Ssaabalamuzi alayizza akakiiko k’ebyokulonda akaggya
Ba Kamiisona b’akakiiko k’ebyokulonda balayizizddwa olunaku lwaleero Ssaabalamuzi Bart Katureebe era n’ategeeza abantu bano omusanvu, nti balina okufuba okulaba nga bakola bulungi n’okwongera okutereeza erinnya ly’akakiiko k’ebyokulonda ate n’okugondera amateeka . Bart Katureebe yaakulembeddemu omukolo gw’okulayiza abantu bano oguyindidde ku kkooti enkulu mu Kampala era n’abategeeza nti tebalina kuba na kyekubiira, nga tebalina kulemererwa kubanga […]
Ababaka balabudde akakiiko k’ebyettaka
Ababaka mu Paliyamenti balabudde akakiiko k’ebyettaka akaatekebwawo Pulezidenti era nebalaga nga sibasanyufu n’etteeka ate n’enteekateeka ku byettaka, nti byebivaako obusambattuko n’obuzibu eri abantu. Ababaka bano nga boogera ku bizibu byebasanga mu bantu olw’etteeka ly’ettaka lyebagamba nti lijjudde ebirumira n’ebituli songa ate era n’enkola yalyo bagamba byebimu ku bizibu abantu byebasanze nti era ensonga z’ettaka zibamazeeko […]
Abakulira eddwaliro ekkulu e Masaka bali mu kaduukulu
Emirimu ku ddwaliro ekkulu e Masaka gisannyaladde enkya ya leero oluvannyuma lw’abakozi mu eddwaliro lino abawerera ddala musanvu nga mwotwalidde n’alikulira Dr. Florence Tugumisirize awamu n’akulira enzirukanya y’emirimu Ereazer okugobebwamu obwala ekiro ekikeesezza olwaleero. Abantu bano bakimiddwa Police nga bayambibwako ba Ofiisa okuva mu maka g’obwa Pulezidenti abalondoola eby’eddagala olw’ebigambibwa nti ensimbi obuwumbi butaano zaabulankanyizibwa. […]
Ssente zetufuna okukola enguudo tekuli zaakuliyirira bantu – SsentebeMatia Lwanga
Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika agamba nti Disitulikiti teggya kuliyirira muntu yenna naddala nga ettaka lye lirina engeri gyelyasengebwako mu kiseera ekyokuzimba n’okukola enguudo mu bitundu eby’enjawulo ebya Disitulikiti eno. Kino kiddiridde abantu abawerako gamba ng’abali mu bitundu by’e Kyebando, Nansana, Bujuuko n’awalala nga bano baddira ettaka lyabwe ate abantu abamu nebagenda […]
Tukomye okwonoona obutonde bwensi – Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Kampuni eziyiiya zi yiiyeeyo ebintu ebirala ebikozesebwa okufumba nga bya sente ntono, kiyambe abantu okukomya okutema emiti okwokya amanda oba enku ezokufumbisa n’embaawo, ekyonoonye obutonde bwensi n’okumalawo ebibira. Ssaabasumba okusaba kuno akukoledde mu Misa ya Ssekukkulu ku Lutikko e Lubaga. Ye omumyuka wa Pulezidenti, Edward […]
Amakumpini galina okuddiza ebitundu mwegakolera – Mmeeya wa Kawempe
Mmeeya Divizoni y’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi asabye amakampuni agali mu Divizoni ye galeme kukuuliita na magoba gonna gegakoze wabula gagezeeko okujjukiranga okuddiza ku kitundu mwegakolera enkulaakulana esobole okutinta. Sserunjogi agamba nti amakampuni njolo agali mu kitundu kino, agamu nga gasaasaanidde amawanga mangi agenjawulo ate amalala nga gakoma wano wokka mu Kawempe, wabula matono ku ago […]
2 bafiiridde mu kabenje 9 bapookya – Mityana
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje ,9 balumiziddwa oluvannyuma lw’emmotoka okuva ku kkubo n’etomera abantu 2 nebafiirawo mbulaga ate 9 nebabuukawo n’ebisago ebyamaanyi . Akabenje kagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana ku kyalo Bukoma ekisangibwa mu Divizoni ye Ttamu mu Disitulikiti y’e Mityana . Omusasi waffe Joseph Balikuddembe agamba nti Takisi nnamba UAZ […]
FDC evumirira eky’okutta abantu e Kasese
Ekibiina ekya FDC kivumiridde ekya abantu 55 abattiddwa ku bulumbaganyi obwakoleddwa klu Businga bwa Rwenzururu era nga obulumbaganyi buno bwakoleddwa ku Musinga w’obusinga bwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere mu kibuga Kasese . Akulira ekibiina kya FDC , Maj. General Mugisha Muntu agamba nti Gavumenti yabadde n’obusobozi obutereeza embeera n’okufuba okwewala abantu ba bulijjo okufa mu […]
3 bafudde ekirwadde ekitannategeerekeka oluvannyuma lw’okulya ennyama y’embizzi – Kiboga
Abantu basatu bafudde ekirwadde ekitannategeerekeka ate abalala mwenda bagambibwa okuba nga bapookya era nga bino biri ku kyalo Kisegu mu muluka gw’e Kikonda ekisangibwa mu Ggombolola y’e Kiryanga mu Disitulikiti y’e Kiboga, oluvannyuma lw’abantu 12 nga bano bava mu maka gegamu okulya ennyama y’embizzi eyabadde efudde ekirwadde ekitaategeerekese. Abakoseddwa ekirwadde kino baafunye okulumizibwa okutali kumu, […]