Gavumenti etandise okugabira emmere abakoseddwa ekyeya

Abantu abamu be beelemezza mu bwavu – Pulezidenti Museveni

Omukulembeze w’eggwanga lyattu Yuganda, Yoweri Kaguta Museveni agamba nti waliwo abantu abeelemezza mu bwavu bokka nga kino kivudde kubamu okwekwasa obusonga obutaliimu gamba nga obutaba na masannyalaze . Omukulembeze w’eggwanga asinzidde ku kisaawe eky’essomero lya Ssekanyonyi Roman Catholic mu ggombolola ye Ssekanyonyi e Mityana , n’agamba nti waliwo ebintu ebimu gamba nga okulunda nga tebyetaagisa […]

Okwesamba ebyobulimi kisibye abantu mu bwavu – MP Makumbi

Omubaka mu Palamenti akiikirira Mityana eyoobukiika ddyo, Henry Makumbi Kamya agamba nti abantu baabulijjo naddala abavubuka mu byalo, basaana okwongera amaanyi mu kukola ennyo nebatadda mu kulindirira abyo ebiva mu babaka n’oluusi abamu okudda mu lwali n’okujereegerera abalala abalala.. Ono agamba nti ekisinze okusiba abantu mu bwavu kwe kwesamba ensonga z’ebyobulimi nga n’abamu batuuka n’okuweebwa […]

PAC ekunyizza abakulira abakozi mu zi Disitulikiti

Akakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo aka Public Accounts Committee(PAC) kakunyizza abakulira abakozi mu zi Disitulikiti nga Mityana , Kiboga Mubende ne Kyankwanzi, bannyonnyole engeri gyabakozesaamu ensimbi zebakunngaanya mu bantu , ensimbi ezi weebwayo mu nteekateeka ya Bonnabasome, ez’enguudo awamu n’eziddukanya amalwaliro . Akakiiko kano kali mu kutalaaga eggwanga era nga kabadde kasisinkanye […]

Obwakabaka buyimirizza okukungaanya ettoffaali

Obwakabaka bwayimiriza okukunganya ettoffaali omwaka guno kisobozese Katikkiro Charles Peter Mayiga okukola emirimo emirala egyali gy’etuumye mu woofiisi ye. Okuyimiriza okukungaanya ettoffaali kyakolebwa Katikkiro yenyini. Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa akawungeezi ka ggyo, nga kiteekeddwako ssiginimmaaka Owek. Noah Kiyimba, omwogezi w’obwakabaka, kigamba nti “Katikkiro akola emirimu mingi okusobola okulamulirako Ssaabasajja Kabaka Obuganda obulungi ng’ennono bw’eri. Okukungaanya ettoffaali wadde […]

Police eyodde 3 kubanyaga amafuta – Lugazi

Police y’e Lugazi ekoze ekikwekweto n’ezingako abantu abawerako abateeberezebwa okunuuna amafuta mu byana by’eggaali y’omuka ebireeta amafuta mu Kampala okuva e Mombasa . Ayogerera Police mu bitunddu bya Ssezzibwa, Lameck Kigozi agamba nti gubadde gufuukidde ddala muze nga abantu bano, beekobaana n’abaddukannya eggaali y’omukka nebakuluppya amafuta mayitirivu nga bagakama okuva mu byana byayo era webabagombeddemu […]

Police yeetaaga okutegeka enkiiko abantu boogere ebibaluma – Amyuka Ssaabapoliisi Yiga

Omumyuka wa akulira Police mu ggwanga, FRED YIGA agamba nti Police mu bitundu yeetagisa okutegekanga enkiiko abantu ba bulijjo mwebalina okwogerera ebibaluma, nga kino kiyinza okukkakkanya ku busungu abantu bwebabeera nabwo sinakindi nga  kino kyekiviiraako n’abamu okutwalira amateeka mu ngalo. Ono asinzidde mu kibangirizi kya park ya taxi e Mityana mulukungaana lwakubye olugendereddwamu okuwulira ebizibu […]

Nakasongola efiirwa ebisolo byomunsiko 100 buli wiiki

Disitulikiti y’e Nakasongola efiirwa ebisolo byomunsiko ebiri mu kikumi buli wiiki olw’abantu ababitta ate nga kimenya mateeka Avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Disitulikiti y’e Nakasongola, James Bond Kunobere agamba nti ebisolo omuli Goonya, Envubu, Engabi wamu n’eNjobe byebisinga okuyigganyizibwa mu magombolola omuli; Karungi, Kalongo, Nabiswera wamu ne Nakitoma Kunobere ayongerako abantu bano abayigganya ebisolo bakoseza […]

Bannayuganda abaagwa mu bazigu nga bava e S.Sudan tebalabikako

Bannayuganda bana nabuli kati tebannakubikako kimunye oluvannyuma lwa Ssabbiiti ssatu eziyise Bus mwebaali basaabalira okuva mu Sudan ey’amaserengeta nga badda Yuganda okugwa mu  bazigu . Abantu abano baali basaabalira mu Bus ya kampuni ya Friendship eyagwa mu bazigu ku ntandikwa y’omwezi guno, Mailo 43 okuva e Nimule ku nsalo ya Yuganda ne S. Sudan era […]

Takisi eyingiridde abasala embalu , 4 bafu 16 bapookya – Kisoga

Abantu bana bafiiriddewo mbulaga ate abalala 16 nebaddusibwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka mu mu kakbenje akaguddewo  leero mu kalasa mayanzi ku kyalo Bumbajja ekisangibwa ku luguudo  mwasa njala oluva e Kisoga okudda e Nkokonjeru  Akabeje kano kavudde ku Takisi nnamba UAR 517 eyingiridde abantu ababadde bazina akadodi mu mukolo gw’okusala embalu . Akulira Police […]