Famire ya bantu 8 efiiridde mu nnyanjana
Abatuuze ku kyalo ekimu mu Disitulikiti ye Mayuge baguddemu ekikangabwa abantu munaana nga ba maka gamu bwebafiiridde mu nnyanja nga basaabalira mu lyato ku nnyanja Nalubale. Abantu bano bafiiridde mu katundu okuliraana omwalo gw’e Mufigi mu gombolola ye Malongo
4 bateeberezebwa okufiira mu kabenje – Matugga
Abantu bana bateeberezebwa okuba nga bafiiridde mu kabenje akagudde e Matugga ku Mabanda ku luguudo olugenda e Luwero. Abeerabiddeko n’agaabwe nga akabenje kagwa bagamba nti omugoba wa mmotoka Toyota Elf ebadde ku misinde egya yiriyiri nga eva Kampala okudda e Luwero emulemeredde ku kaserengeeto n’etomera abantu babiri n’eyinyirira ne Bodaboda ebaddeko abantu abalala babiri. Emirambo […]
Abaakubidwa amasasi e Jinja bataawa
Abasawo mu ddwaliro e Jinja bagamba nti abantu abakubiddwa amasasi omujaasi wa UPDF okuva mu nkambi y’amagye eya Gadhafi bali mu mbeera mbi ddala. Ajuna Micheal Steven myaka 34 abadde ku ddaala lya Private bweyamaze okukuba abantu bano abana naye neyeekuba amasasi naafiirawo ku bbaala emu mu Kimaka ku nkungirizi z’ekibuga Jinja. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba […]
Ba Kansala bateeseze mu nnimi ennansi – Katikkiro Mayiga
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awagira ekya ba Kansala okuteeseza mu nnimi ennansi basobole okutegeera obulungi enkola wamu n’empeereza ennungi eri abantu bebakiikirira. Bino abyogedde nga asinziira ku ngeri ba Kansala gyebaatuuyanyeeemu n’olungereza ggyo ly’abalamu nga baluba ebirayiro ky’agamba nti singa tebateesezza mu lulimi nnimi zebategeera kyakuzinngamya empeereza yaabwe. Katikkiro ayongerako nti okwogera obulungi […]
Tosobola kukulaakulanya Kampala ng’ogoba bantu – Lukwago
Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago olumaze olumaze okukuba ekirayiro ky’obwa Meeya ku kisanja ekyokubiri ku City Hall mu Kampala naakakasa bannakampala empeereza ennungi wamu n’enkulaakulana etaliimu kugoba bantu mu Kampala. Lukwago agamba nti tosobola kukulaakulanya Kampala nga omugobamu abantu abatambulirako enkulaakulana. Ye abadde Minisita we by’okwerinda Mary Karor Okurut nga yaakiikiridde Minisita wa […]
30 bayooleddwa lwa kusalinkiriza kuyingira maka ga Pulezidenti – Ntebe
Police nga eri wamu n’abajaasi okuva mu kitongole kya Reserved Special Forces ekikuuma Pulezidenti bayodde abantu abali mu 30 ababadde basalinkiriza okuyingira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe . Abantu bano nga bafumbekeddemu bakyala n’abaana bamaze ennaku ssatu nga bali wabweru w’ekikomera nga baswamye okusisinkana Pulezidenti Museveni gwebeemulugunyiza okuwenjeza akalalu mu kalulu akaakaggwa naye nebatasasulwa […]
Musoosowaze ebiruma abalonzi bammwe – Lt . Col. Kulaigye
Omu ku babaka abakiikirra amagye mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Lt. Col. Felix Kulaigye akubirizza babaka banne okukulembeza ensonga z’abantu baabwe bebakiikirira okusinga okwefaako bokka nabokka n’ebibiina mwebava . Kulaigye agamba nti abantu basuubira bingi okuva mu babaka baabwe kubanga baabawa obuyinza okubakiikirira wabula ate kiswaza ababaka okudda mu byabwe bo nebabeerabira . Ayongerako n’okubakubiriza okusoma […]
Police yaakuwerekera bonna abagenda ku mikolo e Kololo – Bakaleke
Aduumira Police mu maserengeta ga Kampala Siraje Bakaleke agamba nti bamaze okuwa ebiragiro eri abaduumira Police mu bitundu ebyenjawulo – bayite ba DPC okuwa obukuumi abantu bonna abava mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo abagenda ku mikolo gy’okulayiza Pulezidenti Museveni e Kololo egiriyo enkya nga 12. 05.2016. Bakaleke akakasa nti ebidduka byonna ebireeta abantu ku mikolo byakubaamu […]
Museveni akole Gavumenti eyaawamu – Ken Lukyamuzi
Agenda okuwummula emirimu gy’ obubaka bwa Palamenti owa Lubaga eyaamaserengeta John Ken Lukyamuzi agamba nti Pulezidenti Museveni asaanye akole Gavumenti eyaawamu nga mulimu Dr. Kizza Besigye kubanga yawangula akalulu era alina abantu bangi abamukkiririzaamu . Lukyamuzi okwogera bino abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Palamenti akawungeezi ka leero naakakasa nti Besigye muntu wa bantu . […]