Kifumbye mutuku nga Engule 2016 eggulwawo – Kasangati

Ekkanisa ewakanya etteeka ly’okuggyamu embuto

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, His Grace Stanley Ntagali asabye Gavumenti ensonga ezikwatagana n’okussaawo etteeka erinakkiriza abantu okuggyamu embuto nga bwebaagadde, yandiriggyemu enta kubanga eyinza okweyiwa amanda mu mbugo. Ssaabalabirizi bino abyogedde akawungeezi ka leero bw’abadde mu  lukungaana lwa bannamawulire ku yafeesi enkulu ez’obwa Ssaabalabirizi e Namrembe mu Kampala , n’agamba nti ekkanza esimba ne nnakakongo […]

Zzaala ssi kkubo lya bugagga – Jajja w’obuyisiraamu

Jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge asabye abakulembeze b’eddiini, ab’ennono ne Gavumenti okukola ekisoboka okutangira abantu okwenyigira mu kuzannya zzaala kubanga taliimu kalungi . Omulangira agamba nti zzaala kati yeetoolodde eggwanga lyonna nga ne mu misoso gy’ebyalo atuuse nga abantu kati batunda ttaka okumuzannya . Akisimbako amannyo nti zzaala ssi kkubo lya muntu okugaggawala . Okwogera […]

Abakulembeze ba Municipaali y’e Mukono baagala Divizoni zisalwemu

Olukiiko olufuzi olwa Municipaali y’e Mukono lusabye Gavumenti ng’eyita mu Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu esalemu Divizoni ezikola Municipaali eyo , kisobozese abakozi ba Gavumenti okutuusa obulungi empeereza yaabwe  eri abantu bonna. Bino abakulembeze babyogeredde mu lukiiko  oluyitiddwa omubaka akiikirira Municipaali eyo mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon . Betty Nambooze , okusala amagezi ag’okukulaakulanya Municipaali eyo […]

Kyetaagisa okwojiya abantu ku ndwadde – Dr. Mukwaya

Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka Dr. Ben Mukwaya agamba nti kyetaagisa nnyo abantu okwojiwazibwa naddala mu bitundu ebyomumasoso ku ngeri gyebayinza okwetakkuluzaako namunkukumbo w’endwadde ezigenze zikwata abantu abatali bamu songa zandisobose okuziyizibwa. Dr. Mukwaya agamba nti waliwo abantu abamu abakwatibwa endwadde eziziyizika gamba ng’omusajja okuleetebwa ensiri, omusujja gwomubyenda (Typhoid), olukusense wano […]

Police eyagala abakulembeze bawandiike abantu mu bitundu byabwe

Obulwadde bw’olukusense bubaluseewo e Kamuli ne Kamwenge

Minisitule evunaanyizibwa ku by’obulamu erangiridde erangiridde nti wabaluseewo obulwadde bw’olukusense mu Disitulikiti y’e Kamuli ne Kamwenge. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisitule eno ekya ya leero kyoleka nga ekirwadde ky’olukusense kikasiddwa nti ekirwadde kino kirabiseeko mu Disitulikiti y’e Kamwenge mu bugwa  njuba ne Kamuli mu buva njuba era nga obulwadde buno buzuuliddwa mu baana abali wakati w’emyaka […]

Abantu balina okumanya enteekateeka za Gavumenti – Minisita Tumwebaze

Gavumenti erabudde abamu ku bakozi ba Gavumenti abafuuka ba kyesirikidde newabulawo ayinza okunnyonnyola abantu ku nteekateeka Gavumenti z’ekoze wamu n’ezo zeyaakatuukako ezitali zimu okugasa bannansi. Bino byonna Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire, empuliziganya ne Tekinologiya ow’ekikugu Frank Tumwebaze yabitegeezezza omusasi wa Luboggola Simba nga agamba nti Having etadde enteekateeka ezitali zimu mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo naye […]

Red Cross etandise okwojiwaza abantu ku namuttikwa w’enkuba

Uganda Red Cross Society, ekimu ku bitongole ebidduukirize mu ggwanga kitandise Kampeyini mwekyagala okuyita okwojiya abantu naddala mu bifo ebiyinza okuba ebyobulabe kubanga enkuba etandise okwelula n’okufudemba mu bitundu ebitali bimu e by’egwanga, kubanga bw’eneetonnya wandibaawo okuyimbulukuka kw’ettaka n’ebitundu ebimu amazzi okwanjaala ate ebirala ne gafuukira ddala amataba. Kino kyekiddiridde ebifo enkuba byetonnyeemu gamba nga […]

Abaamasannyalaze baagala tteeka ku masannyalaze

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusaasaanya amasannyalaze mu ggwanga ekya Yuganda Electricity Transmission Company Limited kisabye olukiiko olukulu olw’eggwanga lwanguyeeko etteeka ly’amasannyalaze osanga kino kinaayambako okukomya engeri abantu gyeboonoonamu ebintu ebikozesebwa okutuusa amasannyalaze mu bitundu by’egwanga eby’enjawulo. Ssentebe w’ebitongole kino (UETCL) William Kiryahika yalabiseeeko mu maaso g’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’obugagga obwensibo n’alojja akawonvu n’akagga ku […]