ku nnamba eno +256 778 935 681. Omuntu ono yeyita General, nasooka nenfuna obubaka nga 10 – Sept – 2019 ku ssaawa kkumi nabbiri n’eddakiika kumi namukaaga (6:16pm) nga bangamba mpeereze obukadde 5 oba okuttibwa. […]
Abantu ba Kabaka balongosezza ennyanja ya Kabaka
#Bulungibwansi; Abantu ba Kabaka nga bakulembeddwamu Minisita wa Kabaka ow’obuwangwa n’ennono, Owek David Kyewalabye Male, wamu ne Meeya wa Lubaga Division, Owek Joyce Nabbosa Ssebugwawo, bakoze bulungibwansi ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba. Bajigogodde, batemye emyala egitwala amazzi, n’okusaawa omuddo okugyetoloola. Bakubirizza abantu abalinanyewo okukomya okuyiwa kasasiro mu nnyanja ya Kabaka kubanga kyonoona obutonde […]
Poliisi, KCCA ne MGLSD bagenda kufuuza Sauna ne Steam
Poliisi nga eri wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority, ne Minisitule evunaanyizibwa ku kikula ky’abantu abakozi n’embeera z’abantu balangiridde nga bwebagenda okufuuza ebifo byonna mu Kampala ebirina ebifo abantu mwebagenda okweyoteza ebimanyiddwa nga Sauna ne Steam okulaba nga embeera gyebirimu etuukana n’omutindo gwebyobulamu n’omukuumi era nga birina ne Certificate. Omwogezi […]